TOP

KCCA eteesezza ne famire y’omutembeeyi eyafiiridde mu mwala

By Musasi wa Bukedde

Added 7th August 2017

KCCA bagitaddeko akazito n’eteesa ne famire y’omukyala omutembeeyi, Olivia Basemera eyafiiridde mu mwala.

Peterkauju703422 703x422

Omwogezi wa KCCA, Peter Kauju

Ekoze ku by’okuziika n’ebawa n’obukadde butaano. Abaserikale baayo bana abaabadde mu kikwekweto ekyo nabo bayitiddwa ku poliisi ya Jinja Road babitebye n’eyabakulidde Godwin Katugume ne bamulagira annyonyole ku byabaddewo.

Loodi Meeya Erias Lukwago yagambya nti tasobola kukolera mu kitongole kitamanyi nkwata ya Bannakampala era ayagala abaserikale bonna bazzibweyo batendekebwe n’abeenyigira mu kutulugunya abantu babonerezebwe.

“Lwaki omuntu agoba omutembeeyi n’amuyingiza mu mwala n’alaba ng’amazzi gamutwala n’agaana okumuyamba. Emitima egy’ensolo n’obutemu tetusobola kugikkiriza mu Kampala. Njagala lipooti ekwata ku nkola y’abaserikale baffe aba KCCA kuba okwemulugunya okuva mu Bannakampala kususse,” Lukwago bwe yagambye.

Kino kiddiridde omukyala Olivia Basemera abadde alejjesa obutambaala ku nguudo ez’enjawulo naddala ku Jinja Road okugobwa abaserikale ba KCCA abakwasisa amateeka n’ayingira omwala ogwabaddemu ettosi n’afiiramu.

Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju yagambye nti ensonga zonna baazikwasizza poliisi era ebinaavaayo bye bagenda okukolerako.

“Abamu bagamba nti, omukyala yalengedde mmotoka y’abaserikale baffe n’adduka mu mwala ate abalala nti abaserikale baamugobye ne bamuyingiza mu mwala,” Kaujju bwe yagambye.

Ssentebe w’abatembeeyi, Joseph Kagolo yategeezezza nti okubonaabona kwe balimu kuvudde ku KCCA kugaana kubayamba. Baasabye Loodimeeya Lukwago, abayambe babawe enguudo okutandika n’essaawa 11:00 ez’olweggulo buli lunaku.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Allegri2 220x290

Allegri ayagala kukola na Evra...

Allegri ayagala bamuwe ogw'okutendeka ManU era agamba ni waakukola ne Evra.

Rape2 220x290

Ebibonerezo 12 ebiteereddwa ku...

WALIWO ebibonerezo ebikakali ebiteekeddwa mu bbago ly’etteeka ly'akaboozi nga ssinga omuntu omusango gumusinga...

Tteeka1 220x290

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa...

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Genda 220x290

Sheikh Muzaata: Kuva dda nga musajja...

SHEIKH NUHU MUZAATA Batte yazaalibwa mu myaka gya 1950 e Bwayise mu Lufula Zooni okumpi ne Kimombasa mu maka g'omugenzi...

Tteeka2 220x290

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi...

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola...