TOP

Bakansala ba KCCA abagenda e Kankwanzi basattizza Lukwago

By Musasi wa Bukedde

Added 5th November 2017

MINISITA wa Kampala Beti Olive Kamya awandiikidde dayirekita wa Kampala Jennipher Musisi ebbaluwa n’amusaba ategeke ensako bakansala gye bagenda okusasulwa nga bali mu lusirika lwe bagenda okumalamu wiiki nnamba e Kyankwanzi.

Lordmayoreriaslukwago 703x422

Loodi Meeya Erias Lukwago

Kamya yagambye nti ensako yokka yeebulako okuva ettendekero ly’e Kyankwanzi bwe lyamaze okukola ku byetaagisa ebirala.

Olusirika luno lutegekeddwa National Leadership Training Insititute e Kyankwanzi okutandika nga November 12 okutuuka nga November 19, 2019.

Ebbaluwa ya Kamya eyawandiikiddwa nga October 31, 2017 baagiwaddeko minisita omubeezi owa Kampala, Loodi Meeya, ne bameeya ba Munisipaali ettaano ezikola Kampala.

Bakansala abaayitiddwa kuliko abatuula ku lukiiko lwa KCCA olwa Loodi Meeya abawera 42 ne bakansala okuva ku Munisipaali.

Bakansala ba Central abaayitiddwa bali 29, ab’e Kawempe 38, Nakawa 39, Lubaga 43, Makindye 35, abakozi b’ekitongole 10, n’abantu 10 ab’okuyamba abaliko obulemu.

Olusirika lwonna lwakwetabwamu abantu 218 nga baakubangulwa mu by’obukulembeze. Loodi Meeya, Erias Lukwago ekikolwa kya minisita okutwala bakansala e Kyankwanzi yabuyise bumenyi bw’amateeka.

Yagambye nti Kamya alina kuyita mu ofiisi ya Loodi Meeya bw’aba yeetaaga bakansala n’amuwa olukusa.

Yasuubizza nga bw’agenda okutuuza olukiiko wiiki ejja ne bakansala boogere ku nsonga eno, nga kye banakkiriziganya nakyo kye bajja okugenderako. Kyokka n’agamba nti ye ng’omuntu tayinza kulinnyayo.

Okugenda e Kyankwanzi yaluyise lukwe olukoledddwa okutwala bakansala basobole okuyisa eky’okuwagira okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Ronald Nsubuga Balimwezo, Meeya w’e Nakawa yategeezezza nti abadde mu kifo kino okumala omwaka mulamba kyokka tafunanga amubangula wadde nga yali amwetaaga nga yaakayingira ofiisi.

N’agamba nti mu kiseera kino ekya ‘Togikwatako’ nga waliwo n’etteeka ly’ettaka, asuubira nti bandiba n’ekigendererwa ky’okuyisa ebintu ebirala.

Ekifo kyennyini awategekeddwa olusirika takkaanya nakyo kuba bulijjo alaba bambadde ngoye za NRM n’ebyambalo by’amagye nga be bagedayo.

Engeri gy’atali mujaasi ate nga waaludda luvuganya si waakugendayo. Umar Kajumba (FDC), kansala akiikirira Makindye West, Ward 1 yagambye nti luno lukwe olulukiddwa okutwala bakansala bamale bagambe nti baawagidde okukyusa Konsitityusoni. Yaweze nga bw’atayinza kulinnyayo.

Florence Nankya (DP) akiikirira omuluka gw’e Kasubi yasuubizza nga bw’ajja okugenda mu lusirika e Kyankwanzi asobole okugasimbagana ne Pulezidenti bamunnyonnnyole ebizibu ebinyiga Bannakampala omuli kasasiro n’ettaka ly’okusengulirako akatale k’e Kasubi.

Grace Ssozi Nambaale (NRM), kansala w’e Nakulabye yagambye nti, yeesunga olusirika kuba asuubira nga lujja kubayamba okubatabagana nga bannabyabufuzi b’omu Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wa 220x290

Muka Kayihura ayogedde ku by’okukwatibwa...

Muka Kayihura ayogedde ku by’okukwatibwa kwa bba

Panda1 220x290

Ochola atandise okubala Abapoliisi...

Ekitongole kya Poliisi ekikwatisa empisa ekya ‘Police Professional Standards Unit’ kitandise okubala n’okuwandiisa...

Dpcwembararajafarimagyezieyakwatiddwaabacmi 220x290

Amagye gakutte DPC w'e Mbarara...

Aduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Mbarara, ASP Jafari Magezi akwatiddwa ab’ekitongole ky’Amagye ekya CMI nga...

Kola 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUBIRI ALIMU BINO...

Mulimu omuserikale eyeesowoddeyo okulumiriza Kayihura ku bya Kaweesi. Muninkini wa Kaweesi gwe baakwata bamutaddeko...

Atuwadde 220x290

Eya basketball erwanira z'Afrika...

ABAZANNYI ba ttiimu y'eggwagga ey'abali wansi w’emyaka 18 mu muzannyo gwa basketball, bataka mu kibuga Dar- Es-...