TOP

Bannakenya batenderezza enteekateeka ya takisi kuno

By Hannington Nkalubo

Added 31st August 2018

ABAVUNAANYIZIBWA ku takisi e Kenya bakyadde mu Uganda okulaba engeri gy’eddukanyizibwamu mu Kampala ne beewuunya enteekateeka yaakuno olw’omutindo gw’etuuseeko. Bazzeeyo bagamba nti bo baasigalira mabega.

Wata 703x422

Aba KOTSA nga balambuza ppaaka abaavudde e Kenya.

Baalambudde ppaaka za takisi empya n’enkadde nga babalaga obukulembeze bwa baddereeva ku siteegi okuva wansi okutuukira ddala waggulu mu kibiina kya KOTSA.

Baalagiddwa engeri baddereeva gye baterekamu ssente n’okwewola mu nkola ya SACCO nga bino byonna babikola ku bwabwe.

Bannakenya baategeezezza nti bo baasigala dda emabega ne basaba aba Kampala Operational Taxi Stages Association (KOTSA) bagende babasomese. “Mu Kenya buli kintu kya Gavumenti.

Tetulina nkola ya SACCO ya baddereeva ne bakondakita. Tewali bukulembeze kuva wansi buyamba kukulaakulanya baddereeva,” Henry Nyambuto Ssaabawandiisi wa Public Transport Operators Union (PUTON) bwe yagambye.

Baasoose mu lukiiko olwatudde mu ofiisi ya KOTSA ku Nalubwama akeedi.

Lwakubiriziddwa omumyuka wa ssentebe Stephen Kidde ne Rashid Ssekindi nga lwetabiddwaamu Grace Luyera, Abbey Luwagga, Hood Walakira, Ssaalongo Lawrance Mutebi, Faisal Lule, Kalid Bbaale, Moses Birungi, Aisha Nanteza n’atwala siteegi y’e Masaka mu ppaaka empya.

Stephen Kidde yalaze engeri aba takisi gye basobodde okutumbula omulimu gwabwe n’okugukuuma.

“Fffe twekulembera mu kibiina kyaffe ekya KOTSA, twekulaakulanya mu nkola ya SACCO, tulina obukulembeze bwa baddereeva ne bakondakita okuva wansi ku siteegi okutuuka waggulu,” Kidde bwe yannyonnyodde abagenyi baabwe.

Yategeezezza nti kumpi buli siteegi eriko SACCO kyokka nga waggulu bafugibwa SACCO ey’oku ntikko eyitibwa Amalgamated Transport and General Workers Union (ATGWU[U].

Ssekindi ne Luyera baategeezezza nti enkola y’okuyamba n’okusitula baddereeva ebayambye era esaana ekozesebwe mu mawanga ga East Afrika gonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cardinal 220x290

Kalidinaali Wamala ayogedde ku...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala ayogedde ku mbeera y’obulamu bwe n’ategeeza nti, talina kimuluma kyonna okuggyako obukadde....

Pala 220x290

Omukazi yabaliga n’antamya omukwano...

NZE Moses Muyingo, mbeera Busega 24 nga nzaalibwa Gwanika Kitooro mu disitulikiti y’e Mubende. Nasisinkana mwanamuwala...

Klopp 220x290

Klopp tayagala kwogera ku Messi...

Wabula mu Barcelona, mwe muzannyira Messi, afuuse omuteego sizoni eno nga yaakateeba ggoolo 10 mu mpaka zino era...

Kazibwe22 220x290

Mpulira bubi omusango gwange obutawulirwa...

Omulamuzi yagambye nti omuwaabi wa Gavumenti yabadde tazze kubanga yeetabye mu kusabira omwoyo gwa Joan Kagezi....

Omubakaibrahimssemujjungandangalinnew 220x290

Temuyingiza byabufuzi mu bibiina...

Yabasabye bakozese bulungi ebiseera bye balina nga banoonya ssente ez’okwekulaakulanya baleme kuyingiza byabufuzi...