TOP

Ebbaluwa ya Beti Kamya etabudde bakansala

By Musasi wa Bukedde

Added 27th January 2018

MINISITA wa Kampala Beti Olive Namisango Kamya yasinzidde mu tteeka lya Kampala Capital City Authority 2010 n'abaga ekiwandiiko ekiwera okwongezaayo ebiteeso ebiba bireeteddwa mu ntuula Loodi Meeya z'aba akubirizza.

Sante 703x422

Bakansala nga batabukidde mu lukiiko.

Minisita okuwandiika yabadde ayanukula ebbaluwa eyamuweereddwa olukiiko lwa Loodi Meeya ng’emusaba okujja atangaaze ku biteeso ebyasigala nga tebiwedde ebikwata ku ntambuza ya bodaboda ne takisi mu Kampala.

Ebbaluwa eyawandiikibwa nga January 3, 2018, baabadde baagala minisita atangaaze ku mivuyo gya Bodaboda 2010 n'eggya takisi egigenda mu maaso mu Kampala.

Beti Kamya yabaanukudde n'abategeeza nti okusinziira ku tteeka lya KCA Act 2010, olukiiko lwa Loodi Meeya terulina buyinza bwongezzaayo nkiiko. Era ebiteeso byonna ebireetebwa ku lupapula birina okuteesezebwako ne biggwa.

Minisita yannyonnyodde nti, ebiteeso ebiba byongezeddwaayo mu lukiiko, birina kutegekerwa ntuula ez'enjawulo oba mu nkiiko ezaabulijjo ezitali mu tteeka lya KCCA 2010.

Minisita Kamya mu bbaluwa ye, alambulula nti, olukiiko lwonna olutegekebwa luluhhaamizibwa etteeka lya KCCA enyingo esooka akawaayiro akasooka n’akookubiri. Kamya yategeezezza nti olukiiko lwe baabadde bamuyiseemu terulina kubeerayo okusinziira ku tteeka lya KCCA era lulina okusazibwamu.

Kino kyatabudde bakansala abaabadde mu kkanso ng'ekubirizibwa Loodi Meeya Lukwago ne bagamba nti ekyo ekiwandiiko kya minisita kigendereddwa kuvoola kkanso yaabwe.

Dr. Charles Ouma, akulira ekitongole eky’amateeka mu KCCA yagambye nti minisita bw'aba alagidde nti olukiiko teruli mu mateeka lulina okusazibwamu ekintu bakansala kye baawakanyizza ne bagamba nti tekisoboka.

Ouma yakulembeddemu abakozi banne okuva mu KCCA ne bafuluma mu lukiiko ekyaggye bakansala mu mbeera ne baggala omulyango nga bakulembeddwaamu Faridah Nanyumba owa Lubaga, Happy Nasaasira ne Keneddy Okello ab'e Nakawa.

Kino kyaleeseewo akanyoolagano akaamanyi nga bakansala balwanagana n’abakozi ba KCCA abaabadde bayambibwako poliisi okufuluma olukiiko.

Oluvannyuma abakozi ba KCC bapondoose ne basigala mu kkanso wabula ne bagaana okuddamu okukola omulimu gwonna ku byabadde bigenda mu maaso mu kkanso. Lukwago yawaliriziddwa okusazaamu olutuula oluvannyuma lw’obawandiisi ba kkanso okusa wansi ebikola ne bataddamu kuwandiika kintu kyonna. Bakansala bagambye nti Kamya bino byonna abikola kubeesasuza olw'okugaana okumwegattako bwe yabayita okubatwala ewa Pulezidenti nga n’abatono abakkiriza ate bwe baatuukayo baayomberayo. Baamugambye nti alina okukimanya nti abantu abatuula mu lukiiko balondebwa Bannakampala nga be baba bateeseza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St1buk250518 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulimu ebipya ku batta abawala omuli obujulizi obubalumiriza kyokka nga butiisa.

Save 220x290

Museveni ayogedde ku bawamba abawala...

Pulezidenti agambye nti abatemu abawamba abawala ne babatta babafunzizza era gwe basembyeyo okukwata yabadde n’emirambo...

Whatsappimage20180524at20027pm 220x290

Abadde alimbalimba omuyizi wa S.4...

Emirimu gisannyaladde okumala akaseera mu ppaaka enkadde mu kibuga Kampala abagoba ba takisi abakolera ku siteegi...

Isabeti4 220x290

Yeemulugunyizza ku mutindo gwa...

OMUTEDENSI wa KIU Henry Kyobe akukkulumidde akakiiko akaddukanya omuzannyo gwa Beach Soccer olw’enzirukanya etamatiza...

Kasangati 220x290

Bawambye omuwala omulala e Kasangati...

ABAWAMBA abantu beesomye luno, bawambye omukazi omulala e Kasangati ne basaba obukadde 10, kyokka olubaweerezzaako...