Mu kiseera kino bakasereka nga baatandika mu November omwaka oguwedde.
Omwogezi w’akatale Steven Kyomuhendo agamba nti; “Omulimu ogukolebwa mu kiseera kino kuliko, okuzimba ekikomera n’okutereeza oluggya lw’akatale era mu bbanga lya myezi etaano bagenda kuba nga bamalirizza”, Kyomuhendo bwe yagambye.
Yayongeddeko nti, ssente ze bakozesa mu kiseera kino zaafikka kw’ezo ezaaweebwayo mu kuzimba wabula nga Gavumenti ebadde tennaddamu kwongerayo kubawa ssente.
Kkampuni ya Arab Contractors ye yaweebwa omulimu guno mu 2017.
Ate Disan Kiryowa omuwandiisi w’abasuubuzi mu katale kano agamba nti kkampuni esereka eyitibwa Fablication Systems nga yapangisibwa aba Arab Contractors.