TOP

KCCA egumizza Bannakampala ku kalippagano k’ebidduka

By Hannington Nkalubo

Added 1st March 2018

KCCA etegeezezza nti enguudo 48 ezikolebwa ekiseera kino n’amasahhanzira 13 ge bagenda okussaamu ebitaala ebikola ku bidduka bigenda kuyamba nnyo okumalawo obulippagano bw’ebidduka.

Trafficjam703422 703x422

Akulira eby’enguudo mu Kampala, Eng. Andrew Kitaka ategeezezza nti zino enguudo 48 ezikolebwa zigenda kwegatta ku nguudo 196 ze baamaliriza okukola mu myaka mukaaga.

Yagambye nti basuubira mu bbanga ttono Kampala okwongera okutereera wadde babadde n’ebizibu bya ssente.

Mu lipooti Kitaka gye yasomedde bannamawulire mu lukiiko olwatudde ku City Hall eggulo, yalaze nti Kampala alimu obuwanvu bwa kkiromita 2,110 kyokka bakunukkiriza 1,600 ze bakoze ku mutindo.

Yagambye nti baagala buli luguudo lussibweko koolaasi naye ekikyabalemesezza butaba na ssente.

Kitakka yagambye nti Kampala yali talina pulaani eraga nguudo zonna eziri mu kibuga n’ezifuluma kyokka baagikoze ne bagimaliriza.

“Buli kizibu n’enteekateeka ya Kampala ku by’enguudo tugenda kugitunulako okulaba nga tugissa mu nkola ku buli mutendera okuba gwetaagisa,” Kitaka bwe yagambye.

Yategeezezza nti okusoomoozebwa kwe balina ku nguudo ze kkampuni ezisinga eza bannansi obutaba na bisaanyizo bikola ne beesanga nga bakozesezza kkampuni eziva ebweru w’eggwanga.

Yategeezezza nti okukola oluguudo kitwala ssente nnyingi kubanga olutandikirwako okukola lutwala obuwumbi busatu buli kiromita.

Ku nsonga y’ebitaala, Kitaka yagambye nti baagala amasang'anzira agabaddemu obulippagano bagasseeko ebitaala, era ttenda baagigabye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkeesiwebusebig 220x290

Omugaso gw’okutegeka obulungi omudaala...

Entegeka y'omudaala gwo y'esalawo bakasitoma n'e ssente by'ofuna olunaku

Ashimu2webuse 220x290

Mu kukuba bbandi mwe nfuna ebisale...

Ekitone kyange kinnyambye okutuuka we nnali sisuubira mu kusoma n'okutambula mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo...

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika yakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.