TOP

‘Tulokose tetukyaddamu kubba’

By Edward Luyimbazi

Added 20th April 2017

POLIISI y’e Kinnawattaka - Mbuya mu munisipaali y’e Nakawa ekoze ekikwekweto n’eyoola abavubuka abasukka mu 30 abagambibwa okubeera mu kibinja abeeyita aba UNATO abatigomya ebitundu by’e Kinnawattaka Mbuya n’ebiriranyeewo.

Break 703x422

Meeya Balimwezo (mu kkooti ) ne RCC we Nakawa Jakie Kemigisha (ku ddyo) nga basunsula abamu ku baakwatiddwa.

Kyakulembeddwa Brayan Ibembe akulira poliisi eno nga kyayindidde mu Zooni omuli Mbuya, Kinnawattaka, Katogo, Banda gye baasanze abavubuka abawera nga banywa enjaga.

Lawrence Kiwanuka ssentebe wa LC 2 ow’omuluka gwa Mbuya 1 yategeezezza nti baakoze ekikwekweto kino kuba obubbi bubadde buzzeemu mu bitundu bino.

Abamu ku bavubuka bano bakkirizza okunywa enjaga n’okutigomya abatuuze mu bitundu by’e Nakawa eby’enjawulo ne basaba Meeya Ronald Balimwezo Nsubuga n’omubaka wa Gavumenti Jackie Kemigisha Kiiza okubasonyiwa ne bategeeza nti, “tulokose tetugenda kuddamu kwenyigira mu bikolwa bya bumenyi bw’amateeka.”

Ibembe yategeezezza nti abavubuka bano babakutte emirundi mingi mu bikolwa by’obubbi era tebagenda kubasonyiwa, bagenda kubatwala mu kkooti ebavunaane basindikibwe mu kkomera basobole okubonerera olwo balyoke babakwase Meeya Balimwezo ne RCC Kemigisha babafunire eby’okukola.

Dan Balengera ow’e Mbuya nga y’omu ku bavunaanyizibwa ku by’okwerinda yagambye nti abakwatiddwa b’ebo bennyini abatigomya Kinnawattaka era wiiki ewedde waliwo Omuyindi gwe baateega ne bamunyagako ssente n’ebintu bye.

Balimwezo yagambye nti obubbi bubadde buyitiridde mu Nakawa ng’abavubuka abali wansi w’emyaka 18 be basinga okubwenyigiramu n’asiima poliisi eyakoze ekikwekweto kino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kwata3 220x290

Olukung'aana lwa 'Togikwatako'...

Olukung'aana lwa 'Togikwatako' e Kasubi luggweeredde mu mayinja na masasi

Batle 220x290

Morocco y'egenda okutegeka eza...

AKAKIIKO k’ebigwa bitaraze mu CAF ekibiina ekiddukanya omupiira ku lukalu lwa Africa nga kakubirizibwa ssentebe...

Nuwagaba 220x290

Omuwanika wa Olympics Committee...

Munnabyamizannyo abadde omuwanika mu bitongole by’emizannyo n’amasomero, Godfrey Nuwagaba afudde kibwatukira amakya...

Huda1 220x290

Ggoolokipa bamutomedde ku kisaawe...

GGOOLOKIPA wa Persela, Choirul Huda afiridde ku myaka 38 oluvannyuma lw’okutomeragana ne bazannyi banne ng’ataasa...

Manya 220x290

Ying. alumirizza abajaasi okumusaba...

YINGINIYA mu minisitule y'ebyokwerinda alumirizza abakulira ettendekero ly'amagye okumusaba enguzi asobole okuweebwa...