TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Omugotteko gw’ebidduka gufiiriza buli Munnakampala ssente 1,381,968/- buli mwaka!

Omugotteko gw’ebidduka gufiiriza buli Munnakampala ssente 1,381,968/- buli mwaka!

By Herbert Musoke

Added 19th May 2018

BW’OBEERA oliko essaawa entongole z’olina okutuuka mu kifo kyonna mu Kampala n’emiriraano, olina okwewa waakiri essaawa bbiri ng’oli mu lugendo oba oli waakutuuka kikeerezi!

Trafficjam703422 703x422

Eno y’embeera eriwo mu kiseera kino olw’akalippagano k’ebidduka akasusse mu Kampala, Wakiso ne Mukono ng’olugendo lw’eddakiika 30 olutambulira essaawa ezisukka mu bbiri.

Luke Mukasa, ddereeva wa takisi ku siteegi ya Kireka-Bweyogerere agamba nti edda embeera eno yabeerangawo mu biseera by’oku makya ng’abantu bagenda ku mirimu n’olweggulo nga bannyuka naye leero tekikyaliko budde kuba ne mu ttuntu ku 7:00 era osobola okusanga akalippagano nga kasibye.

Ono agamba nti, kino ky’ekiviirako n’ebisale by’entambula okulinnya nga leero siteegi esooka ya 500/- ate mu biseera ky’ensindikagano zirinnya ne zeekubisaamu emirundi ng’esatu.

Okugeza okugenda e Nalukolongo, ku makya nga tewali kalippagano takisi za 500/- era mu ddakiika ezitawera 10 obeera otuuka gy’olaga, kyokka olweggulo nga zisooba busoobi zitwalira 1,500/- era nga kiyinza okukutwalira okusoba mu ssaawa nnamba okutuuka.

“Luli nga tusobola okutwala abasaabaze e Banda ku 500/- kuba nga bw’obala amafuta osigala ofunako, naye kati amafuta galinnye bbeeyi ate ng’oyokya mangi mu jaamu, obeera olina okwongeza ku bisale naawe osobole okufissaako.

Okugeza okuva mu Kampala okutuuka e Nakawa nga tezinnawera ssaawa 3:00 tutwalira 500/- ate okuva e Nakawa okudda mu Kampala ziba 1,000/-.

Okuva ku ssaawa 3:00 tutwalira 1,000/- okuva e Kampala, ate okuyingira ne tusala okudda ku 500/- ate bwe ziwera 11:00 ez’olweggulo tutwalira 1,500/-, Mukasa bw’agamba.

EBIREMEZZA OMUGOTTEKO KU NGUUDO ZA KAMPALA

Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago agamba nti ekisinze okusiba omugotteko mu Kampala kwe kubulawo enteekateeka ennung'amu egobererwa.

  • Kampala talina nteekateeka ya byantambula: Tuzze tulwana ku nsonga eno nga wadde Banka y’Ensi yonna yataddewo ssente okukola enteekateeka nnamutaayiika ey’ebyentambula (Multi-Model Transport Plan), naye enteekateeka ezizze zikolebwa zirekebwawo okuviira ddala ku yakolebwa mu 2009.
  • Kampala alimu enguudo eziweza kiromita 2,100 kyokka ku zino, kiromita 760 zokka ze za koolaasi, ezisigadde za ttaka.
  • Tewali kitongole kiteekerateekera kibuga: Minisita yaweebwa obuyinza okussaawo ekitongole kya Kampala Metropolitan Physical Planning Authority ekiriko abakugu bataano abalina obukugu obw’enjawulo kyokka okutuusa kati ekitongole kino tekissibwangawo kyokka nga kye kirina okuvunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala.

ENNEEYISA Y’ABAVUGA EBIDDUKA NKYAMU

Omwogezi w’ekitongole kya KCCA, Peter Kauju yagambye nti ebivaako akalippagano k’ebidduka mu Uganda bingi omuli enneeyisa y’oku nguudo n’embeera z’enguudo.

  • Akavuyo k’ebidduka: Kampala abulamu okutereeza okulambika ebidduka ebikozesebwa kuba mu kiseera kino tulinamu buli kimu omuli mmotoka ebika byonna okutandikira ku za buyonjo okutuuka mu bbaasi, pikipiki ez’ebika eby’enjawulo, obugaali, ebigaali, ab’obugaali n’abaliko obulemu. Bino byonna bireeta akavuyo k’entambula kuba tewali makubo malambike buli kika kya kidduka we kirina okuyita.
  • Obungi bw’emmotoka: Okunoonyereza kwe tukola ng’ekitongole kulaga nga Kampala alina ebidduka ebisoba mu 40,000 bye bitundu 60 ku 100 ebimuyingiramu buli lunaku.
    Enguudo eziriwo mu Kampala zaategekebwa nga zisobola okukozesebwa mmotoka ezitasukka 10,000. Mu mbeera eno ng’enguudo ntono ate ebidduka byeyongera obungi buli kiseera ate nga tetusobola kuzigaziya kuba tetusobola kumenya bizimbe by’abantu.
  • Obungi bw’abantu: Okubala abantu okwakaggwa kwalaga nga Kampala abeeramu abantu abasoba mu bukadde buna emisana ate abasulamu bali akakadde kamu n’emitwalo 90.
  • Obutassa kitiibwa mu mateeka ga bidduka: Mu Kampala mw’osisinkana ddereeva ng’asimbye mmotoka wakati mu luguudo asooke abeeko by’agula, okuggyamu omusaabaze, okunyumya ne ddereeva munne n’ebirala.

EBYOBUFUZI NABYO NKONGE NNENE

Ssentebe wa USAFI, Henry Mutibwa yagambye nti waliwo ebirala nga ebyobufuzi ebi sibye obuzibu buno mu kibuga.

Waliwo bannabyabufuzi abalemesa enteekateeka ezibeera zireeteddwa okukola ku bizibu bya Kampala.

Waliwo bannabyabufuzi mu KCCA naddala bakansala abasolooza ssente okuva mu takisi abasibye siteegi ez’ekimpatiira ku nguudo za Kampala nga ku Shoprite, ku lwa Nsambya, ku kibaati ky’omuzikiti n’awalala.

ENTEEKATEEKA ZA KCCA

Kauju yagambye nti enteekateeka za KCCA kuliko:

1 Okulongoosa n’okugaziya enguudo: Tumaze okulongoosa kiromita 200 okuva mu 2011 wadde nga tetunnaba kukola buli wamu we tulina okukola.

2 Ebitaala ku nguudo: Mu kiseera kino tumaze okussa ebitaala ku masang'anzira 20 mu Kampala nga bino bisobola okuyamba buli akozesa oluguudo.

Ku bino kuliko Fair way, Makerere, Nateete, Kira, Lugogo, Nakawa era nga tumaze okulanga okufuna bakontulakita okussa ebitaala ku masang'anzira amalala okuli Spear.
Tusuubira nti we tunaamalira tugenda kuba n’ebitaala 72 mu Kampala yenna.

3 Enguudo eziyita waggulu: Gavumenti ng’eyita mu kitongole ky’enguudo ekya Uganda National Roads Authority egenda kuyambako okukola enguudo zino okuli olwa Mukwano okugatta ku lw’e Jinja n’olulala ku Clock Tower.

4 Eggaali y’omukka: Tulina eggaali y’omukka etambuza abantu okuva e Kampala ku kitebe kyayo okutuuka e Namanve ng’eno etambuza abantu 3,000 buli lunaku era nga tusuubira nti abantu basobola okusimba mmotoka zaabwe e Namanve ne batambulira ku ggaali y’omukka okuyingira ekibuga.

Eno era tulina enteekateeka z’okugituusa e Luzira ne Kyengera. Tulina era enteekateeka z’okuleeta eggaali y’omukka entono egenda kuba ng’eyita mu kibuga.

5 Bbaasi: Twatandika dda ku nteekateeka y’okufuna bbaasi era nga waliwo kkampuni ezikola wabula twalanze okufuna kkampuni endala okulaba nga tusobola okufuna bbaasi eziwera kuba awandigenze takisi entono nga ttaano wasobola okugendawo bbaasi emu ate ng’etwala abantu abagenda mu takisi nnya.
Kino nakyo tusuubira nga kyakuyambako okukendeeza akavuyo mu Kampala.

6 Waaliwo n’enteekateeka okugaana lukululana okuyita mu kibuga mu biseera by’emisana kyokka olw’okuba zitambuza ebyamaguzi, wakyaliwo ebirina okukolebwa okulaba nga bannannyini byamuguzi bino basobola okubitikkula ekiro nga tebataataganyiziddwa.

UNRA EKOZE ENTEEKATEEKA EZINAAYAMBAKO

Mark Ssali, omwogezi w’ekitongole kya Uganda Nationa Road’s Authority (UNRA), yategeezezza nti waliwo enteekateeka ez’enjawulo ezireeteddwa okuyambako ku kalippagano omuli okuzimba enguudo empya n’okulongoosa eziriwo.

Express ways: Zino mwe muli Ntebe Express way esuubirwa okutandika okukola omwezi ogujja (June), okuzimbibwa kwa Kampala-Jinja Express way, Kampala - Bombo Express way ne Kibuye - Busega - Mpigi Express way wabula nga zino zaakusasulirwa.

Kampala Flyovers: Zino zigenda kukolebwa mu mitendera ebiri ng’esooka egenda kubeera ku Clock Tower ng’eno ekwatiramu oluguudo lwa Mukwano, Gaba ne Queens way. Eno esuubirwa okutandika mu June w’omwaka guno.

Okuggya obutale ku nguudo: Nga tuli wamu n’ebitongole eby’enjawulo okuli KCCA, poliisi n’abakulembeze b’ebitundu n’obutale bwennyini tutandise kaweefube w’okusengula obutale obubadde ku nguudo nga ku Kaleerwe, ku lw’e Ntebe nga buno tubuggyako okwongera okugaziya enguudo.

ABALALA KYE BO OGERAKU BULIPPAGANO

Ssentebe wa disitulikiti ya Wakiso, Matia Bwanika: Ekizibu ekiriwo gavumenti egaanyi okukola enguudo eziyita ebbali w’ebibuga okuyambako ku kutambuza mmotoka.

Enguudo ezisobola okuyambako okukendeeza obulippagano mu bitundu eby’enjawulo weeziri eziteetaaga na kuliyirira bantu kuba zaaliwo dda era ngazi bulungi ng’ekyetaagisa kuzikola zibeere ku mutindo okusobozesa abantu okuziyitako.

Ssente ze baakozesa okuliyirira abantu awaayita Ntebe Express Highway nga n’ezisinga zaaliibwa bakungu mu gavumenti abaakozesa olukujjukujju okufuna ebyapa, zaali zibamala bulungi okukola enguudo zonna mu Wakiso ekyandiyambye okuwewula ku bulippagano.

Abantu abasinga obungi ab’obuvunaanyizibwa mu Uganda okuli baminisita, n’ababaka ba Palamenti basula mu Wakiso kyokka bwe babeera mu Palamenti teboogera ku nsonga za Wakiso.

Ssinga embeera y’enguudo mu Wakiso erongoosebwa, omugotteko mu Kampala gujja kuggwaamu kuba tewali luguudo luyingira Kampala nga teruyita mu Wakiso.

Meeya wa munisipaali ya Kira Julius Mutebi:

Ekizibu ekiriwo KCCA bw’ekola ekolako kukoma waayo, wabula nabo beetaaga okutuula okulaba amakubo agasobola okuyambako n’okulaba engeri y’okugaggula.

Twetaaga okukolera ekitongole ky’okuteekerateekera eggwanga ‘National Planning Authority’, era tukolere wamu nakyo okuyambako okulambika amakubo agasobola okuyambako abantu okuyitamu batuuke gye balaga nga tebeesibye ku kkubo ddene.


Amakubo gano ffe twagalaga dda gavumenti kuba tuli kimu ku bitundu ebisenzeemu ennyo abantu kuba mu kiseera kino tulina abantu abasoba mu 400,000.

Twaniriza aba Banka y’Ensi yonna okutuwa ssente okuyambako okuzimba ebibuga byaffe.

Agamu ku makubo agayinza okuyamba okukendeeza omugotteko kuliko: Kinnawattaka okutandikira Jokas okuyita mu Namanve okutuukira ddala ku luguudo lwa Katosi e Mukono - Wantoni, Shell Kireka - Malindi - Muzikiti gwa UMEA okugatta ku Namugongo Road; Kiwologoma - Kimwaanyi okutuuka ku Gayaza; Kiwologoma - Kitukutwe - Kayaza, Welcome - Kamuli, Agenda - UNBS - Bweyogerere Industrial park; Kyaliwajjala ku lukadde okugwa e Kira.

Omumyuka wa ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Stephen Mufuwa:

Nga disitulikiti tulina enteekateeka z’okukola enguudo ezisobola okuyambako okukendeeza n’okumalawo omugotteko mu Mukono naddala mu bitundu bya Sseeta, Kigunga ne Mukono town.

Tulina enguudo ze twagala okukola omuli; Kirowooza - Namubiru - Jokaz; Kasaala - Bukeerere okutuuka ku lw’e Bugerere. Lino ly’ekkubo lyokka lye tutunuulidde okulwanyisa obulippagano.

Eggaali y’omukka okutuuka e Kyetume ne Southern Bypass okutuuka e Mukono nabyo byakwongera okuyambako okukendeeza obulippagano.

Kyokka byonna ebyogerwako okumalawo obulippagano byetaaga ssente okubikola ate nga zino gavumenti z’ekaaba nti tezirina. Ssente ze zikola ssente, era gavuenti bw’eneeba tennassa ssente mu kukola ebyo ebinaayamba okukendeeza omugotteko abantu baakwongera okufiirwa obulindo bwa ssente olw’obulippagano.

EKIBALO KY’OKUFIIRIZIBWA

Okutwalira awamu buli lunaku Munnakampala ayongezebwamu 500/- okusinga ku ze yandisasudde buli lugendo lwa mugotteko gwa bidduka, olwo amagenda n’amadda ne baba nga bamwongezzaamu 1,000/-.

Omwezi bw’aba agukozeeko ennaku 21 olwo n’afiirwa 21,000/- lwa mugotteko, omwaka ne ziba 252,000/-.

Kyokka ezo omukozi mu Kampala si ze ssente zokka z’afiirwa. Buli lunaku Munnakampala amala essaawa 2 mu mugotteko, ku makya era n’olweggulo era zino bw’ozigatta ze ssaawa nnya olunaku.

Munnayuganda bw’aba okutwalira awamu akola ssente 1,121/- buli ssaawa (Wage Indicator Survey 2012) kitegeeza nti, olunaku aba afiiriddwa 4,484/- ekitegeeza nti bw’aba omwezi agukolako ennaku 21 aba afiiriddwa 94,164/- ate omwaka n’aba ng’afiiriddwa 1,129,968/-. Zino bw’ozigatta ku ze yafiiriddwa mu bisale by’entambula olwo n’afiirwa 1,381,968/-

Zino asembayo okufiirwa ssente ento z’afiirwa naye abalala bafiirwa n’ezisingawo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bim1 220x290

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...