TOP

Owa KCCA awakanyizza eky'okukyusa Kampala okumuzza e Nakasongola

By Muwanga Kakooza

Added 21st July 2017

OMUMYUKA w’omukungu wa KCCA avunaanyizibwa ku by’enkulaakulana y’ebyobusuubuzi, Patrick Musoke awabudde ku ky’okukyusa ekibuga ekikulu okuzzibwa e Nakasongola.

Unicef1 703x422

Omumyuka w’omukungu wa KCCA avunaanyizibwa ku nkulakulana y’ebyobusuubuzi Patrick Musoke ng’ayogera mu lukiiko.

Musoke agambye nti  kiyinza obutayamba okuggyako ng’embeera y’ebyenfuna evaako Kampala okudobonkana y’ekyuse.

Musoke agamba nti embeera y’ebyenfuna evaako Kampala okudobonkana bw’etakyusibwa ekibuga ne kinazzibwa e Nakasongola ebizibu bisobola okukigoberera abakitutteyo ne batafuna.

Ebimu ku bireetedde  ekibuga obutatambula be bantu okuzimba mu ngeri etagoberera pulaani n’omuwendo gw’abavubuka abajja okunoonya emirimu okutuuka mu Kampala ne gibagula.

Mu  ngeri y’emu Musoke  awabudde ku bbago eryanguyiza gavumenti okutwala ettaka ly’abantu okukolerako ebikulaakulanya eggwanga eryaleeteddwa mu Palamenti n’agamba  nti esira lisaanye kussibwa ku kusomesa abantu omugaso  gw’enkulaakulana eba egenda okubaleetebwa.

Kino agamba KCCA ebadde ekikola ng’ekola enguudo n’ebintu ebirala ng’abantu bannyonnyolwa ebirungi ebiri mu pulojekiti gavumenti z’eba ebaleetedde.

Omukungu w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kutegekera eggwanga  ekya ‘’National Planning Authority’’  Dr. John Ssekamate Ssebuliba naye ategeezezza nti kyetaaga wassibwewo enkola erekera abantu ebbeetu okugula n’okutunda ettaka ekyere nga gavumenti tebiyingiddemu kisobole okumalawo enkaayana.

Era etteeka eryanguyiza gavumenti okutwala ettaka okussaako enkulaakulana liyingiramu luvannyuma nnyo ng’abantu bagaanyi kutunda ttaka.

Bino baabitegeezezza ku mukolo gw’okutongoza lipooti ekwata ku ngeri enkyukakyuka mu mbeera z’obudde  wamu n’ebibuga  okweyongera  gy’ekosaamu abaana.

Lipooti eno eyakoleddwa  ebitongole okuli KCCA , eky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku baana ekya UNICEF, ekivunaanyizibwa ku by’emiwendo UBOS  n’ekitegekera eggwanga yatongozeddwa mu Kampala.

Ekimu ku bikosa embeera z’abaana y’ekyukakyuka y’embeera z’obudde era ekimu ku byayogeddwaako kwe kweyongera kw’ebbumu  buli kaseera okuliwo mu    Uganda.

Nga mu myaka 20 egijja Uganda ejja kuba yeeyongeddeko ebbuggumu  lya diguli emu n’ekitundu (1.5 C)  ekisuubirwa okuvaamu ekyeya okweyongera kiveeko ebbula ly’emmere  n’endya embi, wamu n’enkuba okutonnya ennyo  ekijja okuvaako  okwanjaala kw’amazzi ekisuubirwa okwonoona ebintu.

Ng’ate n’ebibuga ebyeyongera buli kaseera nabyo bikosa abaana kuba birimu endya mbi, obwavu, ebikolwa nga obwamalaaya n’ebirala era abakugu bagamba gavumenti ebeeko ky’ekola okutangira embeera eno.

Embeera abaana gye balimu teyeeyagaza mu ngeri nnyingi ng’abamu baakona n’abalala tebagenda ku ssomero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup