TOP

Ssentebe ke yayise 'akalenzi' kamumezze n'enkoona n'enywa!

By Musasi wa Bukedde

Added 15th July 2018

Abadde ssentebe wa Kimwanyi zooni mu Katanga e Wandegeya, Hassan Wasswa Ssempala bwe yawulira nti Thomas Bagonza ow’emyaka 24, agenda kumuvuganya teyasooka kutya era mu kampeyini ye n’abenkambi ye babadde bakeeyitira “kalenzi”!

Faza 703x422

Thomas Bagonza ng’abalonzi bamusimbye mu mugongo. Mu katono ya'abadde ssentebe Wasswa eyanyoomye akalensi ne kamuwangula

Wabula akalulu kye kaakoze Wasswa alifa akirojja, “akalenzi” bwe kaamuwangudde n’atuuka n’okudduka mu layini ng’alaba layini y’akalenzi emuyiseeko bulala!

Layini ya Wasswa yabaddeko abantu batonotono era wadde baabadde babakugira okutunula emabega, embeera ey’olwogoolo eyabaddewo yamuwadde omukisa okulaba ekiri emabega era amangu ago n’ava ku layini n’agenda nga yeekokkola abantu b’agamba nti abakoledde nnyo okutebenkeza ekitundu ekyo n’okukitumbula, kyokka ne batagoberera busobozi nga basalawo anaabakulembera ekisanja kino.

Ssempala yabadde agenze mu kasaawe k’omu Katanga gye balondera ng’awaga ng’amanyi nti agenda kumegga “akalenzi,” bwe baatuuse okubasimba mu migongo yagenze okulaba ng’alina abantu batono n’ava mu lwokaano abawagizi be ne batandika okukola effujjo okulemesa okulonda.

Embeera eno yawalirizza abaabadde balondesa n’akulira poliisi y’e Wandegeya, Joseph Nsabimana okukyusa ekifo we balondera ne bakutwala mu kisaawe kya Rugby ku yunivasite e Makerere Ssempala gye yalangiriridde nga bw’avudde mu lwokaano ku lw’obulungi bw’ekyalo.

Wasswa yabadde avuganyiza ku kkaadi ya NRM ate Bagonza wa FDC. Wasswa y’abadde ssentebe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Museveni awabudde ku bakukusa ebyamaguzi...

PULEZIDENTI Museveni awabudde ebitongole by’omusolo ku lukalu lwa Africa ku byamaguzi ebikukusibwa. Abiwadde amagezi...

Genda 220x290

King Micheal ne Big Eye bagudde...

King Micheal ne Big Eye bagudde mu bintu. Pulezidenti Museveni abawadde buli omu ente 30.

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Tracitajpgweb 220x290

Gavumenti ewadde ab'e Kyotera ttulakita...

GAVUMENTI ng'eyita mu minisitule y'ebyobulimi n'obulunzi n'ekitongole kyayo ekya NAADS ewadde abalimi ab'enjawulo...