TOP

Oluguudo lw’e Kasubi luwedde Musisi n’alabula

By Musasi wa Bukedde

Added 7th June 2018

OLUGUUDO lw’e Kasubi luwedde, dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi Ssemakula n’alabula akukangavvula abalucaafuwaza n’okuvugirako obubi.

Compo 703x422

Musisi (owookubiri ku ddyo) n’abakozi ba KCCA abalala nga balambula oluguudo.

Yategeezezza nti enguudo zikolebwa ku mutindo kyokka abatuuze ne bateekako kasasiro ate abavuzi b’ebidduka ne basimba mmotoka zaabwe ku bugulumu ne babwonoona bwatyo n’asaba abatuuze okulukuuma.

Ku Mmande yalulambudde ne bayinginiya ba KCCA n’ategeeza nti azzaako lw’e Namung’oona olutandikira ku katale k’e Kasubi okutuuka ku Northern Bypass.

Yagambye nti ekitundu ekiwedde kitandikira mu bitaala bya Bakuli, Nakulabye okutuuka e Kasubi.

Oluguudo balutaddeko amataala ga sola, luzimbiddwaako obugulumu ab’ebigere gye bayita, kuliko emyala eminene ate nga miwanvu egiyita mu ttaka okutambuza obulungi amazzi.

Yalabudde nti abatuuze bamanyi okucaafuwaza enguudo nga basuulako kasasiro naddala mu myala ne gizibikira, nti abanaakwatibwa baakuvunaanibwa era babonerezebwe.

Yategeezezza nti balutaddeko siteegi takisi we zisimba n’abasaabaze okulinnyira era tebaagala bantu bavugira waggulu ku bugulumu.

Yagambye nti waliwo ekiseera ekiweebwa kkampuni ekoze oluguudo okutereeza ebisangibwa nga tebiwedde bulungi era bagenda byonna kubikola abantu bavugireko nga tewali yeemulugunya.

Yagambye nti lwonna okuva e Bakuli okugenda e Namungoona lwandibadde luwedde naye ekitundu ekisigadde bagenda kusooka kusengula basuubuzi babatwale mu katale akalala.

“Twaguze ettaka erisoba mu yiika abasuubuzi b’e Kasubi we bagenda okusengukira.

Bonna twabawandiika era okuzimba nga kuwedde bagenda kuweebwa ebifo ebirungi we baba bakolera” Musisi bwe yagambye.

Yasiimye kkampuni ya China Railway Seventh Group erukoze ku mutindo. KCCA erina enguudo endala ezisoba mu mukaaga z’egenda okutandika okuli olw’e Lukuli n’emyala eminene okuli Nalukolongo, Lubigi, Nakamiro n’emirala.

KCCA ekoze enguudo ezisoba mu 10 mu myaka ebiri gyokka omuli olwa Makerere, Yusuf Lule, Bukoto, Mambule, Kafumbe Mukasa n’endala mu Lubaga ne Makindye. Zonna zimazeewo obuwumbi 100.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...