TOP

KCCA etandise enkola y'emirimu gy'emikono mu masomero

By Musasi wa Bukedde

Added 13th August 2018

EKITONGOLE ky’eby’engiriza mu KCCA kigungizzaawo enkola ya buli Ssomero lya Gavumenti mu Kampala n’emiriraano okubeera n’essomo ery’eby’emikono okukendeeza ku bbula ly’emirimu mu bavubuka nga beetoderawo emirimu okusinga okudda ku nguudo nga banoonya emirimu.

Abayizingabalagaennonizebakoze 703x422

Abayizi nga balaga ennoni ze bakola

Bya GERALD KIKULWE 

EKITONGOLE  ky’eby’engiriza mu KCCA kigungizzaawo enkola ya buli Ssomero lya Gavumenti  mu Kampala n’emiriraano okubeera n’essomo ery’eby’emikono okukendeeza ku bbula ly’emirimu mu bavubuka nga beetoderawo emirimu okusinga okudda ku nguudo nga banoonya emirimu.

Enkola eno emaze ebbanga ng’ezesebwa ku  Ssomero abayizi mwe babadde bayigira ebintu eby’enjawulo ng’okukola ennoni z’essomero, emisubbaawa, Ssabbuuni w’amazzi, ebimuli by’okumikolo n’okutimba, okukola ebitabo, ebizigo, eby’obulimi n’obulunzi, enkwata ya ssente n’ebirala bingi era nga kati enkola eno yaakusaasaana mu buli Ssomero lya KCCA.

Juliet Nalule Namuddu akulira eby’enjigiriza mu KCCA bwe yabadde atongoza enkola eno yalaze obwennyamivu eri omuwendo ogweyongera  mu baana abafuluma Yunivasite buli mwaka nga tebalina mulimu gwe basobola kwekolera oba kwetandikirawo n’emikono gyabwe wabula ne badda mu bumenyi bw’amateeka n’okuvumirira Gavumenti nga bw’etabayambye.

Yakuutidde abayizi okufaayo ennyo eri ebibasomesebwa kuba ku nkomerero be bagenda okuganyulwamu  ate n’akuutira abazadde okutwala abaana baabwe mu masomero agagenda okugasa omuyizi so ssi agagenderera okunuununta ssente mu bazadde naye ng’abasomi tebalina lya Queen of Peace Primary School e Lubaga, kye baganyuddwaamu.

“Teri musingi gusinga buwangaazi ng’ogwo oguzimbiddwa n’amagezi ag’ekika ekyawaggulu, bwe tuba tunaacuusa omulembe gw’okunoonya emirimu, tulina kubangula bayizi baffe n’obukugu mu mirimu gy’emikono, enkola eno kati yaabuwaze eri buli ssomero lya KCCA ,” Namuddu bwe yategeezezza.

Sr.Prisilla Nalule omukulu w’essomero lya Queen of Peace Primary School e Lubaga, yasanyukidde nnyo enkola eno kuba abayizi mu ssomero lino ate babanguse mu bintu bingi ekyongedde essuubi nti  tebagenda kulemererwa kwetandikirawo mirimu ate n’okufuuka ekyokulabirako eri abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bus1 220x290

Cranes egudde mu bintu

Cranes egudde mu bintu

Jip1 220x290

She Cranes etandise okutendekebwa...

She Cranes etandise okutendekebwa

Lib2 220x290

Omwana omulala afiiridde mu muliro...

Omwana omulala afiiridde mu muliro e Katwe

Kat2 220x290

Katikkiro Mayiga agumizza abantu...

Katikkiro Mayiga agumizza abantu ku nsonga y'Amasiro

Kabakamutebiii 220x290

Kabaka akoze enkyukakyuka mu kabineeti...

Kabaka akoze enkyukakyuka mu kabineeti y'e Mengo.