TOP

Eyakwatiddwa ng’awamba omwana asindikiddwa Luzira

By Edward Luyimbazi

Added 6th July 2018

OMUSAJJA eyasimattuka okuttibwa abatuuze b’e Kinnawattaka oluvannyuma lw’okumusuubiriza okwagala okuwamba omwana asimbiddwa mu kkooti e Nakawa n’asomerwa omusango gw’okugezaako okuwamba omwana.

Weta 703x422

Lira (ku mpingu) ng’atwalibwa mu kkomera e Luzira okuva ku kkooti y’e Nakawa.

Leonard Lira 39, ow’e Mbuya yatwaliddwa mu maaso g’omulamuzi Noah Ssajjabbi owa kkooti y’e Nakawa n’amusomera omusango gw’okugezaako okuwamba Gloria Namuddu, 3, okuva mu maka ga bazadde be mu zooni ya Kaggo e Kinnawattaka.

Kigambibwa nti yaguzza nga June17, 2018 bwe yagezaako okuwamba omwana ono ku ssaawa 3:00 ez’oku makya.

Omusango yagwegaanyi era omulamuzi n’amugaana okweyimirirwa n’amusindika ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga July 12, 2018.

Nahija Nagawa maama w’omwana ono yalumirizza Lira okwagala okumutwalako omwana we n’agamba nti yali ku mulimu e Mbuya w’asiikira muwogo muliraanwa we n’ajja n’amutegeeza nga bw’alabye omusajja ng’asitudde omwana we agenda naye.

Agamba nti yadduka n’alengera omusajja ono n’amusaba omwana we kyokka nga yeeyongerayo bweyongezi wabula n’aseerera n’agwa awo abantu we baamukwatira ne bamukuba era yatwalibwa ku poliisi ng’atiiriika musaayi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Soma 220x290

‘Abaami mmwe mutabangula amaka’...

ABAKULEMBEZE n’abatuuze mu tawuni kanso y’e Luuka boolese obwennyamivu olw’omuwendo gw’amaka agasasika okweyongera...

Leo 220x290

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze...

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi...

Sevo1 220x290

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni...

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi,...

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...