TOP

Ekibbattaka mu Kampala

By Benjamin Ssebaggala

Added 26th July 2017

EKIBBA ttaka nga kinyinyiitidde mu Kampala n’emiriraano, Dayirekita w’ekitongole kya KCCA, Jennifer Musisi yategeezezza nti balina okuliwa buwumbi ku misango gy’ebyettaka egizze gimegga KCCA nga giva mu nsobi ezimu eziringa ehhenderere.

Kibba1 703x422

Charles Ouma (ku kkono) addiriddwa Joseph Atwine, Michael Okua ne Jennifer Musisi bwe baabadde mu kakiiko k’ettaka.

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA , ALICE NAMUTEBI ne LAWRENCE KITATTA

EKIBBA ttaka nga kinyinyiitidde mu Kampala n’emiriraano, Dayirekita w’ekitongole kya KCCA, Jennifer Musisi yategeezezza nti balina okuliwa buwumbi ku misango gy’ebyettaka egizze gimegga KCCA nga giva mu nsobi ezimu eziringa ehhenderere.

Ono bwe yabadde mu kakiiko akabuuliriza ku by’ettaka, yategeezezza Omulamuzi nti ekizibu kye basinze okusanga ku ttaka mu Kampala mulimu abafere bangi abeekomya ettaka lya gavumenti.

Balina okuliwa 5,313,328,578/- ng’ensobi zikoleddwa lukiiko lw’ettaka olwa Kampala.

Yagambye nti olumu waliwo ettaka erigabibwa emirundi ebiri ng’akakiiko ka Uganda Land Commission kagaba liizi ku ttaka, olukiiko lwa Kampala lwe lyagaba edda awamu ettaka ne ligabibwa ng’olukiiko lw’ebyettaka teruyisizza kiteeso kirigaba.

Ekiseera kino bali mu kulwana okununula omwala gwa Nakivubo ogwagabibwa KCC ettaka ne baliwa Marian Kitandwe LTD.

 kizimbe ekizimbibwa awaali essomero lya himon emonstration chool Ekizimbe ekizimbibwa awaali essomero lya Shimon Demonstration School.

 

Ezimu ku poloti ze yanokoddeyo ULC (akakiiko k’ebyettaka ke lyagaba ng’ate KCCA eririnako liizi kuliko: Polot 3 Naguru road, poloti 4A-12A Namugera road, poloti 10A-16A Naguru road.

Ettaka erimu basitaana okufuna ebiwandiiko byalyo nga bwe kiri ku bbulooka 4 poloti 348 Kisingiri Estate, bbulooka 213, poloti 1531 ne 1532 erya kiriniki y’e Bukoto, poloti 83 Lugogo Bypass (Rotary Avenue baaliwaako kkampuni ya Saracen Ltd liizi.

Ssentebe w’olukiiko lw’ettaka mu Kampala, Yusuf Nsibambi, gyebuvuddeko ng’ali mu kakiiko yategeezezza nti mu Kampala mulimu ekibondo ky’abamafia abeekobaana n’abamu ku bamanyi eby’ettaka mu KCCA ne bakweka ebirikwatako kyokka olukiiko lw’akulembera bwe lumala okugabako liizi ng’ate bavaayo nga bawawaabira KCCA ebaliyirire.

GWE BAAGUZA ETTAKA LY’E LUGOGO BAAKUMULIYIRIRA OBUWUMBI 21.

Okusinziira ku biwandiiko bya kkooti, Lukyamuzi Investments yafuna ettaka ly’ekisaawe ky’e Lugogo ekiri wakati wa Shoprite n’ekibangirizi ky’amakolero.

Olukiiko lw’ebyettaka mu Kampala lwali luwadde KCCA ettaka lye limu eteekewo ekibangirizi ky’emizannyo. Ettaka liri ku poloti 10A- 16A, Naguru Walk, Coronation road e Lugogo liwerako yiika 6. Lukyamuzi Investments yatwala olukiiko lw’ebyettaka mu Kampala mu kkooti.

 usuf sibambi sentebe wolukiiko lwebyettaka olwa ampala ne mmy aliggo omuwandiisi wolukiiko nga bali mu kakiiko kebyettaka Yusuf Nsibambi ,Ssentebe w’olukiiko lw’ebyettaka olwa Kampala ne Emmy Waliggo omuwandiisi w’olukiiko nga bali mu kakiiko k’ebyettaka.

 

Omulamuzi Andrew K. Bashaija yawulidde omusango n’agusala nga February 28, 2017 ng’akakasa nti Lukyamuzi Investments ye nnannyini ttaka omutuufu n’alagira KCCA emuliyirire.

Yalagidde bamuliyirire obukadde 400 olw’okufiirizibwa kwe baamutuusaako. Ssente zino nga ziriko amagoba era n’awa ekiragiro aliyirirwe n’ensimbi endala.

Abakulira olukiiko lw’ebyettaka mu Kampala bwe baabadde mu kakiiko k’ebyettaka baakategeezezza nti balina okuliyirira Lukyamuzi Investments 21,600,000,000/- kyokka baajulira.

Omusango omulala oguli ku nnamba 317/2010, Paul Preet Taneja yawawaabira KCCA ku ttaka eriri ku poloti 65/67 Seventh Street Industrial Area.

Baategeeragana addizibwe ettaka lino era kkooti n’eragira kaminsona w’ebyapa okuddamu okumukolera ekyapa ekikakasa obwannannyini ku ttaka eryo KCCA lye yali ewadde Conveyors & Transmission Soulutions LTD.

Ensala ya kkooti mu musango guno yalagira KCCA mu nnaku 30 zokka esasule Conveyors & Transmission Soulutions LTD , 217,500,000/-. Kuno yalina okugattako okusasula emisoso emirala.

Omusango omulala, Joyce A. Nantabi Kaddu yawawaabira Ida Bekeni Munialo ku ttaka lya poloti 6 Binayomba rise e Bugolobi. Nga September 25, 2015, Omulamuzi J. W. Kwesiga yalagidde KCCA ne Bekeni bakwatagane baliyirire Nantabi 200,000,000/-

Egyo gimu ku misango emingi egizze gimegga KCCA mw’erina okusasulira obuwumbi bwa ssente mu kuliyirira abazze bagiwawaabira, olw’emivuyo egy’enjawulo egizze gikolebwa ku ttaka mu Kampala.

 

EMIVUYO KU LIMBO YA KCCA E BUKASA:

Ettaka lya limbo lyali liweza yiika 40, abantu bazze balisengako ng’avunaanyizibwa okukuuma ekifo y’abaguza okukkakkana nga wasigaddewo yiika 5.

Herbert Miiro Katabalwa eyali akulira olukiiko lw’ettaka ku disitulikiti y’e Wakiso yagambye nti baasalawo okukkiriza okutunda ettaka lya limbo ya KCCA e Bukasa abantu bazimbeko amayumba kubanga emirambo gyali gisusse okubawunyirira.

Yabadde mu kakiiko akabuuliriza ku mivuyo egiri mu by’ettaka n’ategeeza nti ddereeva avuga emmotoka etwala emirambo okugiziika e Bukasa, olumu yatuukanga e Kira n’agisimba awo mu kitundu awabeera abantu ye n’agenda okunoonya waalya emmere oba okwenywera ku caayi olwo ekivundu ne kikuba ekitundu kyonna.

Yannyonnyodde nti teyakoma awo, olumu emirambo yagisuulangayo busuuzi mu limbo nga tebagiziise ekivundu ne kibuutikira wonna.

Wano Katabalwa we yasinziira nga bw’alaba agenze e Wakiso okusaba ekyapa ku ttaka lino newankubadde lyali lya gavumenti, yakkiriza okugabako ebyapa eby’obwannannyini obw’enkomeredde (Free hold).

Yategeezezza Omulamuzi Catherine Bamugemereire nti KCCA okukwata limbo ne bagiteeka e Kira baakiraba ng’okuyiikiriza kubanga ettaka lya Kira esangibwa e Wakiso si Kampala KCCA gy’efuga.

 

AMASOMERO AGAZZE GASENGULWA AGAMU ETTAKA NE LITWALIBWA:

• Jennifer Musisi bwe yabadde mu kakiiko yategeezezza nti ettaka lya Nabagereka Primary School ku luguudo lwa Mwanga II , Uganda Land Commission yaliguza Boost Investments Ltd ne Buganda Land Board n’enyweza liizi ng’ettaka libaddidde.

• Mu 2007 Shimon Demostration School lyasengulwa nga bagenda kuzimbawo wooteeri. KCCA yategeezezza nti baaligabako liizi ya myaka 99 kyokka tebaayogedde gwe baaliwa.

• Jennifer yagambye nti ekitundu ku Nakasero Primary School kyaweebwa Prestigius Apartments.

• Ekitundu ku Buganda Road Primary School kyaweebwa Jima Properties Ltd.

• July 2014 byafuluma mu mawulire nga kigambibwa nti ekisaawe kya Bat Valley Primary kyali kitundiddwa. Baabyegaana era weekiri

• Ettaka lya Kyaggwe road Primary lyaguzibwa mukwano n’azimbawo ekizimbe ky’amaduuka.

NSIBAMBI MU KAKIIKO: Yategeezezza nti okusoomoozebwa okunene okuliwo, amateeka mwe bakolera gateekawo embeera ey’okukubagana n’akakiiko k’ebyettaka aka ULC.

Yanokoddeyo ettaka lya Lufula eriri ku Port Bell road nti olukiiko lw’akulembera lwawa KCCA liizi ya myaka 99 kyokka gavumenti bwe yaddiza Buganda ebyapa ne balikaayanira nti lyabaddizibwa.

Yasabye akakiiko kasembe etteeka ly’ettaka likolebwemu ennongoosereza lirambike wa ULC weerina okukoma era linnyonnyole obuvunaanyizibwa n’emirimu gya BLB.

Yasabye ennyingo eya 273 ekolebwemu ennongoosereza, gavumenti esobole okuddamu okufuna amaanyi gaayo ku ttaka.

Okugamba nti ettaka liri mu mikono gy’abantu kirina amakulu mangi okusinziira ku ntaputa ez’enjawulo ekiggyako gavumenti obuyinza n’amaanyi g’erina ku ttaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Exp1 220x290

Hasan Mubiru asindidde omugagga...

Hasan Mubiru asindidde omugagga Bryn White ebizibu ebyamuggya ku mupiira

Don2 220x290

Omugagga Don Bahat asuubizza okulaga...

Omugagga Don Bahat asuubizza okulaga bannayuganda kye bayita ssente mu December

Pub1 220x290

Amyuka ssentebe w'e lwengo naye...

Amyuka ssentebe w'e lwengo naye akubye abantu kibooko

Byandala2 220x290

Byandala bamulagidde yeewozeeko...

EYALI minisita w’enguudo Abraham Byandala kkooti y'abalyake n'abakenuzi e Kololo emulagidde yeewozeeko ku byokufiriza...

Hab1 220x290

Omuliro gusanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusanyizzaawo ebintu ku kizinga e Koome