TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omugagga Drake Lubega agobeddwa ku ttaka ly'ewa Kisekka

Omugagga Drake Lubega agobeddwa ku ttaka ly'ewa Kisekka

By Musasi wa Bukedde

Added 14th June 2017

OMULAMUZI wa kkooti etuula ku Tweed tower mu Kampala, Suzan Kanyange ayisizza ekiragiro ekigoba omugagga Drake Lubega obutabaako na kintu kyonna ky'akolera ku ttaka ly'ewa Kisekka lye bakaayanira ne Juma Ssegawa Tamale, ekiseera kino ali mu kkomera e Luzira.

20126largeimg212jun2012054056550703422 703x422

Drake Lubega

OMULAMUZI wa kkooti etuula ku Tweed tower mu Kampala, Suzan Kanyange ayisizza ekiragiro ekigoba omugagga Drake Lubega obutabaako na kintu kyonna ky'akolera ku ttaka ly'ewa Kisekka lye bakaayanira ne Juma Ssegawa Tamale, ekiseera kino ali mu kkomera e Luzira.

Omulamuzi okuyisa ekiragiro kino kiddiridde Ssegawa okuloopa 
Kampala Districk Land board, DL properties ey'omugagga Drake Lubega n'abalala bana nga abavunaana okwekobaana ne bafulumya ebyapa ebijingirire ku ttaka lino nga biri mu mannya ga DL properties.

Ssegawa agamba nti ettaka lino lyali lya kibiina kya Lory park operators and drivers association ekyali ekya kitaawe Hajji Abdullah Tamale wabula Ephraim Ntaganda ne yeekobaana ne Sam Baliruno eyali mmemba mu kibiina ekyo n'amuguza ettaka mu bukyamu.

Ssegawa ng'ayita mu looya we Patricia  Okum Ringa yasaba kkooti eteekewo ekiragiro obutabaawo asaalimbira ku ttaka eryo okutuusa ng'omusango gwe yabaggulako ogw'okujingirira ebyapa nga guwedde okuwezebwa.

Wabaddewo n'okutya nti abawawaabirwa babadde bayinza okubulankanya ettaka lino nga Ssegawa ali mu kkomera.

Omulamuzi Kanyange yakkirizza  okusaba kwa Ssegawa ekintu ekiresse abagagga Drake Lubega ne Ntaganda nga basobeddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sky2 220x290

URA eggaddewo SkyLight Arcade abasuubuzi...

WAABADDEWO akassattiro mu kibuga abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Sky Light Arcade bwe baasanze ng'amaduuka...

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.