TOP

Kirumira ne Ntakke battunka lwa kizimbe

By Moses Nsubuga

Added 21st February 2018

WABULUSEEWO obutakkaanya wakati w’abagagga ba Kwagalana Godfrey Kirumira ne Guster Lule amanyiddwa nga Ntakke ng’entabwe evudde ku musingi gw’ekizimbe omu gw’asimye okulinaana ekizimbe kya munne.

Wata1 703x422

Kirumira (wakati) n’abamu ku bazze okulambula ekizimbe kye bwe kyonoonese.

Obutakkaanya buddiridde Ntake okusima omusingi gw'ekizimbe kye okumpi n’ekya Kirumira ekirese ekizimbe kya Kirumira okusigala mu bbanga n’okwonoona ebimu ku bintu by’ekizimbe kino omuli, kaabuyonjo, payiipu z’amazzi ne kazambi wamu n’emmaali y’abasuubuzi.

Ekibizimbe ebivuddeko obutakkaanya bisangibwa ku luguudo lwa Luwum ng'omugagga Kirumira gye yagenze oluvannyuma lw’abapangisa okwemulugunya mu KCCA olw’ekizimbe kya City Complex okutandika okukankana naye n’ayitibwa.

Abapangiisa ba Kirumira abakolera kizimbe kya City Complex ekyali ekya Basajjabalaba beemulugunyizza ku weetiiye ezaabadde zisima omusingi omuwanvu awagenda okubeera paakingi okulinana n’ekyabwe wabula nga weetiiye gy’ekoma okusima nga n’ekizimbe gye kikoma okukankana ne bafuna okutya n’okweraliikirira okugwa ne bafiirwa emmaali n’obulamu bwabwe.

Okusinziira ku yinginiya Edward Lule akuliddemu okuzimba ekizimbe kino agamba nti, omugagga Ntakke yagula ekizimbe ekikadde omubadde mutundibwa ebizimbisibwa e Nakasero ng’era abadde asima omusingi ateekewo ekizimbe ekipya nga kya myaliiro 13.

 ing ule ku kkono ing gaba ku ddyo owa  nga bagezaako okunnyonnyola irumira amuddiridde Ying. Lule (ku kkono) Ying. Agaba (ku ddyo) owa KCCA nga bagezaako okunnyonnyola Kirumira (amuddiridde).

Lule ayongerako nti, baagenda mu KCCA eyabakkiriza okuzimba era nga babadde basima n’obukugu omugagga Kirumira yabadde yeeraliikiridde ekizimbe kye okugwamu ekitasoboka kuba ekizimbe kye kino ekya City Complex kipya nnyo okwawukanako n’ekkyagwa ku Nasser Road ekyali ekikadde ddala.

Omugagga Kirumira yasangiddwa ku kizimbe kino n’abazimbi ba Ntakke n’abakungu ba KCCA ababadde bakulembeddwaamu Vira Agaba ateekerateekera ekibuga ne bayimiriza okusima okutuusa ng’ensonga eno egonjoddwa.

Agaba yawadde bayinginiya obukwakkulizo okuli; okumuwa pulaani y’ekizimbe, ekiwandiiko okuva mu KCCA ekiruhhamya engeri y’okuzimbamu ekizimbe kino, empapula za yinginiya, obutandamu kusimisa weetiiye ku ludda oliraanye ekizimbe kya Kirumira, okusimisa emikono okuliraana ekizimbe kya Kirumira okwewala omusinde oguyinza okunafuya City Complex, okutereeza n’okuddabiriza ebyayonoonedwa byonna.

Ying. Edward Lule yeeyamye okutuukiriza ebiragiro bya KCCA era n’alagira basajja be okulekera awo okusima okutuusa ng’ensonga zino zigonjoddwa.

Yinginiya wa KCCA ne yinginiya Lule n’omugagga baalambudde ekizimbe okulaba ebintu ebyayonoonese.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nant 220x290

Oluyimba ‘Tukigale’ lutabudde Carol...

Omuyimbi Carol Nantongo atabukidde Rachael Namiiro okuyimba oluyimba lwe olwa 'Tukigale' nga tamuwadde lukusa....

Dham 220x290

Embeera y’omubaka Dhamuzungu yeetaga...

Omubaka Dhamuzungu asimattuse okufiira mu kabenje k’e mmotoka, embeera ye yeetaga kusabira.

Aidslogo 220x290

Najeemera ebiragiro by’abasawo...

Asiah Tusingwire mulwadde wamukenenya. Yejjusa lwaki teyagoberera basawo kye baamugamba eky’okumira eddagala okusobola...

Muddo1 220x290

Okulunda kugatteko okulima omuddo...

Asiimwe ye nnannyini ffaamu ya Itungo Farm esan­gibwa ku kyalo Kyoga mu Wakiso ng’etudde ku yiika ssatu n’ekitundu...

Lusuku1 220x290

Endabirira y’olusuku mu biseera...

OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima...