TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Jennifer Musisi awangudde omudaali gw’okukulaakulanya ekibuga Kampala

Jennifer Musisi awangudde omudaali gw’okukulaakulanya ekibuga Kampala

By Musasi wa Bukedde

Added 12th September 2018

JENNIFER Musisi, akulira ekitongole kya KCCA, awangudde engule y’abakulembeze abakyala mu bitongole eby’enjawulo ku lukalu lwa Afrika.

Dmgkjslx0aabyxt 703x422

Musisi ng'alaga engule gye yawangudde

Engule eno eweebwa abakyala abakoze obulungi mu bitongole bye bakulembera okukyusa embeera z’abantu n’ebibuga, era egabibwa buli mwaka.

Omukolo gwabadde mu kibuga Abuja ekya Nigeria era batunuulira abakyala abali mu bifo by’obukulembeze okuva mu mawanga ag’enjawulo ne balondamu abo abasukkulumye ku bannaabwe mu kusitula embeera z’abantu n’okukulaakulanya ebibuga mu ngeri ey’enjawulo.

Musisi agamba nti okukolera awamu mu kitongole kya KCCA n’okuyambibwa okuva mu Gavumenti kye kimu ku bimusobozesa okutuuka ku buwanguzi buno.

“Enguudo ezikoleddwa n’ezo eziri mu kukolebwa mu Kampala zoongedde okukyusa n’okwanguyiza Bannakampala obulamu nga bino byonna bituukiddwaako olw’enkolagana ennungi eriwo mu bakozi ba KCCA wamu ne Gavumenti,” Musisi bwe yagambye.

Yagambye nti KCCA kati eri mu kukola myala mu Kampala okulwanyisa okwanjala kw’amazzi, ekimu ku bizibu bya Bannakampala.

Musisi okuyingira mu KCCA yava mu kitongole kya musolo ekya URA oluvannyuma ne yeekozeseaako ng’ali mu bizinensi y’okufumba keeki ate gye yava n’aweebwa ekifo kino.

Doris Akol, akulira URA naye yaweereddwa engule y’obukulembeze obulungi ku lukalu lwa Afrika.

alt=''
alt=''

 Musisi ng'alaga engule gye yawangudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...