TOP

Abakozesa obubi enguudo baakuvunaanibwa - Jennifer Musisi

By Hannington Nkalubo

Added 24th July 2018

ENGUUDO 10 ezibadde zikolebwa KCCA ku ssente za Gavumenti eya wakati ziwedde, dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi Ssemakula n’alabula abazikozesa okwewala okumenya amateeka kubanga anaakwatibwa bajja kumukangavvula.

Jeniffer 703x422

Jennifer Musisis ( ku ddyo) ng’alambula enguudo ezaakoleddwa.

Enguudo zino kuliko olwa Ssemugooma mu Kisenyi, Mpaabaana, Nakivubo Road, Mutebi Road, Archer road, enguudo ezeetooloola paaka ya USAFI, olwa Kisenyi n’olugatta ku Bombo Road.

Musisi eyabadde ne yinginiya Andrew Kitaka, akulira okutegekera ekibuga Moses Atwine n’abakozi ba KCCA eggulo baalambudde nguudo zino ne beebaza kkampuni ezizikoze ne babasaba okumaliriza ebitundu ebitannaba kuggwa.

Abasuubuzi baamusiimye ne bamwebaza okubawonya enfunfu era ne bamusaba okuzissaako amataala. Musisi yabasuubizza okussa amataala ku nguudo zino.

Yeebazizza abakulaakulanyizza Kisenyi okutuuka ku ddaala kw’ali naddala abazimbye ppaaka za takisi ne bbaasi.

Yalabudde bannakamapala abatandikiddewo okuzisuulako kasasiro, okuzikolerako n’okuzigyamawaza okukikomya.

N’agamba nti KCCA ekyagenda mu maaso n’okukola enguudo endala okuli olwa Jaguar oluva ku ppaaka ya Kisenyi Bus Terminal ne luyita awaali essomero lya Nabagereka.

Yagambye nti enguudo zino ze zibadde zisibye pulojekiti y’oluguudo lwa Namirembe road okutandika, n’agamba nti okuva bwe ziwedde bagenda kulutandika omwezi ogujja.

Lugenda kutandikira wa Bakuli ku bitaala okutuuka ku Entebbe Road.

Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju oluvannyuma lw’okulambula yategeezezza nti obuwumbi 29 bwaweebwaayo Gavumenti ya wakati. Kkampuni okuli Sterling ne Energo ze zikoze enguudo zino .

Yagambye nti babadde baayimiriza okukola olwa Namirembe Road nga baagala enguudo endala ezigenda okukozesebwa zisooke zimalirizibwe.

“Enguudo ezigenda okusinga okukozesebwa ng’oluguudo lwa Namirembe road luggaddwa kuliko olwa Ssemugooma, Jaguar, Mutebi, Luzige ne Mpaabaana n’eziyita ewa Kisekka.

Kkampuni ya Sterling yakwasibwa omulimu gw’okukola oluguudo luno ku buwumbi 23 . Abamu ku baddereeva naddala abakolera mu ppaaka ya takisi eya Namirembe Road basabye KCCA ebayambe ebakolere akaguudo akayita emabega wa Centenary Bank n’okukka ku Uhuru eya Nakivubo okubataasa ku kavuyo akayinza okubeerawo nga olwa Namirembe luggaddwa nga batandise okulukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta