TOP

' Nze natta mukama wange'

By Eria Luyimbazi

Added 5th November 2017

POLIISI e ekutte omuvubuka agambibwa okutta mukamaawe mu maka ge Najjanankumbi.

Tta 703x422

Owapoliisi ng’alaga Namureeba eyakwatiddwa.

Obed Namureeba ye yakwatiddwa poliisi y’e Katwe ku bigambibwa nti, ye yatta mukama we Sam Bakeebwa eyali omusuubuzi ku Luwuum Street bwe yali akola mu maka gano ng’omuyambi.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Oweyesigire yagambye nti Bakeebwa yattibwa nga September 2, 2017 ng’ettemu lino we lyabeererawo Namureeba yabula ekikakasa nti ye yamutta “Tuludde nga tunoonyereza ku ttemu eryakolebwa ku Bakeebwa era twakutte eyali omukozi we okuyamba mu kunoonyereza,” Oweyesigire bwe yategeezezza.

Yagambye nti Namureeba okukwatibwa abaserikale bamukukunudde Masaka nga yeekukumye ewa mugandawe.

Yategeezezza nti oluvannyuma lw’okukwatibwa Namureeba yakkirizza okutta Bakeebwa oluvannyuma lw’okupangisibwa nga yakozesa ekiso, omulambo n’aguyiwako kaamulali okutta ekivundu.

Yagambye nti Namureeba bamutaddeko eriiso ejjogi n’okumukugira okumala galya mmere kuba aliko abantu b’ayogera abaamupangisa okukola ettemu lino nga bayinza okumutuusaako obulabe n’abaserikale abakuuma akaduukulu baaweereddwa ebiragiro.

Yagasseeko nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso oluvannyuma lw’okuggulawo fayiro CRB 1438/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...