TOP

Omusuubuzi w'e Busega atemuddwa mu bukambwe emisana ttuku!

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd August 2017

OMUSUUBUZI w’e Busega mu Kampala atemuddwa mu bukambwe emisana ttuku omulambo gwe ne gusuulibwa mu kisiko e Kireka - Bbira ku lw’e Mityana.

Temu1 703x422

Omugenzi Nsubuga

Ronald Nsubuga 34, y’atemuddwa abantu abatanategerekeka kyokka ne nnyina Sarah Ggaliwango Namusoke ne baganda b’omugenzi nabo basula ku tebuukye olw’abazigu be bamu ababakubira essimu nga babatiisa okubatuusaako obulabe.

Nsubuga abadde musuubuzi w’amagi ng’agatunda mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo okuli Ggaba, Mmengo, Nakuwadde, Kasubi, Busega , Makindye n’awalala.

Abadde alina diguli mu by’obusuubuzi (procurement) okuva mu yunivasite e Kyambogo era abadde ategeka okuddayo okufuna diguli eyookubiri (masters).

Kigambibwa nti waliwo abantu abaamukubidde essimu nga bamutegeeza nga bwe beetaaga amagi ku makya kyokka zaagenze okuwera ssaawa ttaano ng’attiddwa.

Maama w’omugenzi Sarah Ggaliwango Namusoke yategeezezza nti mutabani we yabadde anywa caayi ku Lwokuna ku ssaawa 2:30 ne bamukubira essimu nga bamugamba alinnye bodaboda abasange anone amagi.

“Caayi teyamumazeemu n’alinnya bodaboda kyokka kyatwewuunyisizza ku ssaawa 5:00 (ttaano) ez’oku makya abantu okutukubira essimu (nga beeyambisa essimu y’omugenzi ) ne bategeeza nti nannyini ssimu eno afudde,’’ Namusoke bwe yagambye ng’amaziga gamuyitamu.

Abatuuze abataayogedde mannya baagambye nti wabaddewo enkaayana z’ettaka mu famire era kiteeberezebwa nti ziyinza okuba nga ze zivuddeko obutemu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...