TOP

Bambega b’oku ppaaka za takisi abayoola omudidi !

By Martin Ndijjo

Added 15th March 2017

Okumanya omulimu guno gufuna, waliwo bagayidi abamu abannyuka n’emitwalo 20 olunaku ssente ezisasulwa kondakita wa takisi wiiki ennamba!.

Gayidi1 703x422

Frank Ssendiwala, gayidi ku siteegi y’e Mulago ng’ayita takisi.

Bya Martin Ndijjo

BW’OLABA bagayidi oba bayite babbulooka ba takisi nga bakedde okugumba ku siteegi bakola omulimu kondakita gwe yandikoze oyinza okulowooza nti bbula bikolwa naye wa!

Embeera eno evaako abantu bangi okubayisaamu amaaso. Waliwo n’abagamba nti bandibadde babagoba kubanga baleekaanira abantu n’abamu okubuzaabuza abasaabaze ku miwendo gya mmotoka nga bayita takisi.

Wabula abali mu nzirukanya ya takisi mu Kampala batendereza omulimu ogukolebwa bagayidi bano era bagamba nti guno gwe gumu ku mirimu mu takisi egifuna ekiralu.

Eno y’ensonga lwaki ne Bukedde Fa ma mu ku kaweefube w’okutumbula enkolagana n'okuddiza ku bawuliriza baayo, ng’eyita mu kazannyo kaayo aka ‘Nantawunyikamu w’Embuutikizi’ basazeewo okunoonya n’okusiima gayidi wa takisi asinga okuyita takisi.

Okumanya omulimu guno gufuna, waliwo bagayidi abamu abannyuka n’emitwalo 20 olunaku ssente ezisasulwa kondakita wa takisi wiiki ennamba!.

GAYIDI Y’ANI N’OBUVUNANYIZIBWA BWE?

Bano be bantu abakola ku kuyita n’okutikka takisi ku siteegi.

Ennaku zino ku siteegi ezimu kati babayita ba ‘siteegi mansita’ olw’okwagala okulinnyisa ekitibwa kyabwe.

Yasini Ssematimba ssentebe w’ekibiina kya Kampala Operational Taxi Stages Association (KOTSA) agamba nti ng’oggyeko okuyita takisi, gayidi avunaanyizibwa ku byokwerinda by’oku siteegi w’akolera.

“Bwe wabaawo obuzibu bwonna obugudde ku siteegi omuntu asooka okubuuzibwa oba okubugonjoola ye gayidi.

Bano era tubasuubira okuwa abakulembeze ba takisi, poliisi n’ebitongole ebirala ebikuumi, amawuulire agakwata ku bamenyi b’amateeka be baba balabye okugeza ssinga ababbi oba abantu be beekengedde okuba abatujju babaako takisi gye balinnya takisi, gayidi ateegeeza ab’ebyokwerinda kubanga ono amannya takisi gye balinnye, essaawa kwe balinnyidde na wa takisi gy’eraga okusobola okubalondoola,” Ssematimba bw’annyonnyola.

Mu mirimu emirala gye bakola kuliko; okuteekateeka takisi ku siteegi n’okuzirung’amya ku ntikka y’abasaabaze, okukung’aanya ssente za ‘welfare’ eziggyibwa ku buli takisi etikka n’abamu okuzigabanya mu baddereeva ne bakondakita abafuna buli lunaku.

 rank sediwala gayidi ku siteegi ye ulago nga wandiisa nnamba za takisi zaabwe okwewala obuvuyo ku siteegi Frank Ssediwala gayidi ku siteegi y’e Mulago ng’a wandiisa nnamba za takisi zaabwe okwewala obuvuyo ku siteegi.

 

ENGERI GYE BALONDEBWAMU

Ssematimba agamba nti mu mateeka gayidi alondebwa lukiiko lwa siteegi kwakolera era abasinga obungi abalondebwa bava mu baddereeva.

Olukiiko luno era lulina obuyinza okumuggyamu obwesige ssinga balaba nga tokoze bulungi mirimu gyo.

Okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe, gayidi omutuufu alina okuba n’ebisaanyizo okuli;

Okuba n’amazima oba obwesimbu okusobola okukwata obulungi ssente za siteegi.

Ateekeddwa okuba ng’amanyi baddereeva b’oku siteegi okusobola okukolagana nabo obulungi.

Ssematimba agamba nti gayidi omulungi yandibadde n’obumanyirivu obutakka wansi wa myaka etaano nga ddereeva ate ng'akwatagana bulungi ne baddereeva wamu n’abantu abalala abakolera ku siteegi.

BAKOLA MU MPALO

Olw’okuba nti omulimu guno gukwetaagisa okukeera ennyo ku makya ate ng’onnyuka kiro, buli siteegi erondebwako ba gayidi abasukka mw’omu era bano bakola mu mpalo.

Waliwo n’abagabana essaawa okugeza ku makya n’olweggulo. Bano mu nnaku zaabwe ez’okuwummula abasinga bakolamu gwa kuvuga takisi oba obwakondakita.

SIBULI AYITA TAKISI NTI GAYIDI

Ssematimba agamba nti si buli muntu gw’olaba ku siteegi ng’ayimba takisi (okuyita abasaabaze) nti gayidi.

Abamu ku bano ‘bacuba’ abayamba ku bagayidi nga banoonya ‘ekikumi’ era ssente ze baggya ku bakondakita nga bamaze okutikka baziwaayo ewa gayidi wa siteegi.

Ayongerako nti waliwo n’abakyamu abeerimbise mu mulimu guno naddala ku makubo abatondawo bu siteegi.

Abalala babaza ebifo we balaba awakung’aanira abantu ne batandika okusolooza takisi nga ssente baziteeka mu nsawo zaabwe kyokka bano bagezezzaako okwogera nabo okulaba nti beewandiisa mu mateeka basobole okulondoola enzirukanya y’emirimu gyabwe.

“Bagayidi tebakoma mu ppaaka mwoka wabula ne ku makubo kwebali.

Baddereeva abakolera ku luguudo olumu basobola okwekolamu omulimu ne beerondamu bagayidi ne babateeka ku siteegi naddala awakung’anira abasaabaze okubayambako era bano balina obuvunaanyizibwa bwe bumu nga ba gayidi b’omu ppaaka” Ssematimba bw’annyonnyola.

Obumu ku bunonero kw’olabira ba gayidi abatuufu; kaadi y’omulimu, waliwo abambala amataawo (yunifomu) ate abalala babeera n’ebitabo mwe bawandiika takisi ezitikka.

ENSASULWA

Bano ssente ze bafuna ziva kw’ezo ezikuhhaanyizibwa ku buli takisi etikkira ku siteegi we bakolera ziyite eza ‘welfare’.

Tebalina mutemwa gwa nkalakkalira, buli omu afuna okusinziira ku nteekateeka ya siteegi ye.

Okusinziira ku ssemateeka gwe bagoberera, buli siteegi erina omuwendo gwa ssente ezaagerekebwa eziggyibwa ku takisi buli lw’etikka oluvannyuma ne bazeegabanya nga baddereeva ne bakondakita b’oku siteegi mu nkola eya ‘welfare’ n’okuyamba kw’abo abali mu buzibu.

Olw’okuba bagayidi be bavunaanyizibwa okusolooza ssente zino, ku siteegi zaabwe bagerekebwa omutemwa gwa ssente kw’ezo ezikung’anyizibwa eza ‘welfare’ gwe bawaayo eri abakulembeze baabwe ezifikkawo gwe musaala gwabwe.

Obuvunaanyizibwa bwabwe kulaba nti buli takisi etikka buli mulundi esasula basobole okufissaawo ekinene.

Waliwo ne baddereeva oba bakondakita ababawaayo ssente mu ngeri ey’enjawulo olw’okuyita abasaabaze abalala bakikola lwa nkolagana ennungi gye balina nabo era nga bammemba ku lukiiko lwa siteegi bwe batuuka okugabana amagoba nabo bafuna.

BAGAYIDI Boogedde

 

ENGERI GYE BAKOLAMU EMIRIMU GYABWE

Vianney Muwonge, 39, omutuuze w’e Kitala ku Ntebe Road amaze emyaka etaano ng’akola obwa gayidi ku siteegi y’e Ntebe mu ppaaka enkadde.

Agamba nti akeera ssaawa 9:00 mu kiro okutuuka mu ppaaka annyuka 2:30 ez’ekiro.

Ku siteegi eno balina omutemwa gwa kukungaanya ssente 2,5000,000/- ezigabanyizibwa mu baddereeva bana ne bakondakita bana kyokka zino Muwonge agamba nti aziweza era olunaku nga lwamutambulidde bulungi asobola okufiissaawo emitwalo 20.

“Mu biseera ng’ebyenkuba abasaabaze ne takisi ezitikka zibeera ntono era wano ntuuka okunnyuka nga nninamu ezange mitwalo ng’etaano kale ekisinga obukulu kukeera nnyo ate n’okulaba nga okolagana bulungi ne baddereeva."

Agamba teyejjusa kukola mulimu guno abamu gwe basekerera kubanga gumuyimirizzaawo ne famire ye era asobodde n’okugula pulooti e Kitala.

Frank Ssendiwala 38, amaze emyaka 15 ng’akola obwagayidi ku siteegi y’e Mulago.

Yasookera mu bwaddereeva oluvannyuma banne be bamulonda okukola obwa gayidi. Obwa gayidi abukola ennaku ssatu mu wiiki ng’akeera ssaawa 11:00 okutuuka ku siteegi okutikka mmotoka ate annyuka 6:00 ez’ekiro.

Agamba nti emabegako abadde ayoola mudidi kyokka bukya batandika kuddaabiriza ddwaaliro ly’e Mulago, abalwadde abamu ne basindikibwa e Kiruddu n’e Kawempe, ennyingiza ye yakendeera kubanga kati abagendayo batono.

“Ku ssente za ‘welfare’ ze nkunganya (35,000/- eza ddereeva ne 50,000/- ze bafuna buli lunaku) nfissaawo wakati wa 30,000/- ne 50,000/- nga maze okuggyaako eza welfare”.

Agamba nti mu ssente zino asobodde okuyimirizaawo famire ye n’okusomesa abaana be abana.

Muhamad Noha,44, omutuuze w’e Kyengera akolera ku Bugolobi – Luzira siteegi A.

Omulimu gwa takisi yaguyingira mu 1993 nga ddereeva kyokka obwagayidi kati abumazemu emyaka 11 era olw’obwesige banne bwe bamulinamu azze alondebwa buli luvannyuma lw’ekisanja eky’emyaka ebiri nga bwe kiri ku siteegi yaabwe.

Ono agamba wadde asanze okusoomozebwa omuli omusana ogubookya, okuyimirira okumala essaawa empavu, okuleekana nga bayita takisi ekimuleetera n’obulago okusaakala.

Wabula asobodde okugula puloti mwe yazimba ennyumba mw’asula e kyengera n’okuyimirizaawo famire ye.

Buli lunaku afissa omuwendo gwa ssente gwa njawulo kyokka lwe bimusaze takka wansi wa mitwalo esatu.

Olw’enkola y’omulimu gwange ennungi waliwo baddereeva ne bakondakita abamanyi okumpaayo akasiimo bw’ozigattagatta buli muntu z’akuwadde n’ogattako z’enfissawo ku za welfare eka nzirayo n’akaveera akazitowa obulungi.

Robert Gyagenda,45, omutuuze w’omu Kakajjo zooni mu Kisenyi amaze emyaka 20 mu mulimu gwa takisi.

Ebbanga erisinga abadde akola bwakondakita naye kati ayagala kwemalira ku bwagayidi kubanga gumufunira okusinga obwakondakita.

Agamba nti lwe bimusaze wakiri annyuka n’emitwalo ebiri.

Ronald Kasozi akolera ku siteegi y’oku Centenary Park ku Yard. Agamba nti ku siteegi yaabwe bakolera mu ssaawa nga waliwo abakeera 10:00 ez’ekiro ne bannyuka ku 7:00 ez’emisana abalala ne batandikira wano ne bannyuka ku 1:00 ey’akawungeezi ate abalala ne batandikira awo ne bannyuka ku 6:00 ekiro wadde ng’amateeka gabalagira kunyuka 4:00 ez’ekiro.

Bano buli omu alina ssente ezimugerekerwa okukungaanya okusinziira ku budde bw’akoze ezifikkawo ziba zize.

Tayogera ssente z’afuna. Agamba nti olukiiko lwa siteegi ye lwasalawo abantu babiri buli omu okufuna 120,000/- buli lunaku eza welfare.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini