TOP

Poliisi ezudde emmotoka 36 ezabbibwa mu Kampala

By Eria Luyimbazi

Added 27th November 2017

POLIISI ya Flying Squad ekoze ekikwekweto mw'ezuulidde emmotoka 36 ezibadde zabbibbwa ku bannyinizo mu bitundu bya Kampala n'emirirwano.

Cars6 703x422

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima ng'alaga ezimu ku mmotoka ezaanunuddwa ku babbi

POLIISI ya Flying Squad ekoze ekikwekweto mw'ezuulidde emmotoka 36 ezibadde zabbibbwa ku bannyinizo mu bitundu bya Kampala n'emirirwano.

Kino kiddiriridde poliisi okufuna emisango egyekuusa ku bubbi bwa mmotoka mu Kampala n'emiraano, ekyagiwalirizza okusitukiramu n'ekola ekikekweeto okuzizuula.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima yagambye  nti okuva mu mwezi gwa August okutuuka mu November mmotoka 136 zabbiddwa mu kitundu kya Kampala n'emirirwano wabula abasirikale ba Flying squad ne basitukiramu okuzinoonya era baakazuulako 36.

"Waliwo okusomooza ku ku bubbi bwa mmotoka  obukudde ejjembe naddala mu Kampala n'emirirwano wabula abasirikale baffe tebatudde, bazinoonya era ezimu zizuuliddwa,"  Kayima bwe yagambye.

Yagambye nti oluvannyuma lw'okuzuula mmotoka zino poliisi ekyabuliddwako bannannyinizzo, bakyatubidde n'emmotoka 25  olw'okubulwako bannyinizo.

Yategezezza nti obukoddyo ababbi bwe bakozesa okubba mmotoka ensangi zino mulimu okulondoola ebifo mwezisimbiddwa nga ku mabaali g'enguudo, okuyingira mu bikomera ne bazibbayo, okuzipangisa oluvannyuma ne bazibuzaawo ne bazitunda e Congo, South Sudan ate endala ne bazitwala mu galagi gye bazitemamu sikulaapu oba sipeeya.

Yagambye nti ekiremesezza okuvunaana ababbi ba mmotoka mu kkooti kwekuba nti obujulizi bubuka olw'abantu be bazibbako obutayagala kugenda mu kkooti okubawaako obujulizi obubaluma, ekibawa ekyanya ne bateebwa ate ne bakomawo ne batandikira we baakoma.

Kayima yasabye  ababiddwaako mmotoka okwanguwa okuloopa ku poliisi nga balina ebiwandiiko ebizikwatako kiyambe mu kusasaanya amawulire mu bwangu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fub1 220x290

Akulira abadiventi mu nsi yonna...

Akulira abadiventi mu nsi yonna asiimye omulimu ogukolebwa ekkanisa

Mag2 220x290

Madagasacr eyingiddewo okuttunka...

Madagasacr eyingiddewo okuttunka ne KCC

Deb1 220x290

Obuvune busubizza Sadam Jjuma ogwa...

Obuvune busubizza Sadam Jjuma ogwa Madagascar

Hob1 220x290

Villa ento efuuse kimpe nkyekubire...

Villa ento efuuse kimpe nkyekubire

Mbugaprison1 220x290

Mbuga aggaliddwa mu kkomera ekkambwe...

EKKOMERA omugagga SK Mbuga gy’aggaliddwa mu Dubai, liri mu ddungu. Wadde liriko ekitundu esibirwa abaloodi, kyokka...