TOP

Poliisi ekutte n'eggalira abadde yeefuula omulema n'asabiriza

By Eria Luyimbazi

Added 26th June 2018

POLIISI ekutte omuvubuka abadde yeefuula omulema n'atuula ku mababbali g'oluguudo n'embalaza z'ebizimbe mu Kampala n'asabiriza.

Mpagi11 703x422

Mpagi ng'alaga omukono gw'abadde asibako ebiwero okulowoozesa abantu nti gwakikuggu olwo n'asabiriza ku nguudo abamukwatirwa ekisa ne bamuwa. EBIFAANANYI BYA ERIA LUYIMBAAZI

Shafik Bakulu Mpagi ye yakwatiddwa poliisi ya Mini Price oluvannyuma lw'okutemezebwako omuntu eyabadde amumanyi eyamulabye ng'ali Ku kizimbe kya Mukwano Arcade nga yeefudde masiikiini eyatemwako omukono.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emirirwano, Luke Owoyesigyire yagambye nti Mpagi abadde afuna ebiwero n'abisiba Ku mukono okulaga nti yatemwako ekibatu nga tasobola kweyimirizaawo.

Yagambye nti abasirikale bwe baatemezeddwaako baagenze butereevu ku Mukwano akeedi ne bakwata Mpagi ne bamulagira okusumulula omukono aguggyeko ebiwero ne bazuula nga tegulina buzibu bwonna .

Mpagi yagambye nti embeera y'okwebezaawo ebadde emukaluubiridde kwe kusalawo okwefuula omulema ng'asibye ebiwero ku mukonookuwuddiisa abantu nti mulema olwo bamuyambe!.

Yategezezza nti okwefuula omulema akikoledde okumala emyezi 3 nga buli lunaku abadde afuna emitwalo 2 n'okusingawo mu bifo gy'abadde atuula okusabiriza nga ku Equatorial  e Wandegeya be ku Mukwano arcade.

Mpagi omutuuze e Kisenyi mu Muzaana zooni yagguddwako omusango gw'okwefuula ky'atali oguli Ku fayiro SD 21/24/06/2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’