TOP

Beti Kamya alagidde KCCA ku bya Park Yard

By Hannington Nkalubo

Added 15th March 2017

MINISITA wa Kampala Beti Kamya alagidde abakozi b'ekitongole kya KCCA okuwa mangu ab'ekisaawe ky'e Nakivubo pulaani batandike okuzimba.

Kamya17034221 703x422

Minisita wa Kampala, Olive Namisango Beti Kamya

Ekiragiro akiyiszza mu dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi Ssemakula.

Mu bbaluwa gye yawandiise nga March 10 2017, yategeezezza nti oluvannyuma lw’abasuubuzi okusengulwa mu Park Yard, kyewuunyisa okuba nga KCCA ate yawandiikira aba Nakivubo nga babalagira okuggyawo ekibaati.

Kiddiridde KCCA okusooka okuyimiriza Ham ng'emugaana okuzimba kuba tannawaayo pulaani n'okumulagira okuggyawo ekibaati ekiri ku kisaawe.

Ham naye yeekubidde enduulu ewa Beti Kamya bw'atyo minisita n'ayisa ekiragiro era okuzimba Nakivubo w'osomera bino nga kwatandise dda.

Beti Kamya yayongedde okutegeeza nti KCCA terina kakwate konna ku ttaka lino kubanga liri wansi wa minisitule y'ebyenjigiriza ate olukiiko lwa baminisita lwalagira dda ekisaawe kikulaakulanyizibwe.

Yagambye nti akimanyi nti bannabyabuzizi si basanyufu kusengula basuubuzi ba Park Yard kyokka ekyo tekiwa mukisa lukiiko lwa Loodi meeya kukozesa buyinza bwabwe kulemesa pulaani ya kuzimba kisaawe.

Omuyambi wa minisita Beti Kamya ayitibwa Hasan Kasibante yagambye nti minisita yakozesezza obuyinza bwe n’alagira KCCA okuyisa pulaani z’okuzimba ekisaawe era nti talina tteeka lyonna lye yamenye.

Ekiragiro kino kyatandise okukola nga Loodi meeya takitegedde wadde kyayita ennaku nnya emabega.

Loodi meeya yatuuzizza kkanso n'aboggola nti okuzimba tekujja kugenda mu maaso ate ne Beti Kamya ajja kumubendegera.

Lukwago akyalemeddeko nti, tewali mukozi wa KCCA ateekwa kujeemera byasalibwawo lukiiko lwe ku pulaani y’e

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta