TOP

Abasomesa b'e Kyambogo basula nga nte!

By Lawrence Kitatta

Added 7th February 2018

Abasomesa b’e yunivasite y’e Makerere ennyumba ze basulamu zeewuunyisa! Ezimu zikutte mu mbinabina endala ziri mu nsiko.

Kyuhouses1 703x422

Enju eno erabika nga ekaddiye era enjudde enfuufu.

Bya LAWRENCE KITATTA

Abasomesa b’e yunivasite y’e Makerere ennyumba ze basulamu zeewuunyisa! Ezimu zikutte mu mbinabina endala ziri mu nsiko.

Polof. Eli Katunguka akulira yunivaasite ya Kyambogo yategeezezza Bukedde gye buvuddeko nti si buvunaanyizibwa bwa yunivasite okufunira abasomesa amayumba mwe basula, buli musomesa kimukakatako okwefunira enju awokusula.

no ngeri mu nsikoEno ng’eri mu nsiko.

 

Ekirala abasomesa baffe balimu obugayaavu, basula mu mayumba ago naye eddirisa ne bwe lyatika tasobola kukwata ssente kulitereeza kyokka nga liri ku nnyumba gy’asulamu ate nga tagenda kugivaamu kati.

Kikwasa ennaku nti abasomesa abamu babadde mu mayumba ago okuva mu myaka 1970 nga yunivasite ekyayitibwa UPK nabo bakyasula mu kyambogo muno kale weewuunya abantu abagayaavu bwebatyo.

Naye amagezi ge mpa abasomesa bandibadde bafuna ssente ne bazimba ne bava mu mayumba ga yunivasite ne kibayamba n’okwekulaakulanya ng’abantu kuba omuntu tosobola kuba ng’omaze emyaka 40 oli mu nju ya yunivasite n’olowooza nti otegekedde baana bo.

 zimu ku nnyumba zabasomesa e yambogo nga bwe zifaanana Ezimu ku nnyumba z’abasomesa e Kyambogo nga bwe zifaanana.

 

TWETAAGA BUWUMBI OKUDDAABIRIZA AMAYUMBA GOKKA

Polof. Katunguka yagambye nti baakola embalirira gye baakwasa gavumenti ya buwumbi 8 okusobola okuggyako amabaati ago agalwaza kkansa basseeko amalala.

Era tukyali mu kuperereza okulaba ng’ ensimbi zino zivaayo tuddaabirize amayumba ago naye nga ffe nga yunivasite tekitukakatako okuwa abasomesa awookusula be balina okwerabirira mu byensula.

 ino ennyumba ezikaddiye nazo zisuulwamu basomesa Zino ennyumba ezikaddiye nazo zisuulwamu basomesa.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Laga 220x290

Aba NRM ababeera mu mawanga g'ebweru...

SSABAWANDIISI wa NRM Kasule Lumumba asabye Bannayuganda abali mu mawanga g’ebweru okukomya okusiiga ensi yabwe...

Pata 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

OMULAMUZI akulira kkooti ento e Masaka, Deogratious Ssejjemba yeesitudde n’agenda e Kasanje mu ggombolola y’e Kyesiiga...

Mate 220x290

Babakutte balimira mu kibira ky’e...

POLIISI y’e Mpigi ngeri wamu n’abakulira ekitongole ky’eby’ebibira mu ggwanga ekya National Forest Authority (NFA)...

Gano 220x290

Omugagga asenze ebintu bya Klezia...

KLEZIA n’abatuuze abalina ebibanja ku kyalo Nkakwa mu ggombolola y’e Ssi - Bukunja mu disitulikiti y’e Buikwe,...

Wanga 220x290

Obwaddereeva buliko emyaka gy’otolina...

OLUVANNYUMA lw’Omulangira Phillip bba wa Kwiini wa Bungereza, Elizabeth okufuna akabenje ng’avuga mmotoka ku myaka...