TOP

Beti Kamya akimanye nze Loodi Meeya omulonde - Lukwago

By Hannington Nkalubo

Added 11th February 2018

OBUTAKKAANYA wakati wa Loodi meeya Erias Lukwago ne minisita wa Kampala Beti Namisango Kamya bweyongedde bwamugaanyi okwetaba mu ttabamiruka wa bameeya b’ebibuga olutegekebwa Bbanka y’Ensi yonna nga lubaawo omulundi gumu mu bbanga lya myaka 10.

Mbala703422703422 703x422

Lukwago ne Kamya bwe bali ku mbiranye

Bbanka y’Ensi yonna yayise Lukwago ng’eyita mu minisitule y’ensonga z’ebweru agende ayanjule ebizibu bya Kampala naddala ku ludda lw’abanoonyi b’obubudamu n’obwetaavu ekibuga bwe kirina ku mirimu egyenjawulo.

Minisita yawandiise ebbaluwa emuyimiriza okwetaba mu lukiiko luno nga January 6, 2018.

Ebbaluwa yagiwandiikidde dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi Ssemakula ng’emutegeeza nga bw’atalina kumuwa kintu kyonna kuba takkiriziddwa kugenda mu lukiiko olw’okubeera mu Kuala Lumpur, Malaysia.

Hannington Nkalubo yatuukiridde Lukwago ku Lwokuna lwa wiiki ewedde lwe yabadde alina okusimbula nannyonnyola embeera eriwo

Lwaki olemeddwa okukwatagana ne minisita Beti Kamya wamu ne dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi?

Byonna by’olaba ebigenda mu maaso nze si byewuunya. Bw’oba ojjukira bulungi n’entalo z’okungoba mu ofiisi mu kisanja ekiwedde zaasajjuka luvannyuma lwa myaka ebiri nga balaba ebintu mbitambuza bulungi. Mu February 2013, bwe byaliwo eyali minisita Frank Tumwebaze yayimiriza enkiiko zonna ze nali ntuuza.

Mu May natuuza olukiiko lwa bakansala okungoba ate mu September ne bassaawo akakiiko (Tribunal) eyambuulirizaako. Beti Kamya by’akola akimanyi nti bimenya mateeka kyokka olw’okuba alina kye yasuubiza Pulezidenti Museveni bwe yali akyadde e Kawempe nti okulonda okuddako agenda kumuwangulira Kampala ku bitundu 80 ku buli 100 tafaayo ku tteeka.

Buli lw’alaba ng’emirimu ngikola mu mateeka n’ebintu nga mbitambuza bulungi agezaako okussaawo emiziziko era ekigendererwa kye kyakuggalawo ofiisi eno.

Bw’ogamba nti minisita tagoberera mateeka otegeeza ki?

Omuntu agoberera amateeka tasobola kutuula mu ofiisi ye n’awandiika ebbaluwa eyimirizza entambula za Loodi Meeya ng’akimanyi nti meeya atwala ekibuga ky’eggwanga ekikulu ateekwa okutambula okusakira eggwanga.

Bbanka y’Ensi yonna yaakamala okutuwa obukadde bwa ddoola 175, bwe tukozesa enguudo, emyala n’okussa amataala ku nguudo.

Babadde bagenda kwogera ku banoonyi b’obubuddamu abeeyiwa mu ggwanga n’okusinga mu Kampala era ebitongole ebigaba obuyambi byagala engeri gye tukuttemu embeera eno. Lipoota gye mbadde hhenda okubanjulira mulimu enkola y’ekibuga Kampala ku banoonyi b’obubudamu n’okusaba ebitongole omuli Bbanka y’Ensi yonna etukwatireko.

Bw’otunuulira etteeka erifuga Kampala akatundu nnamba 11 (1) kagamba nti Loodi Meeya ye mukulembeze omulonde akulira Kampala ate akatundu (E), kalaga nti nze nvunaanyizibwa ku kutegekera ekibuga n’okukisakira.

Emirimu gyange tegirina we giyingirira mu gya minisita. Ebitongole ebigoberera amateeka byawandiikidde minisitule ekola ku nsonga y’ebweru eyampise butereevu nga tewandiikidde minisita Beti Kamya kuba bamanyi amateeka.

Bwe baba baakuyise butereevu lwaki minisita yabiyingiddemu?

Bbanka y’Ensi yonna bwekuyita esasula tikiti y’ennyonyi, ebyokulya, okusula n’okutambula munda mu ggwanga gy’oba ogenze. Baasasudde tikiti nga yalukale nga tekuli ssente za nsako ez’ennaku ettaano ze mbadde nnina okumalayo.

Ttabamiruka omunene nga ono KCCA eteekwa okumpa ssente z’ensako ne bongera ku ssente za tikiti ne nsobola okutuula mu kifo ekiddirira ekyabakungu (economy).

Beti Kamya bwe yategedde nti waliwo ssente KCCA z’eteekwa okumpa ezaabadde zitawera wadde obukadde butaano n’agaana.

Akola nga dayirekita, Samuel Sserunkuma ne banne baabadde basanyukidde ttabamiruka kuba akola kinene okumatiza Abazungu batwongere obuyambi nga bwe bakoze ku nguudo era nga bategese lipooti gye nabadde maze okuyitamu nga nsigadde kugyanjula.

Nawulidde nti waliwo abalala abaabadde bamaze okugenda. Kituufu?

Okuddamu: Ekyo sikimanyi naye nange mbiwulidde nti meeya w’e Kawempe Emmanuel Sserunjogi gwe yakkirizza agende era bwanaakomawo nja kumubuuza oba kati ye Loodi Meeya.

Tasobola kukiikirira KCCA?

Tasobola. Oyo si ye Loodi Meeya wa Kampala. Nze nalondebwa abantu. Bampandiikidde nga bamanyi omuntu gwe bayita era aba Bbanka y’Ensi Yonna okutuwa ssente ezikola enguudo nasooka kukakasa ku lwa Bannakampala . Tewali asalirawo Bannakampala mu ttabamiruka eyo okuggyako nze.

Obutagenda bwange minisita ajja kumanya kye kitegeeza kuba bagenda kusooka batusasuze engassi y’ebintu byonna Abazungu bye baakozesezza mu kutegeka omuli tikiti nga kiyinza n’okusannyalaza pulojekiti ze babadde bagenda okutukolera.

Naye lwaki tokwatagana ne Beti Kamya ate nga bameeya ba Munisipaali n’abamu ku bakansala batambulira wamu naye?

Abo beerabidde enkola ye bwe banaagitegeera bajja akukkiriza bye mbagamba. Alina enkola ya mirundi esatu. Asooka n’akusendasenda nga bwakusuubiza eggulu n’ensi.

Kati bameeya yabasuubizza okubawa obuyinza n’okubategekera ehhendo nga bw’olaba owa Kawempe ate bakansala yabasuubizza okubongeza nsako kyokka nga byonna abalimba.

Ayawula mu bakulembeze abamu ne badda ku ludda lwe nga bwe walabye be yatutte e Kyankwanzi. Kyewuunyisa bameeya ba munisipaali okwerabira nti nga August 23 2016, olukiiko lwa KCCA lwatuula ne lukkiriza baweebwe obuyinza era ne tuwandiikira Beti Kamya babawe ssente ku munisipaali n’agaana.

Ekyo tebakitwala nga nsonga. Kati abaami abo n’omukyala omukulu abamanyi ebyobufuzi bya Pulezidenti Museveni balowooza ye gwe bagenda okukolagana naye.

Mbatunuulidde ndabe kuba Beti Kamya gwe batinkiza naye tebamanyi nti akolerera kusanyusa mukama we.

Tebamanyi nti naye atudde ku ccupa kuba yeeyama okuwangulira Pulezidenti Kampala kyokka talina bantu b’agenda kukola nabo kutuukiriza kye yeeyama.

Ekibiina kye ekya Federal Alliance (FA), tekirina bawagizi nga bw’otunuulira bammemba ku ludda oluvuganya tebamwesiga kati agenda kukikola atya. Agezaako okufuna abantu bange naye tasobola .

Waliwo essuubi lyonna ery’okukwatagana?

Ekyo kikafuuwe. Nve ku tteeka bwe ligamba tutandike kukolera wabweru waalyo. Sisobola.

Kati ogenda kukolera otya Bannakampala?

Munnaku ntono ng'enda kulangirira ekiddako. Tosobola kumenya mateeka kutuuka ku ddaala lya kuhhaana kugenda kusakira Bannakampala ate nga byonna mbikola mu mateeka.

Ebigendererwa bya Beti Kamya, kusannyalaza mirimu gye mbadde nkola naddala okutuuza enkiiko. Akimanyi nti mu nkiiko mwe tuyita okutegekera Bannakampala. Tubadde tukola ku mbeera eri mu byokulya naddala ennyama era lipooti ebadde egenda kwanjulwa.

Tulina omulimu gwokutegekera bodaboda mu Kampala, takisi mu Kampala era bye tubadde tugenda okuteesaako kyokka bw’otunuulira Beti Kamya by’akola nga yatandikira ku kuyimiriza nkiiko weewuunya obuyinza bwe.

Musekeredde. Wadde nabadde nsobola okwesasulira ne hhenda naye lwaki nkikola nga nze Loodi Meeya era Bannakampala bannonda kubakulembera.Tetunnaba!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St1buk250518 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulimu ebipya ku batta abawala omuli obujulizi obubalumiriza kyokka nga butiisa.

Save 220x290

Museveni ayogedde ku bawamba abawala...

Pulezidenti agambye nti abatemu abawamba abawala ne babatta babafunzizza era gwe basembyeyo okukwata yabadde n’emirambo...

Whatsappimage20180524at20027pm 220x290

Abadde alimbalimba omuyizi wa S.4...

Emirimu gisannyaladde okumala akaseera mu ppaaka enkadde mu kibuga Kampala abagoba ba takisi abakolera ku siteegi...

Isabeti4 220x290

Yeemulugunyizza ku mutindo gwa...

OMUTEDENSI wa KIU Henry Kyobe akukkulumidde akakiiko akaddukanya omuzannyo gwa Beach Soccer olw’enzirukanya etamatiza...

Kasangati 220x290

Bawambye omuwala omulala e Kasangati...

ABAWAMBA abantu beesomye luno, bawambye omukazi omulala e Kasangati ne basaba obukadde 10, kyokka olubaweerezzaako...