TOP

Bakansala bayisizza bajeti ne beeyongeza emisaala

By Musasi wa Bukedde

Added 11th April 2018

BAMEEYA ba Munisipaali za Kampala ne bakansala ba KCCA basinzizza Minisita wa Kampala, Beti Kamya amaanyi ne bakyusa mu bajeti ne beeteeramu obuwumbi 3 n’obukadde 600 ez’okweyongeza emisaala n’ensako okuva nga July 1, 2018.

United 703x422

Lukwago ne Beti Kamya

Bino byabadde mu kanso ya KCCA eyatudde ku Mmande ng’ekubirizibwa omumyuka wa Loodi Meeya, Hajjati Sarah Kanyike Ssebaggala ng’oludda olw’ekikugu olukulirwa Jenniffer Musisi lwakiiriddwa dayirekita w’ebyenjigiriza Juliet Namuddu.

Kanso eno yaddiriddwa ey’ebbugumu gye baasoose okutuulamu ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde bakansala ne bava mu mbeera olwa kye baayita Minisita Beti Kamya okubayisaamu amaaso n’okubajooga n’akola bajeti ya KCCA ey’omwaka 2018/19 nga tebalina kye bamanyi.

Bakansala baategeeza nga bwe baali batajja kukkiriza bajeti ya minisita gye yatutte mu Palamenti ne bamuwa obukwakkulizo bw’alina okutuukiriza.

Ebbaluwa ya Minisita omubeezi owa Kampala, Benny Namugwanya Bugembe gye yawandiise nga April 6, 2018 yatuuse kanso enaatera okuggwa, ng’abawa olukusa okussa mu buwandiike ebirowoozo byabwe ku bajeti ya KCCA eya 2018/19.

Meeya owa Makindye, Ali Kasirye Nganda, owa Kawempe, Emmanuel Serunjogi, owa Lubaga, Nabbosa Sebuggwawo, owa Nakawa yakiikiriddwa omumyuka we Florence Namata Mungi nga baatudde ne bakansala ne bamenyamenya bajeti ya Kamya gye yasooka okutwala mu Palamenti.

Minisita Kamya mu kiwandiiko ekya Kampala Capital City Authority Ministerial Policy Statement FY 2018/2019 yayanjulira Palamenti bajeti ya KCCA empya ya buwumbi 479 n’obukadde 64 nga bajeti eno esinga obunene ey’omwaka guno 2017/18 ey’obuwumbi 367.

Yalaga nti ku nsimbi obuwumbi 479 n’obukadde 64 ezigenda okusaasaanyizibwa mu 2018/19, ezigenda okukuhhaanyizibwa mu layisinsi, empooza, emisolo n’amakubo amalala ziri obuwumbi 116 n’obukadde 820.

Ssente ezisigadde ez’okujjuuliriza bajeti ya KCCA eya 2018/19, Kamya yalaga nti kuliko obuwumbi 170 n’obukadde 66 ezigenda okuva mu Gavumenti eya wakati, obuwumbi 34 n’obukadde 90 zaakuva mu nsawo eya Uganda Road Fund, obuwumbi 157 n’obukadde 26 zaakuva bweru w’eggwanga mu Pulojekiti ya

KIIDPII BAMEEYA NE BAKANSALA BEEYONGEZZA

Bajeti ey’ebyamawulire, n’ensonga za KCCA ‘Corporate Services’ eyabadde ey’obuwumbi 6 n’obukadde 31, bagisazeeko obuwumbi 3 n’obukadde 600 ne bazissa ku bajeti ya bannabyabufuzi eya ‘Political Governance’ eyabadde eweereddwa obuwumbi 15 n’obukadde 800 n’erinnya okutuuka mu buwumbi 19 n’obukadde 400.

Obuwumbi 3 n’obukadde 600 ze baatadde ku bajeti ya Bannabyabufuzi, zigenda kubagabanyizibwa ku misaala n’ensako okuviira ddala ku Loodi Meeya, ba Meeya ba Munisipaali ne bakansala bonna.

Bakkaannyiza nti emisaala n’ensako byabwe okuva nga July 1, 2018 byakwongezebwa wakati w’ebitundu 25 ne 30 ku buli 100 kyokka ng’ekyo baakirekedde abakugu okusalawo.

Wabula zzo ssente ez’ensako y’ehhendo zaabwe ez’omunda n’ebweru w’eggwanga baazisazeewo nga ofiisi ya Loodi Meeya bagyongezza okuva ku obukadde 135, Kamya ze yali asoose okugiwa ne zidda ku bukadde 175.

Bakansala beeyongezza ensako z’ehhendo zaabwe okuva ku buwumbi 130, Minisita Kamya ze yabadde abateeredde mu bajeti ne bazizza ku buwumbi 200 ate bameeya ba Munisupaali beeyongedde ssente ehhendo okuva ku obukadde 240 okutuuka ku bukadde 300.

BANSALA BASAZEEWO KU MUSOLO

Baasinze kwesiba ku musolo ogw’okulondoola ebizimbe, ‘Building Inspection’ ogwabadde gulinnyisiddwa ku 2,500/- ne basalawo zisigale ku 1,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Blackcoupleangryfighting620330 220x290

Ebivaako abawala okugaana abalenzi...

OKWEGOMBA kyabulijjo mu bantu wakati w’abawala n’abalenzi era ekitonde ekisajja kyo kyakolebwa nga kiriwo okukwana...

Bula 220x290

EBBALUWA YA SSENGA: Essimu etuuse...

LWAKI bwe bakukubira essimu buli kiseera ovaawo n‛oleka omwami yekka ng‛ate muli ku kijjulo. Mbu waliyo abantu...

1 220x290

Maama w’abaana bamukubira ekiro,...

NNINA obuzibu ne mukazi wange. Obuzibu buno buva ku ssimu ze bamukubira buli kiro n’obubaka bwe bamusindikira....

Ssenga1 220x290

Bigambo ki ebikwana bannange?

Ssenga, ssinga nkwana omuwala n’agaana, nsobola kukozesa bigambo ki ebirala okulaba ng’akkiriza.

Sen1 220x290

Ssegirinya ebyana abikyusa nga...

Ssegirinya ebyana abikyusa nga bikooyi