TOP

Lukwago alumbye Musisi okwanika omusaala gwabwe mu lujjudde

By Hannington Nkalubo

Added 16th May 2018

LOODI Meeya wa Kampala, Erias Lukwago ne bakansala batadde abakungu ba KCCA ku nninga nga baagala nabo balage emisaala gyabwe mu lujjudde nga bwe baakoze ku gyabwe a.

Ono 703x422

Kansala Mohammed Ssegirinya ( ku ddyo) ng’ayogera mu lukiiko. Mu katono ye Loodi Meeya Lukwago

Abakungu ba KCCA abaabadde bakulembeddwaamu omumyuka wa dayirekita wa Kampala, Sam Serunkuuma baafunye akaseera akazibu Lukwago bwe yabalagidde okwogera mu lujjudde emisaala gyabwe gye bafuna.

Emisaala okwogerwaako kyaddiridde amawulire agaafuluma nga galaga omusaala gwa Loodi Meeya ne bakansala be, bassentebe ba munisipaali, abamyuka baabwe ne bakansala gwe bagamba nti dayirekita Jennifer Musisi ye yagutwala mu mawulire.

Lukwago yagambye nti, KCCA bw’eba esobola okulaga emisaala gyabwe lwaki egy’abakozi baayo tebagiraga nga nabo ensimbi ezibasasulwa za muwi wa musolo.

Yawagiddwa kansala Keneddy Okello ne kansala Moses Okwera okuva e Mbuya era ne babasaba okukomawo olwaleero n’olukalala lw’emisaala egisasulwa abakozi ba KCCA ku buli mutendera.

Wabula Serunkuuma yabategeezezza nga KCCA bw’erina abakozi bangi omuli abasomesa n’abasawo n’abasaba okugenda mu minisitule y’abakozi gye baba baggya olukalala lw’emisaala gy’abakozi ba KCCA kuba ye talina buyinza kugiraga. Ensonga endala gye baasibidde ekkuuli y’eteekateeka y’okulinnyisa omusolo ku bakolera bizinensi ez’enjawulo mu Kampala naddala abatakisi.

Lukwago yagambye nti, bagamba kino baakikoze okusobola okufuna ssente ze banaayongera ku misaala gy’abakozi abakola emirimu egy’ekikugu ky’agamba nti bbo ng’olukiiko lwa KCCA tebagenda kuziyisa.

Lukwago abawadde amagezi bakwate ssente ezikola ku by’okwejalabya bongere ku misaala gyabwe mu kifo ky’okunyigiriza Bannakampala nga n’omusolo gwe basasula mungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St1buk250518 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulimu ebipya ku batta abawala omuli obujulizi obubalumiriza kyokka nga butiisa.

Save 220x290

Museveni ayogedde ku bawamba abawala...

Pulezidenti agambye nti abatemu abawamba abawala ne babatta babafunzizza era gwe basembyeyo okukwata yabadde n’emirambo...

Whatsappimage20180524at20027pm 220x290

Abadde alimbalimba omuyizi wa S.4...

Emirimu gisannyaladde okumala akaseera mu ppaaka enkadde mu kibuga Kampala abagoba ba takisi abakolera ku siteegi...

Isabeti4 220x290

Yeemulugunyizza ku mutindo gwa...

OMUTEDENSI wa KIU Henry Kyobe akukkulumidde akakiiko akaddukanya omuzannyo gwa Beach Soccer olw’enzirukanya etamatiza...

Kasangati 220x290

Bawambye omuwala omulala e Kasangati...

ABAWAMBA abantu beesomye luno, bawambye omukazi omulala e Kasangati ne basaba obukadde 10, kyokka olubaweerezzaako...