TOP

Minisita Kamya alagidde ku baserikale ba KCCA

By Moses Kigongo

Added 15th August 2017

GAVUMENTI ewadde abaserikale ba KCCA ebiragiro ebikakali ku batembeeyi abakolera mu Kampala.

Enforcement3 703x422

Abamu ku baserikale ba KCCA bali mu lukiiko. Mu katono ye Minisita wa Kampala, Beti Kamya

Ebiragiro bino byabaweereddwa minisita wa Kampala, Betti Kamya mu lukiiko mwe baamuttottoledde okusoomoozebwa kwe bayitamu ensangi zino nga bakwasisa abasuubuzi amateeka mu kibuga.

Muno mwabaddemu ekifaananyi ekibi ekibasiigiddwa abamu ku batembeeyi ne bannabyabufuzi ekivuddeko abantu mu kibuga okubatwala ng’abalabe n’okubasosola.

Baagambye nti, wadde embeera babadde bagezezzaako okugigumira, kyokka yeeyongedde okukaluba oluvannyuma lw’okufa kw’omutembeeyi Olivia Basemera gwe bateebereza okuba nti be baavaako okufa kwe.

Era nti bangi ku bannaabwe bafunidde obuzibu ku mirimu gyabwe omuli okutuusibwako ebisago n’okutulugunyizibwa abasuubuzi n’abatembeeyi ab’enjawulo abeeyambisizza embeera y’obukyayi ne bamenya amateeka awatali abakuba ku mukono.

Mu birala bye baamuloopedde mwabaddemu eky’abasuubuzi abalemera mu bifo ebitakkirizibwa n’abo abeesenza mu nguudo z’omu kibuga wakati nga beekwasa abanene okuva mu ofiisi za Gavumenti ababateekawo okuzikoleramu.

Minisita Kamya mu kubaanukula yabagumizza n’abagamba yabakwasizza poliisi ekulembeddwa Frank Mwesigwa ebayambe okutuukiriza emirimu gyabwe mu kibuga.

Ku nsonga y’abatembeeyi ababatuusaako obulabe n’okulemera mu bifo we batateekeddwa kukolera, yasabye abantu okukomya omuze guno kuba anaakwatibwa waakukangavvulwa mu mbuga z’amateeka.

Yamalirizza awadde abaserikale bano obuyinza obujjuvu okutandika okukola n’okukwasisa abatembeeyi n’abantu abalala abakolera mu kibuga amateeka awatali abakuba ku mukono.

Yabawadde n’amagezi okuwandiika lipooti ku muntu anaagezaako okubayingirira mu nkola y’emirimu gyabwe nga yeerimbise mu kifaananyi ky’okubeera mu ofiisi za gavumenti ennene.

Olukiiko lwatudde mu kibangirizi kya ofiisi za pulezidenti okuliraana Palamenti eggulo nga lwetabiddwaamu badayirekita ba KCCA abakulembeddwa Charles Ouma, amyuka dayirekita w’ebyamateeka ne Sam Sserunkuuma amyuka dayirekita Jennifer Musisi ssaako omubaka wa Pulezidenti mu Kampala, Deborah Mbabazi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....