TOP

Jennifer Musisi anaazizzaako ab’e Luzira ennaku

By Hannington Nkalubo

Added 3rd June 2018

DAYIREKITA wa Kampala Jennifer Musisi Ssemakula yeerabizza abasibe mu kkomera e Luzira ennaku bw’abagabidde ebintu bya bukadde n’abatwalira n’abayimbi ne babakubira emiziki egibacamudde.

Jeni1 703x422

Jennifer Musisi n’ebintu bye baawadde abasibe.

Abayimbi okuli Mathius Walukagga ne David Mugema abaasasuddwa omusuubuzi Mohamed Ssebuwufu owa Pine naye eyali e Luzira, endongo yabasaanudde nga babayimbira obuyimba obubazzaamu amaanyi n’okubawa essuubi.

Omukolo gwabaddewo ku Lwokutaano mu Upper Prison nga gwetabiddwaako abakulu okuli kaminsona w’ekkomera Serestine Twesigye, akulira ebyokwerinda by’amakomera mu Kampala n’emiriraano, John Bosco Tumwebaze atwala ebyokwerinda by’ekkomera Moses Ssentalo, abakungu ba KCCA n’abakulira amakampuni ag’enjawulo omuli Movit, Harish International, ofi isi ya Katikkiro n’endala.

Jennifer n’abakungu be yabadde nabo baabalambuzza ekkomera, ekifo abasibe we bakolera ebibajje omuli entebe, ebitanda, ffi riigi ezikolebwa mu miti n’ebirala.

Oluvannyuma baalambudde ebibiina abasibe mwe basomera n’ekkomera ly’abakyala eno ng’abasibe bwe bayimba.

Oluvannyuma Walukagga ne David Mugema baayimbye ne bategeeza nti, Mohamed Ssebuwufu ye yabaweerezza basanyuse ku basibe kubanga naye ennaku y’ekkomera agimanyi.

 alukagga ngabiibya nabamu ku basibe Walukagga ng’abiibya n’abamu ku basibe.

 

Musisi yategeezezza abasibe nti embeera gye balimu si ya nkomerero wabula mitendera omuntu Katonda mw’amuyisa okumutuusa ku ddaala eddala era tebeekubagiza Katonda takola nsobi.

Yagambye nti yakolaganye n’emikwano gye okugula ebintu ebyo era agenda kweyongera okubasakira ebintu abatwaalire.

Yategeezezza nti Ssebuwufu yabagulidde ente gye baavuginyizzaako mu mizannyo egy’enjawulo, n’abagulira emigaati 1,000 era nti agenda kwongera okubaweereza obuyambi.

Atwala ebyokwerinda by’amakomera mu Kampala n’emiriraano, John Bosco Tumwebaze eyabadde ne kaminsona w’amakomera Serestine Twesigye n’atwala ebyokwerinda bya Luzira Moses Ssentalo baasabye abalina obusobozi abalala bongere okuyamba ekkomera. “Naffe abaserikale tulinga basibe kubanga abantu baatwerabira.

Ate ffe tuli bubi kubanga abasibe balina ebibonerezo ebigere era bwe binaggwaako nga baddayo naye ffe tuli wano. Tusaba mwongere okutulowoozaako kubanga embeera y’abantu baffe gye balimu teyawukana nnyo naffe” Tumwebaze bwe yagambye.

Abakulu b’ekkomera baasanyukidde ebyabaweereddwa omwabadde eppipa z’amazzi, ebidomola bya kasasiro, ssukaali, omuceere, emigaati, butto engoye n’ebitabo n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Osire1 220x290

Bakutte abadde yeeyita dokita n'abba...

POLIISI eriko omusajja gw'ekutte abadde yeeyita omusawo mu ddwaaliro lya Kawempe National Refferal Hospital. Kigambibwa...

Gamba1 220x290

Eddy Kenzo akomyewo ku butaka:...

Eddy Kenzo akomyewo ku butaka: Bamwanirizza nga muzira

Mukadde1xx 220x290

Asobeddwa kibuyaga bw'asudde ennyumba...

Nanfuka agamba nti ennyumba yagudde ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde mu nkuba eyatonnye ng’erimu ne kibuyaga

Bpmutebipix 220x290

Omulabirizi Lubowa akyalidde Mutebi...

E Bungereza yayaniriziddwa Abakristaayo ne Rev. Nathan Ntege. Mu maka ga Ntege Omulabirizi Mutebi ne mukyala we...

Tta 220x290

Poliisi erambuludde engeri gy'okufunamu...

OLUVANNYUMA lw’omugagga Ali Jabar okuyingira n’emmundu mu ddwaaliro lya Kampala Independent Hospital n’agikwasa...