Bino byabaddewo ku Lwokutaano abaserikale okuva ku poliisi ya CPS bwe baawerekeddeko aba KCCA ne bagenda ku Good Shade mu Kikuubo we bafumbira emmere ne bakwata abakazi abafumbo KCCA b’erumiriza okukolerawo mu bukyamu wamu n’abantu abaabadde bagenzeeyo wabula ne balemwa okunnyonnyola kye baabadde bakolawo.
Poliisi yasoose n’eragira abaasangiddwaayo okwogera abatunda enjaga wabula ne bagaana kwe kusalawo bonna n’ebakwata ne batwalibwa ku kkooti ya City Hall.
Akulira ebikwekweto ku poliisi ya CPS, Ivan Nduhura yagambye nti okukola ekikwekweto ku Good Shade kyaddiridde okufuna amawulire ng’abamu ku bakazi n’abasiika chapati bwe bali emabega w’okutunda enjaga ssaako okubudamya abamenyi b’amateeka abeefuula nti bagenzeeyo kulya emmere.
“Tubadde n’ekizibu ku Good Shade nti wabaddewo abatundirawo enjaga n’esaasaanira ebitundu eby’enjawulo ng’abagitunda naddala abakazi babadde beerimbika mu kufumba emmere n’okusiika Chapati,” Nduhura bwe yategeezezza.
Yagambye nti poliisi b’esinze okukwata n’enjaga babadde n’akalandira ku Good Shade kwe kusalawo okukola ekikwekweto okubafuuza.
Abaserikale ba KCCA baakutte ebimu ku bintu ebyabadde bitundibwa wamu ne ssigiri abakazi kwe babadde bafumbira emmere.