TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Eyakukulidde omulambo g'omwana mu kibookisi asimattuse okugajambulwa abatuuze

Eyakukulidde omulambo g'omwana mu kibookisi asimattuse okugajambulwa abatuuze

By Edward Luyimbazi

Added 17th July 2018

OMUKAZI atunda amawulire mu katale k'e Nakawa awonye okugajambulwa abasubuuzi mu Katale kano oluvannyuma lw’omwana we ow'emyezi ebiri gw'abadde yaakazaala okumufaako n'amukweka omulambo mu kibookisi w'akolera .

Whatsappimage20180717at120931pm 703x422

Poliisi ng'etaasa Nakaweezi ku basuubuzi

OMUKAZI atunda amawulire mu katale k'e Nakawa  awonye okugajambulwa abasubuuzi mu Katale kano oluvannyuma  lw’omwana  we  ow'emyezi ebiri  gw'abadde yaakazaala okumufaako n'amukweka omulambo mu kibookisi w'akolera .

Swabra Nakaweesi  omutuuze w'e Kasokoso e Kira ng'atunda mawulire  n'emigaati ku Ttaawo ly'akatale  k'e Nakawa  y'awonye  okugajambulwa abasubuuzi mu katale kano  lwa kukweka mulambo gwa mwana we mu kibookisi.

Peter Balwane, ssentebe wa Byatika – Kyakala zooni mu katale kano agambye  nti waliwo abasubuuzi banne abamutuukiridde ne bamutegeeza nga  Nakaweesi bwe batakyamulaba na mwana akyali omuwere kyokka bawulira ekivundu w'akolera.

Kino kyawalirizza Balwane okukebera  ekibookisi  ekiri okumpi ne Nakaweesi w'akolera n'azuula   nga munda mulimu  omulambo  gw'omwana abakkiddwa mu kibookisi  nga gutandise  n'okuvunda  kwe kukunya Nakaweesi wa gye yatadde omwana kyokka n'agaana okwogera.

Ensonga bazitutte ku  poliisi e Nakawa kyokka bagenze okudda nga Nakaweesi adduse.

 

Margret  Nakiyingi nga musubuuzi mu katale kano agambye nti   Nakaweesi abadde anywa  nnyo  omwenge  nga kirabika  yali atamidde   omwana  n'amuvaako n'agwa  ku ttaka kyokka n'atya  okutegeezaako basubuuzi banne   okumuyamba.

Avumiridde ekikolwa kya mukyala  munnaabwe  okusalawo okukweka  omulamba gw'omwana we  mu kibookisi  n'aguleka guvundire  ku mulimu wennyini w'akolera.

John Bosco  Mwanje  nga naye  musubuuzi mu katale kano  ng'akolera kumpi ne Nakaweesi w'atundira amawulire agambye  nti  wiiki ewedde omukyala  ono yali asitudde   omwana  ono   nga yena atamidde  n'amuva mu ngalo  n'agwa wansi  era n'afuna ekiwundu ekyamaanyi ku mutwe.

Agambye nti kirabika ekiwundu kino  kye kyavaako   omwana  ono okufa n'atya  okutegeeza ku banne.

Poliisi ebadde ekyekebejja  omulambo gw’omwana  ono newabaawo abasubuuzi abazze bakunguza  Nakaweesi ng'eno bwe bamuyisaamu empi kyokka abaserikale ne bamubaggyako n'atwalibwa n'omulambo gw'omwana we ku kabangali ya Poliisi e  Mulago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali...

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali ku lulimi oluganda

Hib2 220x290

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi...

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi

Kab2 220x290

Desabre ayogeeyoge kati tulinze...

Desabre ayogeeyoge kati tulinze kawoowo

Deb2 220x290

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo...

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo ogunneetoolodde

Kat2 220x290

Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi...

Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi weekwate ekirungo kya ‘INTRACO