TOP

Ekivvulu kya Kampala City Festival kisaziddwaamu

By Hannington Nkalubo

Added 13th September 2018

EKIVVULU kya Kampala City Festival ekibadde kitegekebwa KCCA buli mwaka mu nguudo za Kampala ekibadde eky’okubeerawo nga October 5 okutuuka nga October 8 kisaziddwaamu, Dayirekita wa Kampala Jennifer Musisi Ssemakula n’ategeeza nti ssente zonna bagenda kuzissa ku masomero agali mu mbeera embi.

Yamba 703x422

Enteekateeka z’okukitegeka zibadde mu ggiya nnene nga KCCA etandise n’okufuna ssente okuva mu bantu n’amakampuni.

Eggulo, Jennifer Musisi yategeezezza nti, okukisazaamu baakikoze okuyamba ku masomero ga UPE agali mu mbeera embi naddala ago agakyaliko amabaati ga Asbestos.

Yagambye nti, bagenda kuyamba amasomero mukaaga agakyaliko amabaati ga Asbestos.

“Twetaaga bbiriyooni emu n’obukadde 900 okuddaabiriza amasomero gaffe mukaaga era kkampuni ezibadde zituwa ssente mu kivvulu tugenda kuzisaba tuzisse ku masomero gaffe,” Musisi bwe yagambye.

Yategeezezza nti ekivvulu kya Kampala City Festival kimanyiddwa nti kye kikyasinze mu ggwanga lyonna okutegekebwa ku mutindo n’okunyumira bannakampala naye eky’omwaka guno bakiyimirizza lwa mbeera ya masomero eteri nnungi gye baagala okusitula.

Abakulira kkampuni ez’enjawulo ezibadde zissaamu ssente okuli City Oil n’endala ziwagidde Jennifer Musisi ne bagamba nti n’ensonga y’okuyamba abayizi b’eggwanga ntuufu era tebagenda kuddiriza kubawa buyambi bwa ssente.

Yategeezezza nti, ensimbi ezibadde zisoba mu bukadde 350 babadde bamaze okuzifuna kyokka abasuubuzi abaasasulira edda emidaala nga tebaagala kuyamba masomero bagende babaddize ssente zaabwe.

Musisi yagambye nti, basazizzaamu kya mwaka guno kyokka naye oguddako kigenda kubeerayo era abantu bakirindirire n’essanyu.

ABANTU ABAMU TEBAMATIDDE

Kyokka abantu abamu tebamatidde nsonga ziweereddwa Jennifer Musisi ku kusazaamu kivvulu kino kubanga amasomero agagenda okuyambibwa era babadde bagayamba.

Abamu baakitadde ku byabufuzi ebigenda mu maaso mu Kampala naddala ebibinja by’abavubuka ba ‘People Power’ abayinza okukola effujjo.

Abalala bakitadde ku kivvulu ekyaggwa omwaka oguwedde ekyalimu omuyimbi Diamond Platinum ekigambibwa nti kyatwala ssente nnyingi.

Kyokka Jennifer Musisi, yategeezezza nti tewali nsonga yonna okuggyako KCCA okwagala okuyamba amasomero n’amalwaliro okulaba nti abaana basomera mu bibiina ebirungi era bagenda kuzimba ne Waadi y’abakyala abazaala 400 ku ddwaaliro lya Kiswa Health Centre.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa

Deb2 220x290

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero...

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai