TOP

OC alemedde mu ofiisi

By Musasi wa Bukedde

Added 31st August 2018

AB’OKU Kaleerwe batabuddwa ku ani mutuufu akulira poliisi y’omu kitundu kyabwe. Kino kiddiridde OC abaddewo okukyusibwa bakama be n’alemera mu ofiisi ng’ate batumyeyo n’omulala.

Tutu 703x422

OC Dennis Angor ne ASP Wakisadah

Poliisi y’oku Kaleerwe emanyiddwa nga ku kabaawo olw’okuzimbibwa mu mbaawo, y’etwala omuluka gwa Makerere I, Makerere III, Mulago n’ebitundu bya Kyebando.

Dennis Angor yakyusiddwa ne bamulagira okugenda ku CPS mu Alert Squad olwo ekifo kye ne bakitumamu ASP Yakubu Wakisadah eyeeyanjudde wiiki ewedde wabula nga mu kiseera kino asiiba wabweru, talina ofiisi.

Mwe yanditudde, Angor agiremeddemu. Okukyusibwa kwa Angor kwaddiridde abatuuze okumwemulugunyako olw’enkola ye ey’emirimu.

Ensonda ku poliisi ye Wandegeya etwala ey’oku Kaleerwe zaategeezezza nti Angor ng’amaze okufuna obubaka ku ssimu ye obumulagira okuva mu poliisi y’oku kaleerwe agende akolere ku CPS mu Alert Squad, yaddukidde ku kitebe kya poliisi ekikulu n’abaako abakulu b’ayogera nabo n’ekyaddiridde kulemera mu ofiisi.

Wasswa Mukisa, omutuuze mu Mini triangle yategeezezza nti abaserikale bangi abazze bakolera ku Kaleerwe baggyibwawo tebaagala olw’ensonga ezitali zimu.

Yagasseeko nti mu kiseera kino abakulira poliisi y’oku Kaleerwe bali babiri ng’abatuuze batabuddwa ani gwe balina okukolagana naye omutuufu.

“Tusaba abakulira poliisi mu ggwanga batuyambe batubuulire ani atwala poliisi y’oku Kaleerwe kuba kati tetumanyi kiddako. Ensonga bagiraba ng’ennafu naye esobola okuvaako ebizibu ebirala,” Mukisa bwe yategeezezza.

RPC AYOGEDDE

Aduumira poliisi ya Kampala North, RPC Nganizi yategeezezza Bukedde ku ssimu nti kituufu Angor yakyusiddwa era eky’okulemera mu ofiisi baakitegeddeko. Yagumizza abatuuze nti kigenda kugonjoolwa mu bwangu.

N’akakasa nti Yakubu Wakisadah y’akulira poliisi y’oku Kaleerwe era n’alabula Angor okwamuka ekifo kino mu bwangu.

 

 

 

 

AB’OKU Kaleerwe
batabuddwa ku ani mutuufu
akulira poliisi y’omu
kitundu kyabwe.
Kino kiddiridde OC
abaddewo okukyusibwa
bakama be n’alemera mu
ofiisi ng’ate batumyeyo
n’omulala.
Poliisi y’oku Kaleerwe
emanyiddwa nga ku kabaawo
olw’okuzimbibwa mu
mbaawo, y’etwala omuluka
gwa Makerere I, Makerere
III, Mulago n’ebitundu bya
Kyebando.
Dennis Angor yakyusiddwa
ne bamulagira
okugenda ku CPS mu Alert
Squad olwo ekifo kye ne
bakitumamu ASP Yakubu
Wakisadah eyeeyanjudde
wiiki ewedde wabula nga
mu kiseera kino asiiba
wabweru, talina ofiisi.
Mwe yanditudde, Angor
agiremeddemu.
Okukyusibwa kwa Angor
kwaddiridde abatuuze
okumwemulugunyako
olw’enkola ye ey’emirimu.
Ensonda ku poliisi ye
Wandegeya etwala ey’oku
Kaleerwe zaategeezezza nti
Angor ng’amaze okufuna
obubaka ku ssimu
ye obumulagira okuva
mu poliisi y’oku kaleerwe
agende akolere ku CPS
mu Alert Squad, yaddukidde
ku kitebe kya
poliisi ekikulu n’abaako
abakulu b’ayogera nabo
n’ekyaddiridde kulemera
mu ofiisi.
Wasswa Mukisa, omutuuze
mu Mini triangle
yategeezezza nti abaserikale
bangi abazze bakolera
ku Kaleerwe baggyibwawo
tebaagala olw’ensonga
ezitali zimu.
Yagasseeko nti mu kiseera
kino abakulira poliisi
y’oku Kaleerwe bali babiri
ng’abatuuze batabuddwa
ani gwe balina okukolagana
naye omutuufu.
“Tusaba abakulira poliisi
mu ggwanga batuyambe
batubuulire ani atwala
poliisi y’oku Kaleerwe
kuba kati tetumanyi kiddako.
Ensonga bagiraba
ng’ennafu naye esobola
okuvaako ebizibu ebirala,”
Mukisa bwe yategeezezza.
RPC AYOGEDDE
Aduumira poliisi ya
Kampala North, RPC
Nganizi yategeezezza Bukedde
ku ssimu nti kituufu
Angor yakyusiddwa era
eky’okulemera mu ofiisi
baakitegeddeko.
Yagumizza abatuuze
nti kigenda kugonjoolwa
mu bwangu. N’akakasa
nti Yakubu Wakisadah
y’akulira poliisi y’oku
Kaleerwe era n’alabula Angor
okwamuka ekifo kino
mu bwangu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...

Newsengalogob 220x290

Lwaki abasajja abamu tebaagala...

LWAKI abasajja abamu tebaagala bakazi oba muwala aliko embuzi?

Lovelies 220x290

Ebisoomooza ku mitendera egy’enjawulo...

ABAMU basala magezi ga kubuvaamu, sso ng’oyo atannabufuna asiiba asaba n’okwegayirira Lugaba amufunire omutuufu....