TOP

Ebifo awali emmere ku bbeeyi ensaamusaamu babigobye mu Kampala

By Musasi wa Bukedde

Added 13th September 2017

Suzan Nantumbwe yagambye nti abantu abakkolera mu Kampala abamu bava awaka nga basibye emmere mu fulasika gye balya ekyemisana okukendeeza ku ssente ze basasaanya

Tonninyira1 703x422

Abamu ku bafumbira mu katale ka Owino.

Bya HANNINGTON NKALUBO  NE MAHAD WAMALA 

KAMPALA eyongedde okukaluba  ku bifo w’oyinza okugula  emmere enfumbe ku bbeeyi  ensaamusaamu KCCA bw’etadde  ekifuba ku kufuuza n’okusaanyaawo  ebifo omubadde muliirwa  emmere bweti mu budde  bw’ekyemisana.

  Wiiki ewedde ekibangirizi  ekibadde kisigaddewo ku paaka  enkadde abaserikale ba KCCA abakwasisa  amateeka baakigobyemu  ababadde bakolerawo. 

Ekifo kino ekibadde emabega  wa YAMAHA CENTRE ku ludda  lwa Paaka Enkadde kibadde kiyimirizaawo  abattakisi, abasuubuzi  mu akeedi, abajja mu Kampala,  abavubuka abatembeeya ebyamaguzi  mu paaka enkadde ne  ku nguudo. 

Mu kifo kino omuntu abadde  agendayo n’alya ekikomando  (chapati n’ebijanjaalo) ku 1,000/-,  akatogo ka muwogo n’ebijaanjalo  bibadde bya 1,500/-, ennyama  n’emmere yonna nga bya 3,000/-,  chipusi ku 2,500/- ng’abattakisi  babadde bagibatwalira mu mmotoka  zaabwe. 

 kifo awasonze akasaale ku aaka ya takisi enkadde we baagobye abafumba Ekifo (awasonze akasaale) ku Paaka ya takisi enkadde we baagobye abafumba.

 

EBIFO EBYAGGYIBWAWO 

  • Kino kyegasse ku bifo okuli:
  • Awayitibwa mu Kayembe ku  luguudo lwa William 
  • Olukuubo awassibwa poliisi  y’oku luguudo lwa Wilson. 
  • Olukuubo olusangibwa okumpi  ne Capital Shoppers e Nakasero.  Olukuubo okumpi ne Cooper  Complex ku Ben Kiwanuka. 
  • Olukuubo olugatta ekizimbe kya  Grand Corner ku Ben Kiwanuka  awaali Shell. 

Wasigaddewo akabangirizi ku  Arua Park kyokka ng’ekinene  kyavaawo. Ekifo emabega w’omuzikiti  gwa Nakasero.

Ebifo ebirala  bisigadde mu Kisenyi.  Aba takisi bategeezezza nti  KCCA kituufu ky’ekola naye  teyambye bantu babadde bakolera  mu bifo bino.

“Amaduuka gali ku  buseere.

Ebifo ebisangibwa mu  butale byajjula dda ate abantu  tuteekwa okulya. Osobola otya  okuvuga mmotoka nga tolidde  olwa ssente z’emmere ennyingi “  ddereeva Mohamood Luzige bwe  yagambye. 

Abakulembeze b’abasuubuzi mu  kibiina kya Kampala Arcade’s Advocate  Forum (KAAFO) bagambye  nti tebawakanya nkulaakulana  KCCA gy’eyagala okuleeta mu  kibuga, nti naye okujja n’ogoba  abantu nga tolina w’obategekedde  kiraga nti okotoggera Bannayuganda  bangi omuli bannamwandu. 

Ebifo ebyo bye baagala okuggyawo  biyamba bamufunampola  era abantu bangi mu kibuga tebasobola  kulya mmere ya 5,000/-  buli lunaku nga kumpi y’ebbeeyi  esookerwako mu bifo ebitongole  wa wooteeri n’ebirabo by’emmere  (restaurant).

Ssentebe wa KAAFO,  Ibrahim Mboowa yategeezezza  nti KCCA esaana eragire abantu  batereeze ebifo ebyo bisobole okutukagana  n’omutindo gwabasawo  by’ebyobulamu. 

 

W’OYINZA OKULIIRA EMMERE  KU BBEEYI ENSAAMUSAAMU 

Ebifo awaliirwa emmere ku  bbeeyi ensaamussaamu bisigadde  bibale nga mu katale ka Owino. 

Abalala balina kufulumako  mu Kampala wakati okugeza e  Nakawa, Kibuye, Katwe n’awalala  ng’eno gy’osanga emmere eri  wakati wa 1,500/- ne 7,000/-. 

Okuggyako ng’okolera mu bitundu  bino, naye bw’oba ova Kampala  ate olina okussaamu ssente  eziri wakati wa 1,500/- ne 2,000/-  okugendayo mu takisi n’okudda.

 Wabula abakyala abafumba  emmere mu katale ka St. Balikuddembe  bategeezezza nti KCCA  okugoba bannaabwe kyanyiga  bamufunampola kuba bwe baagoba  aba Park Yard tebaddamu  kukola bulungi ssente wadde bbo  bali bbali. 

Kati tunuulira akavuyo wano ke  tulimu mu St. Balikuddembe. Emidaala  gy’emmere gyonna gyajjula  kati abo bagenda kuddawa? 

Ekinnuma kwe kulaba nti KCCA  esooka n’ebalagira batereeze  ekifo ne bagula ebimeeza ssaako  okugenda ne babakebera embeera  y’obulamu mwe bali.

Bakozesa  ssente nnyingi kyokka tebayambibwa  era nsaba KCCA eddemu  ekyuse mu nkola” Chris Kasiita  bwe yagambye. 

Suzan Nantumbwe yagambye nti abantu abakkolera  mu Kampala abamu  bava awaka nga basibye  emmere mu fulasika  gye balya ekyemisana  okukendeeza ku ssente ze  basasaanya 

EMIWENDO GY’EMMERE 

Emmere mu wooteeri  eziri mu akeedi etandikira  ku 5,000/- okutuuka  ku 10,000/-ate nga  tekuli kyankya.

Mu bifo  ebisendeddwa ebadde  etandikira ku 1,500/- okutuuka  ku 4,000/-. 

Mu St. Balikuddembe  emmere etandikira ku  1,500/- akatogo okutuuka  mu 8,000/- ekyennyanja  ekimalayo essowaani. 

KCCA EWABUDDE 

Omwogezi wa KCCA,  Peter Kaujju yategeezezza  nti KCCA egenda  kweyongera okufuuza buli  akolera mu kifo ekitakkirizibwa  naddala abatunda  ebyokulya. 

“Okukkirizibwa okutunda  ebyokulya n’okunywa  oteeka okuba ng’otuukirizza  byonna KCCA bye  twagala. Ekifo kiteeekwa  okuba nga kikebeddwa,  omuntu ng’alina ebbaluwa  y’omusawo.

Ekifo tekirina  kubeera na bulabe eri  abantu abalala,’’ Kauju  bwe yagambye n’asuubiza  okusaanyawo n’ebikyasigaddewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Looya1 220x290

Lukyamuzi ne Bwanika basabye kkooti...

EYALI omubaka Ken Lukyamuzi atutte akakiiko k’ebyokulonda mu kkooti Enkulu ng’ayagala ekalagira kayise ekiragiro...

Kasimba 220x290

Abeddira akasimba basonda za kuzimba...

Yategeezezza nti ekika kirina enteekateeka y’okuzimba ekizimbe gaggadde ekituumiddwa 'Akasimba Plaza' okukolerwa...

Seb1 220x290

Hanson Baliruno akubye abawagizi...

Hanson Baliruno akubye abawagizi be omuziki ne yeebaza Katonda olw'ekirabo eky'obulamu

Cot1 220x290

Abalamuzi bayimirizza akeediimo...

ABALAMUZI bakyusizza obukodyo bw’okusaba Gavumenti ebongeze emisaala ne bayimirizza n’okwekalakaasa kwe babadde...

Fdc1 220x290

Salaamu Musumba alangidde ababaka...

OMUMYUKA wa Ssabawandiisi wa FDC Salaamu Musumba alangidde ababaka ba Palamenti ‘’obufere’’ n’ategeeza ng’ekibiina...