TOP

KCCA eyodde abatundira ku nguudo

By Herbert Musoke

Added 1st December 2017

ABASERIKALE ba KCCA abakwasisa amateeka bakedde kukola bikwekweeto omuyoola abasuubuzi abatundira ku nguudo mu kaweefube w’okukendeeza omujjuzo n’okulwanyisa obubbi bw’okusala ensawo n’okunnyakula abantu mu kibuga.

Kwata7 703x422

Omu ku babadde batundira ku nguudo ng'ayoolebwa abaserikale ba KCCA

ABASERIKALE ba KCCA abakwasisa amateeka bakedde kukola bikwekweeto omuyoola abasuubuzi abatundira ku nguudo mu kaweefube w’okukendeeza omujjuzo n’okulwanyisa obubbi bw’okusala ensawo n’okunnyakula abantu mu kibuga.

Abaserikale ababadde ku kabangali bayise ku nguudo za Kampala ez’enjawulo okuli Channel Street, William Street,  Ben Kiwanuka, Min price n’ebifo ebirala mwe bakwatidde abasuubuzi naddala abakazi abatunda ebibala ng’emicungwa, emiyembe, ebivaavava, eby’okulya ebitono nga sswiiti n’ebirala era nga bano batwaliddwa ku kkooti ya KCCA okuvunaanibwa okutundira awatakkirizibwa.

Omwogezi wa KCCA Peter Kauju, agamba nti baayongedde amaanyi mu bikwekweto okukwata abantu abakolera awatakkirizibwa naddala mu biseera bino ebya Ssekukkulu olw’omujjuzo n’akavuyo ekeeyongedde mu kibuga Kampala.

Ono agamba nti mu kiseera kino ng’abantu beeyiwa mu kibuga okuva mu buli nsonga  okwegulira ebya Ssekukkulu, abasuubuzi abatembeeyi ne batundira ku nguudo kyongera akavuyo n’okuwa omukisa abasazi b’ensawo okubba abantu bennyini ate abazze okugula ebintu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...