TOP

Bakansala ba KCCA bagobye lipoota ekwata ku nnyama

By Hannington Nkalubo

Added 16th January 2018

OLUKIIKO lwa KCCA lugobesezza akulira ebyobulamu mu kibuga lipooti ekwata ku nnyama etundibwa ng’erimu eddagala ne bamulagira akole empya kuba gy’abawadde teyamba kutereeza mbeera eriwo.

Kwago703422 703x422

Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago

Dr. Daniel Okello yayanjulidde olukiiko olwatudde ku City Hall eggulo nga lukubirizibwa Loodi Meeya Erias Lukwago lipooti ebannyonnyole embeera eriwo ku nnyama etundibwa n’ebikwekweto ebikolebwa.

Lipooti yabadde eraga abasawo kye bakoze mu mwaka mulamba okukuuma omutindo gw’ennyama omuli n’ebifo mwenda byokka ebikkirizibwa okusaliramu ebisolo.

“Buca ezikirizibwa okutundirwaamu ennyama ziri 317 kyokka enyama gye twasanga nga mbi eweza KG 157 twagyookya” lipooti bwe yabadde egamba.

Lipoota yalaze nti KCCA erina abasawo abalambula ebifo mu kibuga 42 bokka era nga mu bifo ebimu omusawo omu tamala kukebera nnyamba mu buca zonna kye baagambye nti kivaako omutindo gw’ennyama okutankanibwa.

Lipooti eyabadde ey’emiko esatu yabadde ewa emiwendo gy’ebisolo omuli ente, embuzi, embizzi n’endiga ebisaliddwa mu mwaka.

Wabula bakansala tebaamatidde na lipooti eno ne bategeeza nti kyewuunyisa okulaba ng’ennyama ekwata ku bantu mu Kampala okuba nga bagikolako ka lipooti ka miko esatu gyokka.

“Lipooti teriko wadde omukono gw’omuntu agikoze ate teraga makubo gateekwa kuyitibwaamu okuyamba abatunzi b’ennyama. Twandibadde tutegeera bifo ebyaggalwa by’ennyini, bannyini byo ate n’abasuubuzi bayambiddwa batya abatalina kizibu ku nnyama yaabwe gye batunda,” kansala Kenedy Okello bwe yabuuzizza.

Wabula akola nga dayirekita wa Kampala Sam Sserunkuma yabannyonnyodde nti lipooti gyebaabawadde egezaako kwanukula olukiiko ebintu bye baabasaba ku Lwokusatu oluwedde era byonna babibawadde kyokka kyewuunyisa ate okuyingizaamu ebintu ebirala.

Kyokka Loodi Meeya Erias Lukwago yaluhhaamizza nti bakansala batuufu kuba bwe kiba nti etteeka liragira omutemi w’ennyama okukozesa amakubo ag’enjawulo okugoba ensowera naye nga tebakozesezza ddagala, lipooti tesobodde kuyamba basuubuzi kubaruhhamya ku makubo gateereddwaawo okugoba ensowera ku nnyama.

Dr. Okello yagambye nti tewali ddaggala lyonna oba ekintu ekyefaananyiriza eddagala kikkirizibwa kukozesebwa ku nnyama. Yagambye nti tewali makubo malala gonna galagibwa okugyako ebifo okuba ebiyonjo nga tebisobola kubaamu nsowera.

EBIRALA EBYAYOGEDDWAAKO

Lukwago yatidde okuwulira nti ekitongole ky’akulembera (KCCA) kikwata kifo kisooka mu kulya enguzi mu bitongole bya Gavumenti n’asaba bamunnyonnyole baani abalya enguzi okulemesa emirimu gya Bannakampala.

EBYENJIGIRIZA

Akulira ebyenjigiriza mu Kampala yategeezezza olukiiko nti amasomero mu Kampala gaakoze bulungi okusinga omwaka oguwedde ng’ebitundu 32 ku buli 100 ku baana baayitidde mu ddaala erisooka.

Wabula Lukwago yeewuunyizza okulaba nti mu masomero ga Gavumenti agaali gamanyiddwa mu kuyisa obulungi abayizi tegakoze bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...