TOP
  • Home
  • Ono ye kampala
  • Ssaabalamuzi Katureebe asabya Gav't okussa ekitiibwa mu mirimu gy'essiga eddamuzi

Ssaabalamuzi Katureebe asabya Gav't okussa ekitiibwa mu mirimu gy'essiga eddamuzi

By Eria Luyimbazi

Added 23rd September 2018

SSAABALAMUZI Bart Katureebe asabye ebitongole bya gavumenti ebirala okussa ekitiibwa mu mirimu egikolebwa essiga eddamuzi mu ngeri egoberera amateeka.

Bart 703x422

Ssaabalamuzi Bert Katureeebe (ku ddyo) ng’ali ne Maurice Kagimu Kiwanuka mutabani wa Benedicto Kiwanuka , amyuka Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi (wakati) n’amyuka Ssaabalamuzi, Alfonso Owinyi Dolo bwe baabadde ku mukolo gw’okujjukira Ssaabalamuzi Benedicto Kiwanuka.

Bino yabyogeredde ku mukolo gw’okujjukira eyali Ssaabalamuzi Benedicto Kiwanuka abajaasi ba Idi Amin gwe baawamba okuva mu ofiisi ye nga September 21, 1972.

“Tetujja kukkiriza kunyigirizibwa ng’ekitongole ekiramuzi, tujja kusigala nga twetengeredde era tetujja kukkiriza kuweebwa ebikozesebwa okuva mu bitongole ebirala” Ssaabalamuzi Katureebe bwe yategeezezza.

Yategeezezza nti olukiiko lw’Abalamuzi lwatuula mu January 2018 okusobola okujjukira emirimu egyakolebwa eyali Ssaabalamuzi Benedicto Kiwanuka abaserikale ba Idi Amin gwe bawamba okuva mu ofiisi ye ku kkooti enkulu ne bamubuzaawo oluvannyuma lwokukalambira ku nsonga y’okugoberera enfuga egoberera amateeka.

Ssaabalamuzi eyawummula Samuel Wako Wambuzi eyabadde omwogezi w’olunaku yalambuludde ebyaliwo ku lunaku Benedicto Kiwanuka lwe yabuzibwawo.

Yagambye nti yatuuka ku kkooti wabula ng’embeera eyaliwo teyali ya bulijjo n’abuuza eyali omuwandiisi wa kkooti Ssendegeya ng’ono ye yamutegeeza nti Ssaabalamuzi Kiwanuka atwaliddwa abajaasi.

Yagambye nti Benedicto Kiwanuka yalwanirira enfuga egoberera amateeka kyokka ku bantu abamubuzaawo tewali yali akwatiddwa yadde okuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka.

Yagambye nti ensangi zino waliwo ebisoomooza enfuga ey’amateeka mu ggwanga omuli okutiisatiisa ekitongole ekiramuzi okukola emirimu gyakyo omuli okubalumba.

Maurice Peter Kagimu ku lwa famire ya Kiwanuka yategeezezza nti okuva kitaabwe lwe yabuzibwawo bafubye okunoonya we baamuziika nga bakwataganye n’abamu ku baliko kye bamanyi, era balina essuubi nti banaalaba ebisigala bye.

Pulezidenti Museveni mu bubaka bwe obwamusomeddwa omumyuka we, Edward Kiwanuka Ssekandi yagambye nti kkooti zirekeraawo okukkiriza abantu abali ku misango egy’amaanyi okweyimirirwa kuba bwe bayimbulwa nga baddamu okuzza emisango.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gav't eyimirizza okugabira abantu...

Gav't eyimirizza okugabira abantu emmere egambibwa okutabula Bannayuganda emitwe

Reb2 220x290

Abatuuze bazudde ebitundu by'omwana...

Abatuuze bazudde ebitundu by'omwana eyasaddaakibwa

Gamba 220x290

Paapa alonze omusumba w'e Soroti...

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph Oliach Eciru okubeera Omusumba w’e Soroti omuggya. Polof. Ono abadde aweerereza...

Img20171208wa0060335186 220x290

Abasawo beemulugunyizza ku kulwawo...

ABASAWO abeegattira mu kibiina kya ‘‘Uganda Medical Association (UMA)’’, beemulugunyizza ku kya gavumenti okulwawo...

Webbetikyamyanewtdy 220x290

Abatembeeyi babakkirizza okukolera...

Abatembeeyi minisita baayogerako be batambula nga balejjesa ebintu so ssi abayiwa ebyamaguzi ku mbalaza ne ku mabbali...