TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • ‘Abagagga beefuga akatale k’abatembeeyi akateekebwa ku Luwum Street

‘Abagagga beefuga akatale k’abatembeeyi akateekebwa ku Luwum Street

By Moses Kigongo

Added 12th July 2017

Akatale kano kaatandikibwawo mu 2015 oluvannyuma lw’okusika omuguwa okwaliwo wakati wa KCCA n’abatembeeeyi nga bagezaako okubasengula mu bifo eby’enjawulo bye bali bakoleramu mu kibuga wakati ne ku nguudo ez’enjawulo.

Sunday1 703x422

Abasuubuzi nga bakakkalabya emirimu gyabwe mu katale ka Ssande akabeera ku Luwum Street.

Akatale KCCA ke yatandikirawo abatembeeyi b’omu kibuga Kampala kawezezza emyaka mu August wa 2015 buli lw’oyita mu kibuga wakati ku Ssande weesanga ng’enguudo ezimu ezikayingira ziggaddwa okusobozesa abasuubuzi okutunda emmaali yaabwe omuli; engoye, engatto, ensawo z’abakyala ku Luwum Street awatali abakuba ku mukono.

 

MOSES KIGONGO akubye ttooci mu katale kano n’abaako by’azuula era abikuleetedde.

 

AKATATALE KANO KAATANDIKA KATYA?

Akatale kano kaatandikibwawo mu 2015 oluvannyuma lw’okusika omuguwa okwaliwo wakati wa KCCA n’abatembeeeyi nga bagezaako okubasengula mu bifo eby’enjawulo bye bali bakoleramu mu kibuga wakati ne ku nguudo ez’enjawulo.

 

Embeera eno yatabula nnyo abatembeeyi ne batuuka n’okulwanagana n’abamu ku baserikale ba KCCA nga baagala babaleke basigale nga beeyiiyiza mu kibuga nga Bannayuganda abalala abalina omugabo ku keeki y’eggwanga lino.

 

Kino kyawaliriza KCCA okusalawo okubawaayo olunaku lumu mu wiiki, eno ye yali entandikwa y’okutondawo akatale kano aka Ssande. Okola atya okukeeta bamu?

 basuubuzi nga bakola mu katale ka sande akabeera ku uwum treet Abasuubuzi nga bakola mu katale ka Ssande akabeera ku Luwum Street.

 

 

Ku ntandikwa buli musuubuzi yalina okugenda ku kitebe kya KCCA (City Hall) okwewandiisa asobole okuteekebwa ku lukalala lw’abasuubuzi abaali bagenda okutandika okukolera mu katale kano.

 

Era buli omu yawangayo 10,000/- ne bamuwa lisiiti gye yeeyambisanga okufuna ekifo mu katale kano.

 

Wabula ennaku zino KCCA yateekawo ekifo okuliraana Radio One omusuubuzi yenna abeera ayagala okwegatta ku katale kano we yeewandiisiriza era buli omu wa ddembe okukituukamu ne yeewandiisa okusobola okuweebwa ekifo wanaatandikira okuyiiyiza obulamu.

 

KONGERA KUKULA OBA KUKKA?

Okusinziira ku basuubuzi ab’enjawulo abaakulembeddwa John Masembe omu ku batembeeyi abakolera mu katale kano bategeezezza nti wadde nga wakyaliwo okusoomozebwa okutonotono, akatale kaabwe keeyongedde okukwata Bannakampala omubabiro.

 

Ono yategeezezza nti; “Kasookedde Jennifer Musisi atandika kutuyiiyiza nga Bannakampala, ku luno yatuyiiyiriza kano akatale ka Ssande kubanga katuyambye nnyo ng’abasuuzi ba wansi okweggya mu bwavu.

 

Ennaku zino tusobola okukayiiyizaamu ssente ezisobola okutubeezawo n’okusasula amabanja ag’enjawulo ge tuba tulidde mu wiiki ennamba gye tubeera tumaze nga tetutunda.

 

Ono yawagiddwa Moses Birungi eyakkaatiriza ensonga y’obungi bw’abantu abagenda beeyongera mu katale kano omuli ne basuubuzi bannaabwe abaali basoose okukeesamba nga balowooza nti kayinza obutavaamu bibala nga bwe bazze balaba obutale bwa KCCA obulala.

 

Era ayongerako nti embeera eno yawalirizza n’abakungu ba KCCA okwongera okugaziya ensalo za KCCA okutuuka ku luguudo lwa Ntebe rd wamu ne Yamaha Center ebimu ku bifo ebitaasooka kweyambisibwa.

 

EBIRUNGI EBIKALIMU;

Akatale kano kayambye abasuubuzi naddala bamufunampola okwongera okuyingiza ku ssente olw’abaguzi abangi abakabeeramu okwawukanako ne mbeera abamu gye babadde bakoleramu mu butale bwa KCCA obw’enjawulo nga USAFI ne Wandegeya gye bagamba nti eno abaguzi babadde tebalabikayo.

 

Akatale kano era kayambye ne Bannakampala ababadde basanga obuzibu okutambula okukkirira mu butale bw’abasuubuzi obwenjawulo nga St. Balikudembe ne USAFI kubanga abasuubuzi ab’enjawulo babasembereza emmaali okumpi n’ebifo nga ppaaka enkadde we basobola okufunira entambula amangu nga bamaze okugula ebintu.

 

Robert Kyeyune,Ndeeba; Embeera mwe tukolera mu katale kaffe kano egenda erongooka buli lukya era tusaba bakama baffe aba KCCA bongere okukolaganira wamu naffe abasuubuzi abakakoleramu okwongera okukakulaakulanya n’okukaagazisa bannaffe abalala.

 

Jamirah Mukasa,Ndejje; Simanyi lwaki KCCA tetugerekera ssente okusinziira ku nfuna wamu n’engeri omuntu gy’abeera akozeemu olunaku olwo kubanga buli lw’otugerekera empooza eyawamu obeera tolaze bwenkanya kubanga ffena enfuna yaffe si yeemu.

 

Abdul Kimbugwe, Masanafu; KCCA yakola bulungi okututeekerawo akatale kano mwe tweyiiyiza ku Ssande wabula mbasaba batukendeerezeko ku mpooza kubanga olumu ebintu bigaana nga ffenna bwe tumanyi, embeera y’ebyenfuna bw’etambula mu kibuga.

 

Keron Santana,Nansana; Ennaku zino tuli basanyufu n’enkola ya KCCA ey’okutuleka ne tusooka tweyiiya nga tetunnagisasula ssente zaayo ez’empooza okwawukanako n’enkola yaayo enkadde mwe yazitusabiranga nga twakasumulula emmaali yaffe.

 

Hawa Kigozi,Mbiko; Gavumenti yandibadde etugerekera ssente eziri wakati we 2,000/- ne 3,000/- buli lwa Ssande lwe tukolera mu kifo kyabwe okusinga okutusaba 11,000/- kubanga abasinga tulina kapito wa 50,000/- nga bw’omutoolako ssente ze batusaba obeera ozannyira mu kapito yennyini.

 

‘Abagagga beefuga Abantu bye boogera akatale k’abatembeeyi akateekebwa ku Luwum St’ eby’enjawulo.

 

Abasuubuzi era basiimye n’enkola ya KCCA ey’okubawa obudde ne basooka bamala okweyiiya nga tebannabasasuza mpooza okwawukanako n’enkola enkadde ebaddewo.

 

Era basanyufu nti ennaku zino basobola n’okutegeeragana n’abamu ku bakungu b’ekitongole kino lwe babeera tebatunze mmali yaabwe ne babasasulayo ssente ensaamusaamu.

 

 

KUSOOMOZEBWA KI ABATEMBEEYI KWE BASANGA MU KATALE KANO?

 

Joseph Kagoro ssentebe w’abatembeeyi mu Kampala agamba nti; Tulina okusoomoozebwa okuviira ddala ku bunafu bwa KCCA obw’okulemererwa okugoba abasuubuzi abagagga abeerimbika mu kifaananyi ky’abatembeeyi ne beegazaanyiza mu katale kaabwe kano.

Ono annyonnyola nti abatembeeyi abatuufu tebalina busobozi kusasula mpooza ya 10,000/- gye babasaba era mbu abo abazisasula be bagagga abaleeta emmaali yaabwe okuva mu maduuka gaabwe ne bagayiwa mu bifo ebyandibade bikolerwamu abatembeeyi n’ekigendererwa ky’okweyambisa omukisa gw’abasuubuzi abatalina busobozi.

 

Ono naye yawagiddwa Harriet Nabaggala eyanokoddeyo ensonga ey’abasuubuzi be yayogeddeko ng’ abafere abeekwata ebifo ebisava n’ekigendererwa ky’okubipangisa bannaabwe ababeera bazze okubikoleramu.

 

Era agamba nti bano babasasuza 10,000/- okubakkiriza okukolerawo kyokka nga ne KCCA babeera balina okugisasula ssente zaayo ez’empooza (11,000/-).

 

Abasuubuzi abamu babadde beemulugunya ku ngeri ssente z’empooza gye zalinnyisibwa okuva ku 10,000 okutuuka ku 11,000/- era nga batya nti osanga KCCA yandibeefuulira n’eyongeza ssente ezo okutuusa lwe baneegoba mu bifo byabwe olw’obutabeera na busobozi buzisasula.

 

KCCA KYEGAMBA?

Omumyuka wa dayirekita wa kcca ow’ekikula ky’abantu n’okukulaakulanya ebitundu Esau Galukande yagambye nti ssente ezisooloozebwa ku basuubuzi zibayamba okubakolera ku nsonga zaabwe omuli; okubateerawo kaabuyonjo okumpi ne we bakolera, obukuumi n’okubayonjeza ebifo byabwe bye baba basuddemu kasasiro.

 

Era n’atujjuliza nti ebisingawo tubibuuze omwogezi w’ekitongole, Peter Kaujju.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini