TOP

Bakkirizza bannannyini bizimbe okusasula mu ddoola

By Musasi wa Bukedde

Added 26th April 2018

GAVUMENTI yeekyusizza ku kyali kisaliddwaawo olukiiko lwa baminisita okugaana bannannyini bizimbe n’amayumba okusolooza ssente z’obupangisa mu ddoola n’obutamala gongeza ssente.

129163597 703x422

Mu lutuula lwa kabinenti olwa April 2018, baminisita bakkaanya ku tteeka eppya erigenda okuluhhamya enkolagana y’omupangisa ne balandiroodi mwe baaweera minisita obuyinza okulung'aamya ku ssente ez’omupangisa nga tewali nnannyini kizimbe akkirizibwa kwongeza ssente okuzikubisaamu emirundi ebiri mu bbanga ery’omwaka ogumu wamu n’okusaba ssente ezisukka ez’emyezi esatu.

Oluvannyuma lwa bannannyini bizimbe okwekubira enduulu nti, bbo tebeebuuzibwako, kabinenti yatudde n’esalawo okukyusaamu ku bimu ku byali bisoose okuyisibwa mu bbago erigenda okufuga abapangisa ne bannnannyini mayumba erya ‘ Landlord and Tenant Bill 2016’.

Betty Amongi, minisita avunaanyizibwa ku byettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga yagambye nti kabineeti yazzeemu okukubaganya ebirowoozo ku bbago erigenda okufuga abapangisa ne bannnannyini bizimbe ne wabaawo ebirongoosebwamu.

Ebbago lino lisuubirwa ekiseera kyonna okwanjulwa mu palamenti ababaka balikubaganyeeko ebirowoozo nga terinnaba kufuulibwa tteeka.

Ebimu ku byakyusiddwaamu okusinziira ku nsonda mu kabineeti mulimu, eky’okuleka enkola ebaddewo bannannyini bizimbe okusaba ssente z’obupangisa mu ddoola nga bwe kibadde ku bizimbe ebimu mu kibuga.

Omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi ab’omu Kampala ekya Kampala City Traders Association (KACITA), Issa Sekitto nga be babade abasaale mu kulwanyisa eky’okusolooza ssente mu ddoola yategeezezza nti bbo tebafuddeeyo, kabinenti bw’eba bw’esazeewo okwekyusa, kati essuubi lyabwe lisigadde mu babaka ba palamenti abagenda okuyisa etteeka.

“ Nze nva mu kibiina kya Uganda Law Society okunnyonnyola balooya ku nsonga zaffe ku tteeka era ndi mumativu, bannamateeka bagenda kutwegattako mu kulwanyisa enkola eza bannannyini bizimbe okunyigiriza abapangisa,” Sekitto bwe yagambye.

Wabula munnamateeka w’omu Kampala Muzamiru Kibeedi yagambye nti Gavumenti okusalawo ku ssente ez’obusuulu kimenya konsitityusoni y’eggwanga ewa eddembe buli muntu okuyisibwa ekyenkanyi awatali kusosolwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukuleetedde...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukuleetedde ekika kya Kalittunsi ekitaliibwa nkuyege

Luk1 220x290

Jennifer Musisi atutte Lukwago...

Jennifer Musisi atutte Lukwago mu mbuga z'amateeka

Exp 220x290

Express efunye wiini esooka

Express, efunye obuwanguzi obusooka bw'ekubye Police FC ku ggoolo 3-2.

Kop1 220x290

Imam abasibiridde entanda

Imam abasibiridde entanda

Lip1 220x290

Abadde ayagala okuziika ssanduuku...

Abadde ayagala okuziika ssanduuku y'omufu enkalu asimattuse okugajambulwa abakungubazi