TOP

Ab'e Kawempe batwalidde amateeka mu ngalo: Baggye omubbi ku poliisi ne bamwokya

By Musasi wa Bukedde

Added 8th October 2018

ABATUUZE ku kyalo ky’e Jinja Kawempe Zooni A balwanaganye ne poliisi y’e Kawempe okukkakkana nga babasinzizza amaanyi ne babaggyako omusajja agambibwa okuba omubbi ne bamutta omulambo gwe ne bagukumako omuliro n’afuuka bisiriiza.

Bonna 703x422

Poliisi ng’eteeka omulambo ku kabangali yaayo.

BYA WASSWA B. SSENTONGO

Attiddwa tamanyiddwa mu kitundu kuba tabadde na bimwogerako era kibadde kizibu okumutegeera olw’engeri gye bamwokezzaamu.

Omusajja ono yakwatiddwa ku ssaawa 10:00 ku makya ga Ssande oluvannyuma olw’okumenya ennyumba y’omutuuze n’abbamu wuufa.

Wabula aba afuluma, nnannyini nnyumba ategeerekeseko erya Maama Edith n’amulaba n’akuba enduulu ezaasombodde abantu ne bamukwata.

Poliisi ebadde eri mu kikwekweto n’abakulembeze b’ekyalo, kwe kuwulira enduulu n’egenda okutaasa omuvubuka ono kyokka abatuuze ne bagisinza amaanyi ne bamukumako omuliro, poliisi endala yagenze okutuuka ng’afuuse bisiriiza.

Bakira bamukuba awoza kimu nti akolagana ne Boy Museveni ng’ono yakwatibwa dda mu misango gy’obubbi era akuumibwa ku poliisi y’e Kawempe ku katale.

Omugenzi asangiddwa n’ebyuma ebikola mu kumenya enzigi ne sipanda esumulula emipiira gy’emmotoka.

Abatuuze nga bakulembeddwaamu Prossy Nantambi baategeezezza nti ababbi basusse mu kitundu kyokka nga baana bato.

Akulira eby’okwerinda ku kyalo kino, Joseph Segayi avumiridde eky’abatuuze abaatwalidde amateeka mu ngalo n’agamba nti ekisinze okuleeta ababbi be bavubuka obutayagala kukola ate ng’abasinga beewaggula ku bazadde baabwe nga bagaanyi okusoma.

Oluvannyuma poliisi ezze n’etwala omulambo mu ddwaaliro e Mulago okugwekebejja nga n’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...