TOP

Poliisi ekutte emmundu ebadde ekozesebwa okutigomya ab'e Nansana

By Stuart Yiga

Added 6th July 2018

Poliisi kyaddaaki emaze n’ezuula emmundu ebadde akozesebwa okutigomya abatuuze b’e Nansana mu Wakiso.

Wano1 703x422

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza Bukedde nti, emmundu eyazuuliddwa yakika kya baasitoola.

Yagasseeko nti waliwo n’ebicupuli bya ssente ez’enjawulo zebaazudde wamu n’emmundu endala eyabadde enjingirire, omusajja eyategeerekese nga Henry  Zabron Bakerwa, 44, gy’abadde akozesa mu minsoni z’obubbi naddala mu bitundu byomu Lubigi, Ganda, n’awalala.

Poliisi egamba nti bazze bafuna okwemulugunya okuva mu batuuze olw’abantu ababadde batera okubateega ne bababbako ebintu byabwe  ku mudumu gw’emmundu.

Poliisi erudde ng’enoonyereza ku nsonga eno era yaggulawo ne fayiro ku namba  GEF 19/2018, okusobola okukwata bansanga bisibe ababadde beefudde mmo mu kutigomya abantu.

Poliisi yayazizza amaka ga Zabron agasangibwa e Gganda-Nansana, era nga eno gyeyasanze emmundu, ebicupuli bya ssente, saako ebyuma by’abadde akozesa okumenya amayumba g’abantu n’ababba.

Poliisi era yamusanze n’ekiwandiiko kwe yateebwa ku kakalu kayo oluvannyuma lw’okukwatibwa mu bubbi obulala.

 

 

Ekiwandiiko kiraga nti, yalina akabinja k’abantu abalala okuli; Bashir Twesigye, ne Godfrey Tusiime, be yali akola nabo obwakkondo, era nga fayiro y’omusango gwabwe yali  CRB: 658/2018.

“Okusinga mbadde mbaza abavuzi ba bodaboda n’abasaabaze be baba batwala naddala mu biseera by’amatumbi budde nga mbateege mu bitundu by'omu  Lubiji ne mbaggyako bye baba nabyo naye ng’okusinga ssente,” bw’atyo Zabron bwe yategeezezza Poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Basindise abakessi okwongera okuyigga musajja wa Gen. Kayihura eyabulira mu Algeria.Balooya ba Kitatta basobeddwa,...

Upa 220x290

‘Asooka okumalawo y’alya eya munne...’...

BASSENTEBE e Semuto-Nakaseke olwamaze okusabirwa ne badda mu kugabula abalonzi baabwe nabo abataalutumiddwa mwana...

Uni 220x290

Yiiii.... Maama gano mazina ki?...

OMUZIKI ogwabadde gusindogoma gwanyumidde abavubuka b’e Lukaya.

Beb1 220x290

Bebe Cool asoomoozezza bayimbi...

Bebe Cool asoomoozezza bayimbi banne; Ategese Concert ey'okuyamba abalwadde b'emitima

Sha 220x290

Sharitah avuddeyo gy’abadde yeekukumye...

SHARITAH Mazzi Mawanvu avuddeyo gy’abadde asirikidde n’agendako mu jjiimu n’okuwuga ndowooza akkakkanye ku situleesi...