TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Lukwago atabuse olw’embalirira ya KCCA okutuuka mu Palamenti nga teteeseddwaako

Lukwago atabuse olw’embalirira ya KCCA okutuuka mu Palamenti nga teteeseddwaako

By Hannington Nkalubo

Added 4th April 2018

EMBALIRIRA ya KCCA egambibwa nti yatuuse mu palamenti nga bakansala tebasoose kugiteesaako etabudde Loodimeeya Erias Lukwago n’ayita bukubirire olukiiko olufuga ekibuga bazuule ebigirimu.

Lukwago 703x422

Lukago ne Kamya

Bakansala balumiriza ofiisi ya minisita Beti Kamya ne Dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi Ssemakula nti be baatute embalirira eno mu palamenti.

Bakansala bagamba nti etteeka liragira bo okusooka okuteesa ku mbalirira eno nga tennaba kutwalibwa mu palamenti era eyabadde agikukusizza yamenye etteeka nnamba 49 mu tteeka lya KCCA.

Omumyuka wa Loodimeeya Sarah Kanyike yagambye nti, “Twagala tumanye ebigirimu era yatuuse etya mu palamenti nga ffe tulekeddwa bbali.

Tugenda kutuula leero (Lwakusatu) tumanye ebigirimu,” Kanyike bwe yagambye.

Ate Kansala Ismail Ddamba (Lubaga South) yagambye nti, “Kino kuba kutuyisaamu lugaayu.

Byonna bye twagala bikolebwe mu byenjigiriza birekeddwa bbali kati baatutte ki? Olukiiko lwa Lukwago lujjidde mu kiseera ng’enkiiko Beti Kamya yaziyimiriza ekyanyiiza Lukwago era n’awalirizibwa okumutwala mu kkooti ng’amuvunaana okukozesa obubi obuyinza bwe.

Eggulo Lukwago yawadde bakansala n’abakungu ab’enjawulo amabaluwa agabayita mu lukiiko luno.

Yayise n’ababaka ba palamenti bonna mu Kampala, omubaka wa pulezidenti Deborah Mbabazi, bameeya ba munisipaali ne ba dayirekita ba KCCA okubeerawo mu lukiiko luno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Blackcoupleangryfighting620330 220x290

Ebivaako abawala okugaana abalenzi...

OKWEGOMBA kyabulijjo mu bantu wakati w’abawala n’abalenzi era ekitonde ekisajja kyo kyakolebwa nga kiriwo okukwana...

Bula 220x290

EBBALUWA YA SSENGA: Essimu etuuse...

LWAKI bwe bakukubira essimu buli kiseera ovaawo n‛oleka omwami yekka ng‛ate muli ku kijjulo. Mbu waliyo abantu...

1 220x290

Maama w’abaana bamukubira ekiro,...

NNINA obuzibu ne mukazi wange. Obuzibu buno buva ku ssimu ze bamukubira buli kiro n’obubaka bwe bamusindikira....

Ssenga1 220x290

Bigambo ki ebikwana bannange?

Ssenga, ssinga nkwana omuwala n’agaana, nsobola kukozesa bigambo ki ebirala okulaba ng’akkiriza.

Sen1 220x290

Ssegirinya ebyana abikyusa nga...

Ssegirinya ebyana abikyusa nga bikooyi