TOP

KCCA efunye buwumbi okukola ppaaka enkadde

By Hannington Nkalubo

Added 28th July 2018

ABAKOLERA mu ppaaka Enkadde bali mu kutya oluvannyuma lwa KCCA okubalaalika nga bw’egenda okutandika okuzimba ppaaka era ebasengule okutuusa nga ppaaka emaliriziddwa.

Ki1703422 703x422

KCCA yaweereddwa ssente obuwumbi buna n’obukadde 340 ezimbe ppaaka ya takisi enkadde era okugikola kutandika ku nkomerero y’omwaka guno.

Gavumenti ya Netherland y’egiwadde ssente zino era endagaano zaakoleddwa ku Lwokuna wakati wa dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi Ssemakula n’abakungu okuva mu Gavumenti ya e Netherland.

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa KCCA, kiraze nti ebadde eruddewo okukola ku ppaaka eno lwa bbula lya ssente. Kiraze nti kati ssente zifuniddwa era emitendera eginoonya kkampuni egenda okuzimba gigenda kutandika.

“Nga byonna biwedde, kkampuni eteekwa okukolera ebbanga lya myezi 18 gyokka nga ppaaka ewedde era omulimu gutandika ku nkomerero y’omwaka guno,” ekiwandiiko bwe kisoma.

Gye buvuddeko KCCA yafulumya pulaani kw’egenda okuzimbira ppaaka eno ng’ egenda kwetooloolwa bizimbe ebiwanvu.

Omwogezi wa KCCA, Peter Kaujju yategeezezza nti paaka egenda kuba ya myaliiro egiwera ng’ezimu ku takisi zisimba waggulu ate endala wansi .

Yagambye nti abagenda okusinga okufuna mu kuzimba ppaaka eno baddereeva ba takisi ne bakondakita.

Yategeezezza nti abakola obusuubuzi bonna n’abatunda ebyokulya n’okunywa nabo bagenda kuyambibwa nnyo kubanga bagenda kugissaako ebintu ebyomulembe okulaba nga bakolera mu mbeera ennungi. Kyokka omu ku bakulira abatembeeyi; Uwineza Kalera yategeezezza nti KCCA yafuuka kiguumaaza.

“ KCCA by’esuubiza okukola ate bwe kituuka ku kubissa mu nkola ekola birala.  Yatusuubiza ku ppaaka empya nti egenda kugizimba ku ddaala erya waggulu ne takisi nnyingi zigendemu kyokka kati bw’ogituukamu byawukana ku bye yayogera ate nga nsuubira nti ne ssente ze bakozesa nnyingi okusinga ku mulimu gwe baba bagamba okukola,” Kalera bwe yagambye.

N’ategeeza nti baagala ssente ezibaweebwa zirondoolwe ate tebaddamu kugoba bantu bakolera mu kifo nti bakikulaakulanya kubanga bagizimbira bantu.

KCCA okufuna ssente yasooka kukkiriziganya n’abagagga abaali baagula poloti ezigyetoolodde ne bakola nayo endagaano empya eraga nti olutalo luweddewo era beegasse bagenda kuzimbira wamu. Abamu ku bakulira kkampuni zino baategeeza nti balindiridde KCCA eyanjule enteekateeka yaayo nabo oluvannyuma kwe bagenda okukolera.

KCCA yalaze nti ppaaka eno engeri gy’eri wakati mu kibuga , ekola nga entabiro lya Bannakampala era buli lunaku eyamba abantu abasoba mu 200,000. KCCA yalaze nti oluvannyuma lwa ppaaka eno, ekitundu kyonna mw’eri kigenda kukyuka nga kigendera ku pulaani ya ppaaka enkadde gye bagenda okuzimba.

Kaujju yategeezezza nti enguudo zonna n’emiryango bagenda kubikola nga bya mulembe n’enfuufu ebadde etawaanya abasaabaze byonna kati bigenda kufumwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gab1 220x290

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku...

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku lwomukaaga atadde bazadde be ku bunkenke

Man2 220x290

Ebireetera omusajja okusuulawo...

Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

Deb1 220x290

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’...

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’ n’egiremeramu

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina