TOP

‘Emyala egiyita mu katale e Wankulukuku gitusibyeko endwadde’

By Vivien Nakitende

Added 6th February 2018

ABASUUBUZI mu katale k’e Wankulukuku balaajanidde KCCA n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo, okubayamba ku kizibu ky’emyala egiyita mu katale kano kuba micaafu egileetedde abamu okulwalanga!

Myala1 703x422

Omwala omucaafu oguyita mu katale wakati abasuubuzi bagwemulugunyako.

Bya VIVIEN NAKITENDE 

ABASUUBUZI mu katale k’e  Wankulukuku balaajanidde KCCA  n’abakulembeze ku mitendera  egy’enjawulo, okubayamba ku  kizibu ky’emyala egiyita mu katale  kano kuba micaafu egileetedde  abamu okulwalanga! 

Baabadde mu lukiiko mwe  baasisinkanidde bakansala ababakiikirira  ku lukiiko lwa KCCA ne  bategeeza nti, akatale kano kalimu  emyala esatu egikayitamu eminene  ekikaleetedde okubeera akacaafu  ennyo.

  “Mu budde bw’enkuba abantu  abasula mu Kabowa bata kaabuyonjo  zaabwe olwo kazambi  n’aggweera mu katale,” omusuubuzi  omu bwe yalaajanye.  Ruth Nakayaga omusuubuzi  mu katale kano agamba; “Wadde  tufuba okukuuma obuyonjo,  naye emyala gitufuula abacaafu. 

Abamu tulina abaana kati enkuba  bw’etonnya babeera mu bulabe  kubanga buli we bazannyira wabaawo  kazambi.

Ensowera zijjula  mu katale ate ne zibuukira ku byamaguzi  mu midaala gyaffe, ekigoba bakasitooma mu katale. 

 ansala akabugo ngaliko byannyonnyola mu katale e ankulukuku Kansala Nakabugo ng’aliko by’annyonnyola mu katale e Wankulukuku.

 

Tusabaa KCCA etuyambe  ku kizibu ky’emyala mu  naye tuli bubi.”  Emmanuel Mwiru  ssentebe w’akatale kano,  ye yagugumbudde  abamu ku basuubuzi  b’agambye nti nabo  bakoze kinene okusiba  embeera embi mu  katale.

Yagambye nti  abamu bagezaako  okulwanyisa obukulembeze  bwe nga baagala  okulemeza kasasiro  mu katale, balage nti  ssentebe alemeddwa  era takola. 

“Abasuubuzi abamu  tebaagala kusasula  ssente za kasasiro,  abamu ne bwe ndeeta  ebimotoka ebimuyoola  bamukweka mu  midaala gyabwe ne  bamala ne bamumansa  mu katale, balowoozese  abantu n’abakulembeze  nti, nze sikola.” 

Faridah Nakabugo kansala  omukazi akiikirira  Lubaga South, Ismail Ddamba  Kisuze akiikiriria  Lubaga III, Haji Rashid  Kibirige owa Lubaga II  ne Umar Kafeero owa  Makindye II. 

Nakabugo yasabye  abasuubuzi okwekolamu  omulimu kubanga ensonga  ya kasasiro KCCA  tekyamusomba olwa  Bbanka y’ensi yonna  eyali ewomye omutwe  mu kusomba kasasiro ku  bwereere okubiggyamu  enta.

Ddamba Kisuze  yasabye abasuubuzi  okwekolamu ebibiina  by’enkulaakulana  kubanga KCCA yafunye  ssente obukadde 800  ez’okugabira ebibiina  by’obwegassi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...