TOP

Bajeti ya KCCA eyongedde okukalubya Kampala

By Ahmed Mukiibi

Added 7th June 2017

KAMPALA agenda kwongera okukaluba olw’emisolo KCCA gy’erinnyisizza mu mwaka omupya 2017/18 ogutandika nga July 1, 2017.

Pada1 703x422

an intolerance of light

Bannakampala naddala abakola bizinensi mu Kampala balina okwesiba ebbiri kuba ng’oggyeeko emisolo ne layisinsi ebibakaabya akayirigombe, ne ssente z’obupangisa nazo zigenda kwekanama olwa bannanyini bizimbe abalaga nti nabo embeera ebakaluubiridde.

Bajeti ya KCCA ey’omwaka 2017/18, ya buwumbi 337 n’obukadde 390 nga KCCA esuubirwa okukuηηaanya obuwumbi 122 n’obukadde 800 nga zaakuva mu ssente eza layisinsi, empooza, obusuulu bw’amayumba n’amakubo amalala mwe basolooza ensimbi.

Eno y’enteekateeka KCCA gy’ekoze okusobola okukuηηaanya obuwumbi 122 n’obukadde 800 mu mwaka omupya.

PULAANI Z’EBIZIMBE ZIRINNYISIDDWA EBITUNDU 150 KU 100:

KCCA ekubisizzaamu omulundi gumu n’ekitundu (ebitundu 150 ku 100) ssente z’ebadde eggya ku bantu abatwalayo pulaani z’ebizimbe byabwe okuyisibwa. Kino kitandika okukola nga July 1, 2017, omwaka ogw’ebyensimbi 2017/18.

Ekiwandiiko ekya bajeti ya KCCA eyayisiddwa Palamenti kyannyonnyoddwa nga kiraga nti mu kiseera kino buli Square meter ku buli mwaliiro gw’ekizimbe ebadde esasulirwa 1,000/- kati ssente ezo zongezeddwa okutuuka ku 2,500/- buli Square meter.

Kino kitegeeza nti mu Kampala, ekizimbe ekya kalina ensaamusaamu nga kya myaliiro ng’ena kibeera ne Square meter nga 357 , ekitegeeza nti buli mwaliiro ku kizimbe kino ogubadde gusasulirwa 357,000/-, ssente KCCA ezirinnyisizza okutuuka ku 892,500. Ssente ezo bw’ozikubisaamu emyaliiro ena, zirinnya okuva ku 1,428,000/- okutuuka ku 3,570,000/-.

Mu pulaani z’amayumba, KCCA esuubira okukuηηaanyawo 3,016,605,132/- mu 2017/18

EBIPANDE BY’OKU NGUUDO KUKUSIBIDDWAAMU EMIRUNDI 2

Okussa ekirango kyonna ku nguudo z’omu Kampala kulinnyisiddwa ebitundu 100 ku 100 mu Central Business District (CRD) ate okussa ekirango kyonna ku nguudo z’omu Kampala eziri ebweru wa CBD, kulinnyisiddwa ebitundu 50 ku 100.

Okugeza ekipande (Bill board) ekyobugazi obwa 6x2 ekibadde kisasulirwa obukadde bubiri n’ekitundu buli mwezi kigenda kusasulirwa obukadde butaano bwe kiba nga kiri mu CBD ate bwe kiba nga kitimbiddwa bweru wa CBD kyongezeddwa okutuuka 3,750,000/- buli mwezi okuva nga July 1, 2017.

KCCA egamba nti yali yakoma okulinnyisa ensimbi ez’okulangira ku nguudo ez’omu Kampala emyaka 10 egiyise kyokka okunoonyereza Bukedde kwe yakoze kwazudde ng’ekitongole KCC ekyaliwo ebiseera ebiyise kyakoma okukyusa emiwendo mu 2009.

Wano KCCA esuubirwa okukuη− ηaanyawo 4,085,221,610/- mu mwaka mulamba 2017/18.

PAAKINGI ERINNYE EBITUNDU 50 KU 100

Ssente za paakingi mu Kampala zirinnyisiddwa ebitundu 50 ku 100 okutandika nga July 1, 2017.

KCCA agamba nti ssente za paakingi zaakoma okulinnyisibwa emyaka musanvu egiyise era nti okulinnyisa ku ssente za paakingi kigenda kukendeeza ku mujjuzo gw’emmotoka mu Kampala.

Ng’oggyeeko paakingi ez’obwannannyini eziri ku bizimbe n’ebibangirizi, okupaakinga ku nguudo z’omu Kampala okuddukanyizibwa kkampuni ya Multiplex kusasulirwa buli ssaawa.

Buli ssaawa ebbiri ezisooka zibadde zisasulirwa 400/- buli ssaawa ate buli ddakiika 30 eziddako ne zisasulirwa 400/- buli lwe ziggwaako. Kino kitegeeza nti buli ssaawa ebbiri ezisooka za 600/- buli ssaawa ne buli ddaakiika 30 eziddako za 600/- okutandika nga July1, 2017.

Tikiti eza buli mwezi eya paakingi ebadde ku 42,000/- kati yaakugula 63,000/- ate tikiti ey’emyezi esatu ebadde ku 120,000/- kati ezze ku 180,000/- ate tikiti ya loole ey’emmotoka ennene ey’omwezi ebadde ku 84,000/- kati ezze ku 126,000/-.

Mu paakingi, KCCA esuubira okukuηηaanyamu 26,033,321,643/- mu mwaka gwa 2017/18 nga kuliko obuwumbi 15 obusuubirwa okuva mu paaka za takisi, obuwumbi 3 n’obukadde 200,

OBUSUULU BW’EBIZIMBE BULINNYE EMIRUNDI ESATU

Obusuulu bw’ebizimbe mu Kampala, KCCA ebukubisizzaamu emirundi esatu okutandika nga July 1, 2017. Kino kitegeeza nti nnannyini kizimbe mu Kampala abadde asasula obukadde 12 buli mwaka, kati waakusasula obukadde 36.

Mu kulinnyisa obusuulu bw’ebizimbe esuubira okukuη− ηaanya 30,416,433,244/- mu mwaka mulamba nga kuliko n’ensimbi 3,691,975,990/- KCCA z’ebanja bannannyini bizimbe abaagiryazaamanyizza mu mwaka guno.

Wabula waliwo abamu ku bannannyini bizimbe abalaalise okutwala KCCA mu mbuga z’amateeka nga bawakanya okulinnyisibwa kw’obusuulu bw’ebizimbe.

KCCA agamba nti buli luvannyuma lw’emyaka etaano, ekola ennongoosereza mu busuulu bw’ebizimbe era nga waliwo ennongoosereza ezaakolebwa mu 2005, ne 2011 nga kati ze zikoleddwaamu enkyukakyuka okusobola okuzituusa ku mutindo.

AMAKUBO AMALALA KCCA MWETEZE SSENTE: LAYISINSI KCCA

esuubirwa okukuηηaanya ensimbi 18, 935,690,608/- mu layisinsi za bizinensi ez’enjawulo mu Kampala. Mu kiseera kino KCCA yaakawandiisa bizinensi 76,027 nga zino KCCA eteekateeka okuzikuηηaanyaamu ensimbi 15,046,803,108/-.

Mu bajeti yaabwe, aba KCCA baagambye nti basuubirwa okuwandiisa buzinensi empya 3,800 nga zino mulimu; bbanka, amalwaliro, ebibanda bya ssente, amaduuka agatunda eddagala, bannamateeka, abapunta, bayinginiya n’abakugu abalala abakolera mu Kampala.

Layisinsi eza bizinensi empya 3,800, KCCA ezisuubirwa okuzikuηηaanyamu ensimbi 2,386,500,000/-, olwo, ensimbi zonna ezigenda okuva mu layisinsi mu mwaka 2017/18 zisuubirwa okuwera 18,935,690,608/-

SSENTE ENDALA KCCA Z’ESUUBIRA OKUKUNG’AANA MU 2017/18;

• Obutale: 2,575,162,400/-

• Fiizi z’ebyettaka: 6,428,851,236/-

• Omusolo ogwa Local Service Tax (LST); 14,195,884,319/-

• Omusolo gwa loogi ne wooteeri: 3,916,015,615/-

• Amakubo amalala gasuubirwa okuvaamu 3,614,131,101/-

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

emboOKO z’abawala ezongedde ebbugumu...

Endabika y’abawala bano (okuba abalungi mu ffeesi) n’okuba ne ffiga ennungi tebikomye ku kubatunda nga bbo mu bantu,...

Nnasale 220x290

Omusomesa wa King Fahad asobezza...

POLIISI ekutte omusomesa w’essomero lya King Fahad Islamic Primary School e Nateete nga kigambibwa nti yasobezza...

Kwiini 220x290

Nnabe agudde mu Bwakabaka bwa Bungereza:...

NNABE agudde mu bwakabaka obusinga amaanyi mu nsi yonna, Kkwiini wa Bungereza bw’awummuzza mutabani we ow’ekyejo...

Kola 220x290

Museveni awabudde ku bakukusa ebyamaguzi...

PULEZIDENTI Museveni awabudde ebitongole by’omusolo ku lukalu lwa Africa ku byamaguzi ebikukusibwa. Abiwadde amagezi...

Genda 220x290

King Micheal ne Big Eye bagudde...

King Micheal ne Big Eye bagudde mu bintu. Pulezidenti Museveni abawadde buli omu ente 30.