TOP

Olutalo lwa Jennifer Musisi ne Beti Kamya balututte wa Pulezidenti

By Kizito Musoke

Added 30th July 2017

OBUTAKKAANYA wakati wa minisita wa Kampala, Beti Kamya ne dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi babutuusizza ewa Pulezidenti Museveni asobole okubugonjoola.

United703422 703x422

Musisi ne Kamya bwe batalima kambugu

Kino kiddiridde Kamya okuwandiikira Musisi ebbaluwa ng’amulagira okwongeza emisaala gya bameeya, abamyuka bameeya ne bakansala bonna mu kibuga.

Mu bbaluwa Musisi gye yawandiikira Kamya nga July 13, 2017 yamutegeeza nti ssente z’okwongeza emisaala gya bannabyabufuzi tezaaliwo.

Yamulaga nti ekitongole kyalina obuzibu kuba ne ssente ze baali bakung’anya zaali zisalise bwatyo ne yeesanga nga tajja kusobola kussa kiragiro kino mu nkola.

Minisita Kamya teyamatidde na nsonga za Musisi ze yamuwadde era yamuwandiikidde ebbaluwa endala nga July 24, 2017 n’amujjukiza nga bwe kimukakatako okussa mu nkola eky’okwongeza emisaala nga bwe yamulagira.

Yagambye nti okujeemera ekiragiro kye kyabadde kimenya mateeka kuba ennyingo ey’e 77 ey’etteeka erifuga ekibuga erya Kampala Capital City Act 2010, ewa minisita wa Kampala obuyinza okusalawo omusaala bannabyabufuzi gwe balina okufuna.

Yategeezezza nti yeebuuza ku minisita w’ebyensimbi awamu n’owa Gavumenti ez’ebitundu ne bakiraba nga tekirina mutawaana okwongeza omusaala gw’abakulembeze abalonde.

Kino etteeka kye limulagira okukola. Kamya yagambye nti mu tteeka erifuga Kampala temuliimu kawaayiro kagamba nti Dayirekita anaasalangawo ku musaala bakansala gwe balina okufuna.

Ennyingo 79 (2), (3) ne (4) liragira dayirekita wa KCCA okussa mu nkola ebiragiro byonna ebiba biweereddwa Pulezidenti.

Ensonga Musisi ze yawadde, tezaamatizza minisita kuba okwongera omusaala gw’abakulembeze kyabadde kijja kubazzaamu amaanyi agakunga abantu okusasula emisolo.

Eky’ebbula lya ssente, Kamya yakiyise kyekwaso kuba mu 2011 emisolo egyali gikung’anyizibwa mu Kampala bwe gyali emitono , Musisi yennyini yaleeta ekirowoozo ng’ayagala Loodi meeya asasulwe gwa bukadde 36 omwezi, amyuka Loodi Meeya obukadde 29, bakansala ba KCCA bafune obukadde 12 ate bakansala ba divizoni bafune obukadde 9.

Omusaala ogwo tegwayisibwa, kyokka ate kyewunyisa okugamba nti tewali ssente mu kiseera kino ng’emisolo egikung’anyizibwa gyeyongedde.

Yalaze ebintu ebisobola okuggyibwamu omusolo nga galagi, boda boda, emmotoka ezitikka ebintu, kyokka nga byonna tebifi iriddwako.

Ssente obuwumbi obubiri ezaayisibwa mu bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi 2017/18 ez’okusasula abakulembeze abalonde mu Kampala zimala bulungi okusasula ssente eziba zongeddwaamu.

Musisi bwe yalabye taabisobole ensonga yazitutte ewa Pulezidenti n’amunnyonnyola ku katuubagiro k’alimu ne minisita amutwala Beti Kamya.

Ebbaluwa ya Musisi eriko ennaku z’omwezi nga July 26, 2017 yasabye bamwongereyo obuwumbi obulala busatu okusobola okusasula emisaala egimugambibwa okwongeza. Keith Muhakanizi, akulira eggwanika lya Gavumenti yayanukudde Musisi n’amutegeeza nti ssente obuwumbi obusatu n’obukadde 600 ze yabadde asaba ziba zongezza ebitundu 30 ku buli 100 era yazigaanye.

Yategeezezza nti Pulezidenti yawadde ekiragiro ky’obutayongeza musaala gwonna mu kitongole kya Gavumenti, okutuusa nga bamaze okwekenneenya emisaala gy’abakozi bonna mu ggwanga.

Obutakkaanya bwa Musisi ne Kamya buzze bweyoleka buli olukya.

Akakuubagano akaaliwo wakati wa Loodi meeya Erias Lukwago ne Musisi, kalinga akaggwawo era mu kiseera kino olutalo luli wakati wa Lukwago ne Beti Kamya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Basindise abakessi okwongera okuyigga musajja wa Gen. Kayihura eyabulira mu Algeria.Balooya ba Kitatta basobeddwa,...

Upa 220x290

‘Asooka okumalawo y’alya eya munne...’...

BASSENTEBE e Semuto-Nakaseke olwamaze okusabirwa ne badda mu kugabula abalonzi baabwe nabo abataalutumiddwa mwana...

Uni 220x290

Yiiii.... Maama gano mazina ki?...

OMUZIKI ogwabadde gusindogoma gwanyumidde abavubuka b’e Lukaya.

Beb1 220x290

Bebe Cool asoomoozezza bayimbi...

Bebe Cool asoomoozezza bayimbi banne; Ategese Concert ey'okuyamba abalwadde b'emitima

Sha 220x290

Sharitah avuddeyo gy’abadde yeekukumye...

SHARITAH Mazzi Mawanvu avuddeyo gy’abadde asirikidde n’agendako mu jjiimu n’okuwuga ndowooza akkakkanye ku situleesi...