TOP

KCCA efuumudde abatembeeyi ku nguudo

By Musasi wa Bukedde

Added 16th August 2017

KCCA etadde ekifuba ku babadde balejjesa ebyamaguzi ku nguudo n’okubitambuza mu kibuga wakati bonna n’ebagobako.

Paba 703x422

Kampala bw’afaanana oluvannyuma lw’okugoba abatembeeyi ku nguudo.

Abamu badduse ne beekukuma wansi mu mwala gwa Nakivubo, abalala balinnye waggulu ku bizimbe ate abakolera mu ppaaka beekukumye mu takisi gye basinzidde ne bategeeza nti bakyatunuulira mbeera balyoke basalewo ekiddako.

Embeera ebadde ya bukkakkamu era tewali akoze kavuyo konna wadde okulwana.

Ebimu ku bifo aba KCCA bye babadde batya ennyo naddala ku mwala gwa Nakivubo, Namirembe Road, Blue Room, Mini Price, ku biwologoma ne ku Jinja Road tewabadde wadde eyeesimba mu maaso g’omuserikale yenna!

Abaserikale ba KCCA baakulembeddwa poliisi nga buli mmotoka ya KCCA ebaddeko abaserikale ba poliisi abasoba mu bataano abeekapise ebisawo omubeera obukebe bwa ttiyaggaasi n’emmundu.

Baasindikiddwa ku nguudo nga balinga abagenda mu lutalo kyokka tewabadde kuwalira.

Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju yategeezezza nti baasindise abaserikale baabwe nga bali mu bibinja eby’enjawulo.

Abamu baabasindise kusomesa abakolera mu maduuka baggye ebintu byabwe mu nguudo.

Abalala baabasindise okulagira ababadde batundira mu nguudo okuzivaako era ekikwekweto tekibadde kya kukwata bantu wabula okusindika akabonero nti buli abadde akolera mu kifo ekimenya amateeka akiveemu era bavuddewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.