TOP

Bawakanya KCCA okukulembera okuwandiisa bodaboda

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd February 2018

ABA bodaboda okuva mu siteegi ez’enjawulo mu Munisipaali y’e Kawempe bakubye ebituli mu kya KCCA okukulemberamu omulimu gw’okuwandiisa bodaboda nga bagamba nti kino kigenda kuwa abantu abakyamu okuyingira omulimu guno.

Zinga1 703x422

Bannayuganda gye bakomye okwettanira omulimu gwa bodaboda n’omulimu guno gye gukomye okukaluba kuba ebizibu ebigurimu tebikoma.

Embeera eno evuddeko bangi okulowooza nti, singa ekitongole kya KCCA kyeddiza obuvunaanyizibwa bw’okuwandiisa bodaboda, kigenda kutumbula obumenyi bw’amateeka olw’abantu abakyamu okweyingizaamu.

Bino baabyogeredde mu lukiiko olwabaddemu abavuzi ba bodaboda okuva mu bitundu bya Kawempe okuli; Kaleerwe, Bwaise, Kyebando ne Kanyanya Olukiiko lwategekeddwa Frank Mwanje owa Smart Bodaboda Riders and Transporters Co-operative Society.

Mwanje yagambye nti kikyamu KCCA okukulemberamu omulimu gw’okuwandiisa bodaboda n’asaba obuvunaanyizibwa buno budde mu mikono gya bassentebe ba siteegi abamanyi abantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkeesiwebusebig 220x290

Omugaso gw’okutegeka obulungi omudaala...

Entegeka y'omudaala gwo y'esalawo bakasitoma n'e ssente by'ofuna olunaku

Ashimu2webuse 220x290

Mu kukuba bbandi mwe nfuna ebisale...

Ekitone kyange kinnyambye okutuuka we nnali sisuubira mu kusoma n'okutambula mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo...

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika yakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.