Ebbago lino erituumiddwa ‘National Environment Bill, 2017’ liri mu kakiiko ka palamenti ak’obutonde bw’ensi.
Omuntu yenna anaasingibwa ogw’okumansa kasasiro ajja kusibwa emyaka kkumi oba okutanga emitwalo 60.
Omumyuka w’akulira ekitongole kya NEMA, Christine Akello, yagambye nti ebbago bwe linaayisibwa anaasingibwa omusango gw’okumansa kasasiro bakulagirwa okuyonjawo,okusibwa emyaka kkumi oba okuwa engassi.
Bino yabyogeredde ku Hotel Protea mu Kampala mu lukung’ana lw’okulwanyisa okumansa kasasiro olw’amawanga g’obuvanjuba bwa Africa.Ebbago lino ligendereddwaamu okulwanyisa abatyoboola obutonde bw’ensi, obutamala gasuula bintu bya bulabe buli wamu n’okukuuma obutonde naddala olw’obuzibu obuyinza okuva mu by’okusima amafuta.
Gavumenti egenda kussaawo kkooti ewozesa abatyoboola obutonde bw’ensi.
Obedi Lutakome, akulira eby’okubuyonjo mu Kampala yagambye nti kasasiro akung’anyizibwa KCCA yeyongedde ensangi zino.
Ate omumyuka ssentebe w’akakiiko ka palamenti ak’obutonde bw’ensi Lawrence Songa, yasabye gavumenti eyongere ssente mu by’okukuuma obutonde bw’ensi.